彌迦書 3 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

彌迦書 3:1-12

斥責以色列的領袖

1我說:「雅各的首領,以色列家的統治者啊!

你們要聽!

難道你們不知正義嗎?

2你們憎惡良善,

喜愛邪惡,

剝下我百姓的皮,

從他們的骨頭上剔肉。

3你們吃我百姓的肉,

剝我百姓的皮,

打碎他們的骨頭,

把他們切成塊,

如同下在鍋裡、放進釜中的肉。

4你們遭難的時候,

向耶和華呼求,

祂必不應允你們。

因你們的惡行,

祂必掩面不顧你們。」

5耶和華說:

「使我的子民步入歧途的先知啊,

你們向供養你們的人報平安,

出言攻擊那不供養你們的人。

6因此,黑夜必籠罩你們,

使你們看不見異象;

幽暗必臨到你們,

使你們無法占卜。

太陽要因你們而沉落,

白晝變為黑夜。

7假先見必抱愧,

占卜者必蒙羞。

因得不到上帝的答覆,

你們必羞愧地捂著臉。」

8至於我,

因有耶和華的靈,

我充滿權能、正義和力量,

能向雅各宣告他的過犯,

以色列宣告他的罪惡。

9雅各家的首領,以色列家的統治者啊,

你們要聽!

你們厭惡正義,顛倒是非;

10以血腥建立錫安

以罪惡建造耶路撒冷

11城裡的首領為貪贓而枉法,

祭司為銀子而施教,

先知為錢財而占卜。

他們卻宣稱倚靠耶和華,說:

「耶和華不是在我們當中嗎?

災禍不會臨到我們。」

12所以,因你們的緣故,

錫安必像田地被耕犁,

耶路撒冷必淪為廢墟,

聖殿山必成為荒林之岡。

Luganda Contemporary Bible

Mikka 3:1-12

Ekibi kya Isirayiri

13:1 Yer 5:5Ne ndyoka ŋŋamba nti,

“Muwulire mmwe abakulembeze ba Yakobo,

mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri.

Si mmwe mwandisaanidde okumanya obwenkanya,

23:2 Zab 53:4; Ez 22:27mmwe abakyawa ekirungi ne mwagala ekibi;

mmwe ababaagako abantu bange eddiba

ne mubaggyako ennyama ku magumba?

33:3 a Zab 14:4 b Zef 3:3 c Ez 11:7Mulya ennyama yaabwe,

ne mubabaagako eddiba,

amagumba gaabwe ne mugamenyaamenya,

era ne mubasalaasala ng’ennyama

eneefumbibwa mu nsaka.”

43:4 a Zab 18:41; Is 1:15 b Ma 31:17Balikoowoola Mukama,

naye talibaanukula.

Mu biro ebyo alibakweka amaaso ge

olw’ebibi bye bakoze.

53:5 Is 3:12; 9:16Bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,

“Bannabbi ababuzaabuza abantu

balangirira nti, ‘Mirembe,’ eri oyo abaliisa,

naye oyo atabaliisa bamuggulako olutalo.

63:6 a Is 8:19-22 b Is 29:10Noolwekyo ekiro kiribajjira, awatali kwolesebwa,

n’enzikiza ebajjire awatali kulagulwa.

Enjuba erigwa nga bannabbi balaba,

n’obudde bubazibirire.

73:7 a Mi 7:16 b Is 44:25Abalabi baliswazibwa

n’abalaguzi bakwatibwe ensonyi.

Bonna balibikka amaaso gaabwe

kubanga Katonda tabaanukula.”

83:8 Is 58:1Naye nze, nzijjudde amaanyi

n’Omwoyo wa Mukama,

okwekaliriza ensonga n’obuvumu,

njasanguze eri Yakobo olw’ebikolwa bye ebibi by’akola,

olw’ekibi kya Isirayiri.

93:9 Zab 58:1-2; Is 1:23Mumpulirize mmwe abakulembeze b’ennyumba ya Yakobo,

Mmwe abafuzi b’ennyumba ya Isirayiri,

Mmwe abanyooma obwenkanya

Ne mukyusa ekituufu ne mukifuula ekikyamu;

103:10 a Yer 22:13 b Kbk 2:12 c Ez 22:27mmwe abazimbidde Sayuuni ku musaayi,

Ne Yerusaalemi ne mugizimbira ku butali butuukirivu.

113:11 a Is 1:23; Yer 6:13; Kos 4:8, 18 b Yer 7:4Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,

bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,

ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.

Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,

Mukama tali naffe?

Tewali kinaatutuukako.”

123:12 Yer 26:18Noolwekyo ku lwammwe,

Sayuuni eririmibwa ng’ennimiro,

ne Yerusaalemi erifuuka ntuumu ya bifunfugu,

n’akasozi okuli yeekaalu kafuuke ng’akabira akakutte.