歷代志下 8 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 8:1-18

所羅門的功績

1所羅門用二十年的時間興建了耶和華的殿和他自己的王宮。 2他重修希蘭送給他的城邑,讓以色列人居住。

3所羅門去攻打哈馬瑣巴,並攻取了此城。 4他興建曠野裡的達莫以及哈馬境內所有的儲貨城, 5把上伯·和崙與下伯·和崙建成有牆、有門、有閂的堅城, 6還建造巴拉、所有的儲貨城、屯車城、養馬城和他想在耶路撒冷黎巴嫩及其統治的全境興建的城邑。 7當時國中有人、亞摩利人、比利洗人、希未人和耶布斯人的後裔, 8以色列人沒有滅絕他們。所羅門讓他們服勞役,至今如此。 9所羅門王沒有讓以色列人服勞役,而是讓他們做戰士、將領、戰車長和騎兵長。 10他還任命二百五十名監工負責監管工人。

11所羅門帶法老的女兒離開大衛城,來到為她建造的宮中,因為所羅門說:「我的妻子不可住在以色列大衛的宮裡,因為約櫃所到之處都是聖潔的。」

12所羅門在門廊前他所築的耶和華的壇上向耶和華獻燔祭, 13並照摩西的規定,在安息日、朔日和每年特定的三個節期,即除酵節、七七節和住棚節獻上當獻的祭。

14所羅門照著他父親大衛的吩咐,指派祭司分班供職,讓利未人負責頌讚、輔助祭司盡每天的職責,還指派殿門守衛分班守門。這些都是上帝的僕人大衛規定的。 15他們沒有違背大衛王就庫房等工作對祭司和利未人的吩咐。

16從耶和華的殿奠基直到完工,所羅門所有的計劃都已順利完成。這樣,耶和華的殿落成了。

17之後,所羅門前往以東地區靠海的以旬·迦別以祿18希蘭派懂得航海的僕人乘船隻與所羅門的僕人一同到俄斐,從那裡為所羅門王運回十五噸黃金。

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 8:1-18

Ebirala Sulemaani bye yakola

1Bwe wayitawo emyaka amakumi abiri, mu myaka Sulemaani gye yazimbiramu eyeekaalu ya Mukama n’olubiri lwe, 2Sulemaani n’addaabiriza ebibuga Kulamu bye yali amuwadde, n’abiwa Abayisirayiri okubibeerangamu. 3Sulemaani n’alumba Kamasuzoba n’akiwamba. 4Era n’azimba ne Tadumoli mu ddungu, n’ebibuga byonna, eby’etterekero mu Kamasi. 58:5 1By 7:24; 2By 14:7N’addaabiriza Besukolooni ekya waggulu ne Besukolooni ekya wansi, n’abizimba nga bibuga ebiriko bbugwe, n’enkomera, ne wankaaki, n’ebisiba eby’empagi, 6n’ekya Baalasi n’ebibuga bye byonna eby’amaterekero, n’ebibuga byonna eby’amagaali ge, n’abavuga amagaali ge, ne kyonna kye yayagala okuzimba mu Yerusaalemi, mu Lebanooni ne mu nsi yonna gye yafuganga.

78:7 Lub 10:16Abantu bonna abaalekebwawo ku Bakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi, nga bano be bataali Bayisirayiri, 88:8 1Bk 4:6; 9:21be bazzukulu abaasigalawo, Abayisirayiri be bataazikiriza, Sulemaani n’abafuula abaddu, ne leero. 9Naye Sulemaani n’atafuula Bayisirayiri baddu be; bo baali baserikale be, n’abaduumizi b’eggye lye, n’abaduumizi ab’amagaali ge n’abeebagala embalaasi ze. 10Waaliwo n’abakungu ba kabaka Sulemaani ab’oku ntikko, ebikumi bibiri mu ataano, abaafuganga abantu.

118:11 1Bk 3:1; 7:8Sulemaani n’aggya muwala wa Falaawo mu kibuga kya Dawudi n’amutwala mu lubiri lwe yamuzimbira ng’agamba nti, “Mukyala wange tajja kubeera mu lubiri lwa Dawudi kabaka wa Isirayiri, kubanga ebifo essanduuko ya Mukama by’etuusemu bitukuvu.”

128:12 1Bk 8:64; 2By 4:1; 15:8Awo Sulemaani n’awangayo ebiweebwayo ebyokebwa, ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama kye yali azimbye mu maaso ag’olubalaza, 138:13 a Kuv 29:38; Kbl 28:3 b Kbl 28:9 c Kuv 23:14; Ma 16:16 d Kuv 23:16nga bwe kyali kigwanirwa buli lunaku, okuwangayo ebiweebwayo ng’etteeka lya Musa bwe lyali, erikwata ku ssabbiiti, n’emyezi nga kye gijje giboneke, ne ku mbaga essatu eza buli mwaka, era ze zino: embaga ey’emigaati egitazimbulukuswa, n’embaga eya ssabbiiti, n’embaga ey’ensiisira. 148:14 a 1By 24:1 b 1By 25:1 c 1By 9:17; 26:1 d Nek 12:24, 36 e 1By 23:6; Nek 12:45N’alonda ebibinja ebya bakabona olw’obuweereza bwabwe, n’Abaleevi olw’emirimu gyabwe egy’okutenderezanga mu nnyumba, ng’ekiragiro kya Dawudi kitaawe kye yayogera ne mu kuyambangako bakabona mu mirimu egya buli lunaku. Ate era n’alonda n’abaggazi mu bibinja byabwe olw’emiryango egy’enjawulo kubanga bw’atyo Dawudi omusajja wa Katonda bwe yalagira. 15Ne batava ku biragiro kabaka bye yali awadde bakabona, n’Abaleevi ku bikwatagana n’ensonga yonna, wadde ku bikwatagana n’ebyetterekero ly’ebintu eby’omuwendo.

16Omulimu gwa Sulemaani ne guggwa bulungi okuva ku lunaku omusingi ogwa yeekaalu ya Mukama lwe gwa simibwa okutuusa yeekaalu lwe yaggwa, era n’emalibwa bulungi.

17Awo Sulemaani n’agenda e Eziyonigeba n’e Erosi ebibuga ebyali ku lubalama lw’ennyanja mu nsi ya Edomu. 188:18 2By 9:9Kulamu n’amuweereza ebyombo, nga bigobebwa baduumizi be, abasajja abaali bamanyi ennyanja. Ne bagenda e Ofiri n’abaddu ba Sulemaani nga babeegasseko, ne baaleetera kabaka Sulemaani ettani za zaabu kkumi na musanvu.