歷代志下 3 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 3:1-17

建造聖殿

1所羅門耶路撒冷摩利亞山上動工興建耶和華的殿,殿址在耶布斯阿珥楠的麥場,就是大衛指定的地方。耶和華曾在那裡向他父親大衛顯現。 2所羅門在執政第四年二月二日動工建殿。 3按照古時的尺度,他建造的上帝殿宇的地基長二十七米,寬九米。 4殿前的門廊長九米,與殿的寬度一樣,高九米3·4 高九米」希伯來文是「高五十四米」。,裡面都貼上純金。 5大殿裡鑲上松木板,貼上純金,又刻上棕樹和鏈子。 6所羅門用寶石和巴瓦音的純金裝飾殿。 7殿的棟樑、牆壁、門檻和門扇也都貼上金子;牆上還刻上基路伯天使。

8所羅門又動工建造至聖所,長九米,寬九米,與殿的寬度一樣,裡面共貼了二十一噸純金。 9所用的金釘重六百克。樓房也都貼上了金子。 10他又在至聖所製造兩個基路伯天使的翅膀,包上金子。 11-13兩個基路伯天使的翅膀共九米長,每個翅膀長二點二五米。兩個基路伯天使面向大殿站立,他們展開的翅膀共九米長,各有一個翅膀觸到殿牆,一個翅膀互相連接。 14他用藍色、紫色和朱紅色的線以及細麻織成幔子,並在上面繡上基路伯天使。

15所羅門在殿前造了兩根柱子,每根高八米,上面的柱冠高二點二五米。 16他也造了鏈子3·16 他也造了鏈子」希伯來文是「他在聖所內造了鏈子」。,裝飾在柱冠上。他又造了一百個石榴,安在鏈子上。 17這兩根柱子一左一右立在殿的入口處,他給右邊那根取名叫雅斤,給左邊那根取名叫波阿斯

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 3:1-17

Sulemaani Azimba Yeekaalu

13:1 a Bik 7:47 b Lub 28:17 c 2Sa 24:18; 1By 21:18Awo Sulemaani n’atandika okuzimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi ku lusozi Moliya, Mukama gye yalabikira Dawudi kitaawe, ekifo Dawudi kye yali alonze ku gguuliro lya Olunaani Omuyebusi. 23:2 Ezr 5:11Yatandika okugizimba mu mwezi ogwokubiri mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwe.

33:3 Ez 41:2Omusingi Sulemaani gwe yasima ogwa yeekaalu ya Katonda gwali obuwanvu mita amakumi abiri mu musanvu ng’obugazi mita mwenda, mu kukozesa ebipimo okw’edda. 4Ekisasi ekyali mu maaso ga yeekaalu kyali obuwanvu mita mwenda n’obugazi nga kye kimu, n’obugulumivu kyali mita mwenda. Munda mu yeekaalu n’asiigamu ne zaabu ennongoofu. 53:5 Ez 40:16Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu. 6N’ayonja yeekaalu n’amayinja ag’omuwendo, ne zaabu gwe yakozesa yali zaabu owa Paluvayimu. 73:7 Lub 3:24; 1Bk 6:29-35; Ez 41:18Ku myango, ne ku miryango, ne ku bisenge ne ku nzigi za yeekaalu, byonna n’abisiigako zaabu; ate era n’awoola ne bakerubi ku bisenge.

83:8 Kuv 26:33N’azimba n’Ekifo Ekitukuvu Ennyo, ng’obuwanvu kyenkanankana obugazi bwa yeekaalu, obuwanvu kyali mita mwenda n’obugazi mita mwenda. Munda waakyo n’asiigamu ttani amakumi abiri mu ssatu eza zaabu ennongoofu. 93:9 Kuv 26:32Obuzito bw’emisumaali bwali desimoolo mukaaga era nga gya zaabu.

103:10 Kuv 25:18Mu Kifo Ekitukuvu Ennyo n’abajjirayo bakerubi babiri n’abasiiga ne zaabu. 11Obugazi bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda, ng’ekimu obuwanvu bwakyo kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kisenge kya yeekaalu, n’ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi omulala. 12N’ekiwaawaatiro kya kerubi omulala kyali obuwanvu mita bbiri ne desimoolo ssatu nga kituuka ku ludda lw’ekisenge kya yeekaalu ekirala, n’ekiwaawaatiro ekirala obuwanvu nga kiri mita bbiri ne desimoolo ssatu, nga kituuka ku kerubi oli omulala. 133:13 Kuv 25:18Obuwanvu bw’ebiwaawaatiro bya bakerubi bwali mita mwenda awamu, era baasimbibwa ku bigere byabwe, nga batunuuliraganye. 143:14 a Kuv 26:31, 33; Beb 9:3 b Lub 3:24N’akola olutimbe nga lulimu bbululu, effulungu, era nga lutwakaavu, ne bafuta ennungi n’alukubako ebifaananyi bya bakerubi.

153:15 a 1Bk 7:15; Kub 3:12 b 1Bk 7:22Mu maaso ga yeekaalu yassaawo empagi bbiri, obuwanvu bwazo mita kkumi na mukaaga, nga buli emu ku zo eriko omutwe ogwenkana mita bbiri ne desimoolo ssatu. 163:16 a 1Bk 7:17 b 1Bk 7:20N’akola emikuufu mu kifo eky’omunda awasinzirwa okwogera n’agissa ku mitwe gy’empagi, ate era n’akola n’amakomamawanga kikumi, n’agateeka ku mikuufu egyo. 17N’asimba empagi mu maaso ga yeekaalu, emu ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo, n’endala ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono. Ey’oku luuyi olw’ebugwanjuba obwa ddyo yagituuma Yakini3:17 Yakini amakulu nti yeeteekawo, n’eyo ku luuyi olw’ebugwanjuba obwa kkono n’agituuma Bowaazi3:17 Bowaazi amakulu nti mu ye mwe muli amaanyi.