歷代志下 20 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

歷代志下 20:1-37

約沙法禱告退敵

1後來摩押人、亞捫人同一些米烏尼20·1 米烏尼人」出現在古希臘譯本,但希伯來文是「亞捫人」。一起來攻打約沙法2有人稟告約沙法說:「有一支大軍從死海對岸的以東20·2 以東」希伯來文是「亞蘭」。殺來,已經攻到哈洗遜·他瑪。」哈洗遜·他瑪就是隱·基底3約沙法很害怕,決定尋求耶和華,在整個猶大宣告禁食。 4猶大人聚集起來尋求耶和華。他們從猶大各城前來尋求耶和華。

5約沙法站在耶和華殿的新院裡,在猶大耶路撒冷的民眾面前, 6說:「我們祖先的上帝耶和華啊,你不是住在天上的上帝嗎?你主宰萬邦萬國,你手中有權柄和能力,無人能抵擋你。 7我們的上帝啊,你不是曾經在你的以色列子民面前驅逐這地方的居民,把這片土地賜給你的朋友亞伯拉罕的後裔永遠作產業嗎? 8你的子民在這裡居住,為你的名建造殿宇,說, 9『如果我們遭遇禍患,無論是戰禍、瘟疫或饑荒,當我們在急難中站在這殿前向你呼求時,你必定垂聽,施行拯救,因為你的名在這殿裡。』

10「從前以色列人離開埃及的時候,你不准他們侵犯亞捫人、摩押人和來自西珥山的人,他們就繞道而行,沒有毀滅這些人。 11但現在這些人要報復我們,把我們從你賜給我們作產業的地方趕走。 12我們的上帝啊,難道你不懲罰他們嗎?面對前來攻擊的大軍,我們無力抵擋,不知道該怎麼辦,我們只有仰望你。」

13猶大人與他們的妻子、兒女和嬰孩都站在耶和華面前。 14這時,耶和華的靈降在雅哈悉身上。雅哈悉利未亞薩的後裔、瑪探雅的玄孫、耶利的曾孫、比拿雅的孫子、撒迦利雅的兒子。 15他說:「全體猶大人、耶路撒冷的居民和約沙法王啊,你們要留心聽!耶和華對你們如此說,『你們不要因敵軍強大而恐懼驚慌,因為戰爭的勝敗不在乎你們,而在乎上帝。 16明天你們下去迎敵,敵軍會從洗斯坡上來,你們一定會在耶魯伊勒曠野前面的谷口遇見他們。 17你們不用與他們交戰,只要守住陣勢,站立不動,看耶和華為你們施行拯救。猶大人和耶路撒冷人啊,不要恐懼,不要驚慌,明天只管出去迎敵,耶和華必與你們同在!』」

18於是,約沙法面伏於地,所有猶大人和耶路撒冷的居民也都俯伏在耶和華面前敬拜祂。 19哥轄族和可拉族的利未人都站起來,高聲讚美以色列的上帝耶和華。 20第二天清晨,眾人起來去提哥亞的曠野。他們出發的時候,約沙法站著說:「猶大人和耶路撒冷的居民啊,請聽我說!要信靠你們的上帝耶和華,你們就必堅立;要相信祂的先知,你們就必得勝。」 21約沙法與眾人商議後,就派歌樂手穿上聖潔的禮服走在軍隊前面,讚美耶和華,說:「你們要稱謝耶和華,因祂的慈愛永遠長存!」

22他們開始唱歌讚美的時候,耶和華就派伏兵擊殺前來攻打猶大亞捫人、摩押人和來自西珥山的人,打敗了他們。 23原來亞捫人和摩押人攻擊來自西珥山的人,消滅了他們,然後亞捫人和摩押人又自相殘殺。

24猶大人來到曠野的瞭望塔俯瞰那支大軍,發現敵軍屍橫遍野,無一倖免。 25約沙法和他的百姓前去拾財物,發現屍體中有許多財物、衣服和貴重物品,多得拿不完。他們拾了三天才拾完。 26第四天,他們聚集到一個山谷,一起稱頌耶和華。那裡從此名叫比拉迦20·26 比拉迦」就是稱讚的意思。 谷,直到今天。

27猶大人和耶路撒冷人在約沙法的帶領下,歡歡喜喜地返回耶路撒冷,因為耶和華使他們戰勝了仇敵。 28他們一路彈琴、鼓瑟、吹號回到耶路撒冷,進入耶和華的殿。 29列邦列國聽聞耶和華打敗了以色列的敵人,都很懼怕。 30因此,約沙法執政期間國家太平,因為他的上帝賜他四境平安。

約沙法逝世

31約沙法三十五歲登基做猶大王,在耶路撒冷執政二十五年。他母親叫阿蘇巴,是示利希的女兒。 32約沙法效法他父親亞撒,做耶和華視為正的事,不偏不離。 33然而,他沒有拆除邱壇,民眾還沒有全心歸向他們祖先的上帝。

34約沙法其他的事蹟自始至終都記在哈拿尼的兒子耶戶的史記上。耶戶的史記收錄在以色列的列王史上。

35後來,猶大約沙法與作惡多端的以色列亞哈謝修好。 36他們在以旬·迦別造船,要去他施37瑪利沙多大瓦的兒子以利以謝約沙法預言說:「因為你與亞哈謝修好,耶和華必破壞你所造的船隻。」那些船隻果然壞了,無法前往他施

Luganda Contemporary Bible

2 Ebyomumirembe 20:1-37

Yekosafaati Awangula Abamowaabu n’Abamoni

120:1 1By 4:41Bwe wayitawo ebbanga, Abamowaabu n’Abamoni nga bali wamu n’abamu ku Bamoni ne balumba Yekosafaati okumulwanyisa.

220:2 Lub 14:7Abasajja abamu ne bagenda ne bategeeza Yekosafaati nti, “Eggye ddene eriva e Busuuli okuva emitala w’Ennyanja ey’Omunnyo, likulumbye, era lituuse mu Kazazonutamali, ye Engedi,” 320:3 1Sa 7:6; 2By 19:3; Ezr 8:21; Yer 36:9; Yon 3:5, 7Yekosafaati n’atya nnyo n’amalirira okwebuuza ku Mukama, era n’alangirira okusiiba mu Yuda yonna. 4Yuda yonna n’ekuŋŋaana okunoonya okubeerwa okuva eri Mukama okuva mu bibuga byonna ebya Yuda.

5Awo Yekosafaati n’ayimirira mu maaso g’ekkuŋŋaaniro lya Yuda ne Yerusaalemi, mu yeekaalu ya Mukama mu maaso g’oluggya olupya, 620:6 a Mat 6:9 b Ma 4:39 c 1By 29:11-12n’ayogera nti,

“Ayi Mukama, Katonda wa bajjajjaffe, si ggwe Katonda ow’omu ggulu? Si ggwe ofuga obwakabaka bwonna mu nsi? Obuyinza n’amaanyi biri mu mukono gwo, n’okubaawo ne watabaawo n’omu ayinza okuyimirira mu maaso go. 720:7 Is 41:8; Yak 2:23Ayi Katonda waffe, si ggwe wagobamu abatuuze abaali mu nsi eno mu maaso g’abantu bo Isirayiri, n’ogiwa ezzadde lya Ibulayimu mukwano gwo okugibeerangamu emirembe gyonna? 820:8 2By 6:20Era bagibaddemu ne bazimbamu ekifo ow’okusinziza erinnya lyo, nga boogera nti, 920:9 2By 6:28‘Bwe tulituukibwako akabi konna, oba ekitala eky’okusala omusango, oba lumbe, oba njala, tunaayimiriranga mu maaso go, ne mu maaso ga yeekaalu eno okuli erinnya lyo, ne tukukaabiriranga mu kulumwa kwaffe n’otuwulira era n’otulokola.’

1020:10 Kbl 20:14-21; Ma 2:4-6, 9, 18-19“Naye kaakano laba, abasajja ba Amoni ne Mowaabu n’ab’oku Lusozi Seyiri, ab’omu kibangirizi kye wagaana Isirayiri okulumba bwe baava mu nsi y’e Misiri, era babeewala ne batagenda kubazikiriza, 1120:11 Zab 83:1-12laba bwe baagala okutusasula nga batugobaganya mu kifo kye watuwa ng’omugabo gwaffe. 1220:12 a Bal 11:27 b Zab 25:15; 121:1-2Ayi Katonda waffe, toobasalire musango? Kubanga tetulina maanyi ga kulwana na ggye lino eddene eritulumbye. Tetumanyi kya kukola, wabula amaaso gaffe gatunuulidde ggwe.”

13Abasajja bonna aba Yuda, wamu ne bakyala baabwe, n’abaana baabwe, n’abaana abasemberayo ddala obuto, ne bayimirira mu maaso ga Mukama.

1420:14 2By 15:1Awo Omwoyo wa Mukama n’akka ku Yakaziyeeri mutabani wa Zekkaliya, muzzukulu wa Benaya muzzukulu wa Yeyeri, muzzukulu wa Mattaniya, Omuleevi ow’ezzadde lya Asafu ng’ayimiridde wakati mu lukuŋŋaana.

1520:15 a 2By 32:7 b Kuv 14:13-14; 1Sa 17:47N’ayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, n’abatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama ky’abagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda. 16Enkya muserengete mubasisinkane; laba bajja kwambukira awalinnyirwa e Zizi, era munaabasisinkana ekiwonvu we kikoma mu ddungu lya Yerweri. 1720:17 Kuv 14:13; 2By 15:2Tekijja kubeetagisa kulwana lutalo luno. Mubeere mu bifo byammwe, mube bagumu mulabe obuwanguzi Mukama bw’anaabawa mmwe Yuda ne Yerusaalemi. Temutya wadde okuggwaamu omwoyo; enkya mugende mubasisinkane, Mukama anaabeera nammwe.’ ”

1820:18 Kuv 4:31Awo Yekosafaati n’avuunama amaaso ge ku ttaka, era ne Yuda yenna n’abatuuze bonna ab’e Yerusaalemi ne bavuunama wansi mu maaso ga Mukama ne bamusinza. 19Abamu ku Baleevi, Abakokasi n’abalala nga Bakoola ne bayimirira okutendereza Mukama, Katonda wa Isirayiri, n’eddoboozi ery’omwanguka.

2020:20 a Is 7:9 b Lub 39:3; Nge 16:3Ne bakeera mu makya ne bagenda mu ddungu lya Tekowa. Bwe baali nga bagenda Yekosafaati n’ayimirira n’abagamba nti, “Mumpulirize, Yuda n’abantu ab’e Yerusaalemi! Mube n’okukkiriza mu Mukama Katonda wammwe munaanywezebwa; mukkirize bannabbi be, munaalaba omukisa.” 2120:21 a 1By 16:29; Zab 29:2 b 2By 5:13; Zab 136:1Awo bwe yamala okwebuuza ku bantu, n’alonda abasajja ab’okuyimbira Mukama, n’okumutendereza olw’ekitiibwa ky’obutuukirivu bwe, abakulemberamu eggye, nga boogera nti,

“Mwebaze Mukama

kubanga okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

2220:22 Bal 7:22; 2By 13:13Awo bwe batandika okuyimba n’okutendereza, Mukama n’ataayiza abasajja ba Amoni, n’aba Mowaabu, n’ab’oku Lusozi Seyiri, abaali balumbye Yuda, ne bawangulwa. 2320:23 a Lub 19:38 b 2By 21:8 c Bal 7:22; 1Sa 14:20; Ez 38:21Abasajja ba Amoni n’aba Mowaabu ne bagolokokera ku basajja ab’oku Lusozi Seyiri ne babazikiriza, era bwe baamala okubazikiriza, ne bakyukiragana ne battiŋŋana.

24Awo abasajja aba Yuda bwe baatuuka ku munaala ogw’eddungu, ne batunuulira eggye eddene, laba nga bonna mirambo egigudde, nga tewaliwo n’omu eyawonyeewo. 25Yekosafaati n’abantu be bwe bajja okutwala omunyago, basangawo ebintu bingi n’engoye nnyingi, n’eby’obugagga bingi, okusinga n’ebyo bye baali basobola okwetikka. Baamala ennaku ssatu nga babisomba, olw’obungi bwabyo. 26Ku lunaku olwokuna ne bakuŋŋaanira mu kiwonvu ekya Beraka, okutendereza Mukama, kyekyava kituumibwa Ekiwonvu kya Beraka, ne leero.

27Oluvannyuma, buli musajja wa Yuda n’owa Yerusaalemi, nga bakulemberwamu Yekosafaati, ne baddayo e Yerusaalemi nga basanyuse, kubanga Mukama yali abawadde essanyu olw’okuwangula abalabe baabwe. 28Ne bayingira Yerusaalemi, ne bagenda mu yeekaalu ya Mukama nga bakutte entongooli, n’ennanga, n’amakondeere.

2920:29 a Lub 35:5; Ma 2:25; 2By 14:14; 17:10 b Kuv 14:14Entiisa ya Mukama n’ejja ku bwakabaka bwonna obw’omu mawanga, bwe baawulira nga Mukama yalwana n’abalabe ba Isirayiri20:29 Isirayiri, ssoma Yuda, kubanga Yekosafaati yafuganga Yuda. 3020:30 1By 22:9; 2By 14:6-7; 15:15Era obwakabaka bwa Yekosafaati ne buba n’emirembe, kubanga Katonda we yamuwa emirembe enjuuyi zonna.

Enkomerero ey’Obufuzi bwa Yekosafaati

31Yekosafaati n’afuga Yuda. Yalina emyaka amakumi asatu mu etaano we yafuukira kabaka wa Yuda, era n’afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi, ne nnyina erinnya lye nga ye Azuba muwala wa Siruki. 32N’atambulira mu kkubo lya Asa kitaawe, n’atalivaamu, era n’akola ebyali ebirungi mu maaso ga Mukama. 3320:33 2By 17:6; 19:3Naye ebifo ebigulumivu teyabiggyaawo, so n’abantu ne bataweerayo ddala mitima gyabwe eri Katonda wa bajjajjaabwe.

3420:34 1Bk 16:1Ebyafaayo ebirala ebyaliwo mu mulembe gwa Yekosafaati, okuva ku ntandikwa ye okutuusa ku nkomerero ye, byawandiikibwa mu bitabo bya Yeeku mutabani wa Kanani, era biri ne mu kitabo ekya bassekabaka ba Isirayiri.

3520:35 a 2By 16:3 b 2By 19:1-3Bwe waayitawo ebbanga, Yekosafaati kabaka wa Yuda n’akola endagaano ne Akaziya kabaka wa Isirayiri, omukozi w’ebibi. 36N’ateesa naye okuzimba ebyombo ebyamaguzi biseeyeeyenga okugenda e Talusiisi, era ne babizimbira mu Eziyonigeba. 3720:37 1Bk 9:26; 2By 9:21Mu kiseera ekyo Eryeza mutabani wa Dodavaku ow’e Malesa n’ayogera ebyobunnabbi eri Yekosafaati ng’agamba nti, “Kubanga okoze endagaano ne Akaziya, n’omwegattako, Mukama alizikiriza by’okoze.” Era ebyombo ne bimenyekamenyeka, ne bitasobola kugenda Talusiisi.