撒母耳記下 13 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

撒母耳記下 13:1-39

暗嫩玷污她瑪

1大衛的兒子押沙龍有一個美麗的妹妹,名叫她瑪大衛的另一個兒子暗嫩愛上了她。 2她仍是處女,住在深宮裡,暗嫩無法接近她,相思成病。 3暗嫩有一個朋友名叫約拿達,是大衛長兄示米亞的兒子,生性狡猾。 4他問暗嫩:「王子,你為什麼一天比一天消沉?能告訴我嗎?」暗嫩答道:「我愛上了我兄弟押沙龍的妹妹她瑪。」 5約拿達說:「你回去躺在床上裝病,你父親來探望你的時候,你就請求他叫你妹妹她瑪來,在你面前預備食物,請她親手遞給你吃。」 6暗嫩就躺在床上裝病。王來看他的時候,他便對王說:「請你叫我妹妹她瑪來這裡,在我面前做兩個餅,請她親自遞給我吃。」

7大衛便派人進宮對她瑪說:「你去你哥哥暗嫩房裡為他預備食物吧。」 8她瑪到了哥哥暗嫩的家,暗嫩正躺在床上裝病。她拿了麵團在他面前揉麵做餅,把餅烤熟了。 9她拿著鍋在他面前把餅倒出來,但暗嫩卻不肯吃。暗嫩命令僕人:「你們全都出去吧!」僕人就都退下了。 10暗嫩她瑪說:「你把食物拿到我的臥房來,親手遞給我吃。」她瑪便拿著餅進了她哥哥暗嫩的臥房裡, 11服侍他吃餅,暗嫩卻抓住她,說:「妹妹,與我同寢吧!」 12她瑪說:「哥哥,不要,不要玷污我!在以色列不應當發生這種事,不要做這種惡事。 13你這樣叫我怎麼見人呢?你在以色列也必遭人唾棄。你可以請求王,他會同意把我許配給你。」 14暗嫩卻充耳不聞,因為他力氣比她瑪大,就把她強姦了。

15事後暗嫩非常憎恨她瑪,對她的恨比以前對她的愛還強烈。他對她瑪說:「你起來走吧!」 16她瑪哀求道:「不要這樣對我!你這樣做是錯上加錯。」暗嫩卻不聽, 17他吩咐隨從:「把這女人趕出去,關上門不要讓她進來。」 18他的隨從就把她瑪趕出去,隨後鎖上了門。那時,她瑪穿著彩色的長衣,沒有出嫁的公主都穿這種衣服。 19她瑪把灰塵撒在頭上,撕破身上的彩衣,雙手抱著頭,一面走一面哭。 20她的哥哥押沙龍問她:「是不是你哥哥暗嫩污辱了你?妹妹,不要聲張,他是你哥哥,不要把這件事放在心上。」於是她瑪就憂憂鬱鬱地住在押沙龍家裡。

21大衛王聽見了這件事以後,非常生氣。 22押沙龍沒有對暗嫩說一句話,只是心裡暗暗地恨他,因為他玷污了妹妹她瑪

押沙龍為妹妹報仇

23兩年後,押沙龍的工人在以法蓮附近的巴力·夏瑣剪羊毛,押沙龍邀請王的眾子去那裡。 24他去見王,說:「我的工人正在剪羊毛,請王和眾臣僕跟我一起去吧。」 25王說:「我兒,我們不必都去打擾你。」押沙龍再三邀請,王還是推辭了,但他為押沙龍祝福。 26押沙龍說:「倘若王不去,求你叫我兄弟暗嫩去吧。」大衛說:「何必要他同去呢?」 27押沙龍再三懇求,王就讓暗嫩和其他王子一同去了。 28押沙龍吩咐僕人說:「你們要留意,當暗嫩喝得正高興的時候,我叫你們殺他,你們就要動手。不要畏縮,要剛強勇敢!因為這是我的命令。」 29押沙龍的僕人就照命令把暗嫩殺了。王的眾子都起來騎上騾子逃走了。

30他們還在路上的時候,有人稟告大衛說:「押沙龍把王子都殺了,無一倖免!」 31王便站起來撕裂衣服,躺在地上。他的臣僕也都撕裂衣服,站在旁邊。 32大衛的長兄示米亞的兒子約拿達說:「我主不要以為所有的王子都被殺了,其實只有暗嫩一人死了。自從暗嫩姦污押沙龍的妹妹她瑪以來,押沙龍便決定要報仇了。 33所以,我主我王啊,不要相信這消息,不是所有的王子都死了,只有暗嫩一人死了。」

34此時,押沙龍已經逃走了。守衛的人舉目瞭望,見有一大群人從山坡上跑來。 35約拿達大衛王說:「請看,王子們都回來了!正如僕人所言。」 36話剛說完,眾王子已經來到他們跟前放聲大哭,王和臣僕也哀痛不已。

37-38押沙龍逃到了亞米忽的兒子基述達買那裡,在那裡住了三年。大衛王天天為他的兒子暗嫩悲傷, 39後來心情恢復平靜,開始想念押沙龍

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 13:1-39

Amunoni ne Tamali

113:1 a 2Sa 3:2 b 2Sa 14:27; 1By 3:9 c 2Sa 3:3Abusaalomu, mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, omubalagavu erinnya lye Tamali13:1 Tamali yali muwala wa Maaka, omumbejja w’e Gesuli (3:3). Amunoni yali mutabani wa Akinoamu. Akinoamu ye yali mukyala wa Dawudi omukulu, nga Amunoni ye mutabani wa Dawudi omukulu, nga y’ateekwa okusikira Dawudi ku ntebe ey’obwakabaka, naye Amunoni omu ku batabani ba Dawudi omulala n’ayagala okwebaka naye. 2Amunoni n’atawaana nnyo mu nsonga eyo n’okulwala n’alwala, kubanga Tamali yali mbeerera13:2 Abawala abaali tebannafumbirwa, baabeeranga mu nnyumba z’abakazi nga tebakyalira basajja, newaakubadde okukyalira bannyinaabwe., Amunoni n’akisanga nga kizibu okumufuna. 313:3 1Sa 16:9Naye Amunoni yalina mukwano gwe ennyo, eyayitibwanga Yonadabu mutabani wa Simeeya mukulu wa Dawudi, eyali omusajja omukujjukujju. 4N’abuuza Amunoni nti, “Kiki ekikutawanyanga buli nkya, ggwe omwana wa kabaka? Lwaki tombulira?” Amunoni n’amugamba nti, “Njagala Tamali, mwannyina Abusaalomu muganda wange.” 5Yonadabu n’amugamba nti, “Genda mu kitanda weefuule okuba omulwadde. Kitaawo bw’anajja okukulaba mugambe nti, ‘Gamba mwannyinaze Tamali ajje ampe ku kyokulya. Mukkirize anteekereteekere ekyokulya nga mmulabako n’amaaso, n’oluvannyuma andiise.’ ”

6Awo Amunoni n’agenda n’agalamira ku kitanda kye ne yeefuula okuba omulwadde; kabaka bwe yagenda okumulaba n’okumusaasira, Amunoni n’amugamba nti, “Nkwegayiridde, kkiriza Tamali ajje anfumbire emigaati nga mulaba ku maaso, n’oluvannyuma andiise.”

7Awo Dawudi n’atumya Tamali n’amugamba nti, “Genda ewa muganda wo Amunoni mu nnyumba ye, omuteekereteekere ekyokulya.” 8Tamali n’agenda ewa Amunoni n’amusanga ng’agalamidde ku kitanda kye. Tamali n’addira obuwunga n’abukanda, n’akola emigaati Amunoni ng’alaba, n’agifumba. 913:9 Lub 45:1Tamali n’addira olukalango, n’aluggyako bye yafumbirako, Amunoni ng’alaba naye n’agaana okulya.

Awo Amunoni n’alagira abaddu be nti, “Buli muntu afulume.” Buli muntu n’afuluma, n’asigalamu ne Tamali. 10Amunoni n’agamba Tamali nti, “Ndeetera emmere eno mu kisenge kyange, ondiise.” Awo Tamali n’addira emigaati gy’afumbye, n’agitwalira Amunoni mwannyina mu kisenge kye. 1113:11 a Lub 39:12 b Lub 38:16Naye bwe yagimusembereza okulya n’amukwata, n’amugamba nti, “Jjangu weebake nange, mwannyinaze.”

1213:12 a Lv 20:17; Bal 20:6 b Lub 34:7; Bal 19:23N’amuddamu nti, “Nedda, mwannyinaze, tonkwata n’amaanyi. Ekyo tekikolwa mu Isirayiri. Tokola kya kivve bwe kityo. 1313:13 Lub 20:12; Lv 18:9; Ma 22:21, 23-24Nsaasira, nnadda wa obuswavu? Ate ggwe, onoobeera ng’omu ku basajja abasirusiru mu Isirayiri. Nkwegayiridde yogera ne kabaka, tajja kukuziyiza nkufumbirwe.” 1413:14 Lub 34:2; Ma 22:25; Ez 22:11Naye n’agaana okumuwuliriza, n’amukwata olw’empaka, kubanga yali amusinza amaanyi, ne yeebaka naye.

15Oluvannyuma Amunoni n’amukyawa nnyo nnyini, okusinga ne bwe yamwagala, n’amulagira nti, “Golokoka ofulume.” 16Tamali n’amuddamu nti, “Nedda! Okungoba kibi okusinga ekikolwa ky’onkoze.” Naye n’agaana okumuwuliriza. 17N’ayita omuddu ey’amuweerezanga n’amugamba nti, “Omukazi oyo muggye mu maaso gange, omuggalire ebweru.” 1813:18 Lub 37:23; Bal 5:30Awo omuddu we n’afulumya Tamali ebweru, n’aggalawo oluggi. Yali ayambadde ekyambalo ekiwanvu nga ky’amabala mangi, kubanga eyo ye yabeeranga ennyambala ey’abambejja embeerera. 1913:19 Yos 7:6; 1Sa 4:12; 2Sa 1:2; Es 4:1; Dan 9:3Tamali n’ateeka evvu mu mutwe gwe, n’ayuza ekyambalo kye, n’ateeka omukono ku mutwe gwe n’agenda ng’akaaba. 20Abusaalomu mwannyina n’amubuuza nti, “Obadde ne mwannyoko Amunoni? Sirikawo mwannyinaze, oyo mwannyoko. Ekyo kireme okukunakuwaza.” Awo Tamali n’abeeranga ne mwannyina Abusaalomu, nga mukazi munaku.

2113:21 Lub 34:7Kabaka Dawudi bwe yakiwulira, n’asunguwala nnyo. 2213:22 a Lub 31:24 b Lv 19:17-18; 1Yk 2:9-11Naye Abusaalomu n’atabaako kigambo ky’ayogera ne Amunoni, ekirungi oba ekibi, kyokka n’akyawa Amunoni kubanga yayonoonyesa Tamali mwannyina.

Abusaalomu Atta Amunoni

2313:23 1Sa 25:7Bwe waayitawo emyaka ebiri nga kiseera kya kusala ebyoya by’endiga, ng’abasazi ba Abusaalomu bali e Baalukazoli, ekiriraanye Efulayimu, Abusaalomu n’ayita abaana ba kabaka bonna. 24Abusaalomu n’agenda eri kabaka n’amugamba nti, “Omuddu wo alina abasazi ab’ebyoya by’endiga baaleese. Nkusaba kabaka n’abakungu be, mujje munjagulizeeko.” 25Kabaka n’amuddamu nti, “Nedda, mwana wange. Ffenna bwe tunajja, tujja kuzitoowerera.” Abusaalomu n’amwegayirira nga bw’amuwaliriza, naye n’agaana okugenda, wabula n’amusabira omukisa. 26Awo Abusaalomu n’amugamba nti, “Ggwe bw’oba nga tojje, nkwegayiridde okkirize Amunoni agende naffe.” Kabaka n’amubuuza nti, “Lwaki Amunoni agenda nammwe?” 27Naye Abusaalomu n’amwegayirira nnyo okutuusa bwe yakkiriza Amunoni n’abaana ba kabaka bonna okugenda naye.

2813:28 a 2Sa 3:3 b Bal 19:6, 9, 22; Lus 3:7; 1Sa 25:36 c 2Sa 12:10Awo Abusaalomu n’alagira abaddu be nti, “Muwulire! Mugenderere okulaba Amunoni ng’atudde, n’omutima gwe nga musanyuukirivu; bwe n’abagamba nti, ‘mutte Amunoni,’ mumutte. Temutya, si nze mpadde ekiragiro? Mube n’amaanyi era mube bazira.” 29Awo abasajja ba Abusaalomu ne batta Amunoni nga Abusaalomu bwe yabalagira. Abaana ba kabaka bonna ne basituka ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka. 30Bwe baali bakyali mu kkubo, amawulire ne gatuuka eri Dawudi nti, “Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, era tewasigadde n’omu.” 3113:31 Kbl 14:6; 2Sa 1:11; 12:16Kabaka n’agolokoka n’ayuza ebyambalo bye, ne yeebaka mu ttaka n’abaddu be bonna abaaliwo ne bayuza ebyambalo byabwe.

32Naye Yonadabu mutabani wa Simeeya, mukulu wa Dawudi, n’ayogera nti, “Mukama wange kabaka aleme okulowooza nga basse abalangira bonna, Amunoni yekka y’afudde. Era ekyo kye kyali ekigendererwa kya Abusaalomu okuva ku lunaku Amunoni lwe yakwata Tamali mwannyina. 33Noolwekyo mukama wange kabaka aleme okweraliikirira olw’amawulire g’afunye agagamba nti abaana ba kabaka bonna bafudde. Amunoni yekka ye afudde.” 34Kyokka Abusaalomu n’adduka. Omuvubuka omukuumi n’ayimusa amaaso ge, n’alengera abantu bangi mu kkubo ery’ebugwanjuba nga bakkirira ku mabbali g’olusozi. 35Awo Yonadabu n’agamba kabaka nti, “Laba abaana ba kabaka bajja; kituukiridde omuddu wo kye yayogedde.” 36Bwe yali yakamala okwogera, abaana ba kabaka ne bayingira nga bakuba ebiwoobe. Kabaka n’abaddu be nabo ne bakaaba nnyo nnyini.

3713:37 nny 34; 2Sa 3:3; 14:23, 32Abusaalomu ye n’addukira eri Talumaayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w’e Gesuli, Dawudi n’amukaabiranga buli lunaku. 38Abusaalomu n’amala e Gesuli emyaka esatu. 3913:39 a 2Sa 14:13 b 2Sa 12:19-23Naye omutima gwa Dawudi ne gwegomba okulaba ku Abusaalomu, kubanga yali akubagizibbwa olw’okufa kwa Amunoni.