士師記 15 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

士師記 15:1-20

參孫向非利士人報仇

1過了些日子,在割麥的時候,參孫帶著一隻山羊羔去探望他妻子。他說:「我要進內室見我妻子。」他岳父卻不讓他進去, 2並對他說:「我以為你非常恨她,所以我把她改嫁給你的伴郎了。她妹子不是比她更美麗嗎?你可以娶來代替她。」

3參孫說:「這次我要加害非利士人,可不能怪我了。」

4於是,他出去捉了三百隻狐狸,把牠們的尾巴一對一對綁起來,將火把綁在兩條尾巴中間, 5然後點燃火把,把狐狸放進非利士人的麥田裡,將割好的麥捆和未割的麥子、葡萄園和橄欖園都燒毀了。 6非利士人問:「這是誰幹的?」有人回答說:「是亭拿人的女婿參孫幹的,因為他岳父把他的妻子嫁給了他的伴郎。」非利士人就去放火燒死了參孫的妻子和岳父。 7參孫說:「你們既然這樣做,我不向你們報仇誓不甘休。」 8參孫大肆擊殺他們,殺死了很多人。事後,他下到以坦,住在那裡的岩洞裡。

9非利士人進犯猶大,在利希一帶紮營。 10猶大人問他們:「你們為什麼來攻打我們?」非利士人回答說:「我們來捉拿參孫,向他以報還報。」 11於是,有三千猶大人去以坦的岩洞找參孫,對他說:「難道你不知道非利士人是我們的統治者嗎?你為什麼連累我們?」參孫回答說:「我只是以牙還牙。」 12猶大人說:「我們來是要捉拿你,把你交給非利士人。」參孫說:「你們要保證你們不會親手殺我。」 13他們說:「我們不會殺你,只將你綁起來交給非利士人。」於是,他們用兩根新繩子把參孫捆綁起來帶出岩洞。

14非利士人看見參孫來到利希,就呐喊著迎了上去。耶和華的靈降在參孫身上,綁在他手臂上的繩子就像被火燒的麻線一樣脫落下來。 15他看到一塊還沒有乾的驢腮骨,就撿起來用它殺了一千個非利士人。 16參孫說:

「用這驢腮骨,我殺人成堆;

用這驢腮骨,我殺戮千人。」

17說完,他扔掉了手中的驢腮骨。因此,那地方叫拉末·利希15·17 拉末·利希」意思是「腮骨崗」。

18參孫覺得非常口渴,便向耶和華呼求說:「你既然藉著僕人的手大敗敵人,難道你會讓我渴死、落在這些未受割禮的人手中嗎?」 19於是,上帝使利希的一處窪地裂開,湧出水來。參孫喝後恢復了精神。因此,那水泉叫隱哈·歌利15·19 隱哈·歌利」意思是「呼求者的泉」。。那水泉今天還在利希20非利士人統治期間,參孫以色列的士師二十年。

Luganda Contemporary Bible

Balam 15:1-20

115:1 Lub 38:17Awo ebbanga bwe lyayitawo, ng’ebiro eby’okukungula eŋŋaano bituuse, Samusooni n’agenda okukyalira mukazi we ng’amutwalidde akabuzi akato. N’ayogera nti, “Nnaagenda eri mukazi wange mu kisenge.” Naye kitaawe w’omukazi n’atamukkiriza kugenda yo15:1 Ekirabo ekyaweebwangayo mu biseera ebyo, omuntu okuwasa omuwala, kaali kabuzi kato (Lub 38:17). Mu bufumbo obw’ekika ekyo mu bitundu ebyo eby’ensi, omugole yasigalanga mu nnyumba ne kitaawe. Kitaawe w’omuwala teyafunanga birabo ebireetebwa ng’omuwala afumbirwa, kyokka bba w’omuwala bwe yajjanga okukyalira mukyala we, yabangako ebirabo byaleetera kitaawe w’omuwala. 215:2 Bal 14:20Kitaawe w’omukazi n’agamba Samusooni nti, “Nze nalowooza nti wamukyayira ddala, kyennava mugabira mukwano gwo. Muganda we omuto amusinga okulabika obulungi. Kaakano gw’oba otwala mu kifo ky’oli.”

3Samusooni n’abagamba nti, “Ku mulundi guno sirina musango, Abafirisuuti bwe nnaabakola akabi.” 4Awo Samusooni n’agenda n’akwata ebibe ebikumi bisatu, n’asiba bibiri bibiri emikira, n’akwataganya emikira, n’addira ebitawuliro n’ateeka ekitawuliro wakati w’emikira kinneebirye. 5N’akoleeza ebitawuliro, n’ata ebibe okugenda mu nnimiro z’Abafirisuuti. N’ayokya ebinywa n’eŋŋaano eyali tennakungulwa, n’ennimiro z’emizeeyituuni n’ennimiro z’emizabbibu.

615:6 Bal 14:15Awo Abafirisuuti bwe baabuuza akoze bwe kityo, ne boogera nti, “Ye Samusooni mukoddomi w’Omutimuna, kubanga Omutimuna yaddira mukazi wa Samusooni, n’amuwa mukwano gwa Samusooni.”

Abafirisuuti ne bagenda ne bookya omukazi ne kitaawe omuliro. 7Samusooni n’abagamba nti, “Olw’okuba nga mweyisizza bwe mutyo, sirirekayo okuggyako nga mbawalanyeeko eggwanga.” 8N’abalumba n’atta bangi nnyo ku bo, n’agenda n’abeera mu mpuku ey’omu lwazi lw’e Etamu.

915:9 nny 14, 17, 19Abafirisuuti ne bayambuka ne basiisira mu Yuda, ne basaasaana okumpi ne Leki. 10Abantu ba Yuda ne bababuuza nti, “Lwaki mutulumbye?” Abafirisuuti ne babaddamu nti, “Tuzze okuwamba Samusooni tumutwale nga musibe, tumwesasuze nga bwe yatukola.”

1115:11 Bal 13:1; 14:4; Zab 106:40-42Awo abasajja enkumi ssatu okuva mu Yuda ne bagenda ku mpuku y’olwazi lw’e Etamu ne bagamba Samusooni nti, “Tewamanya ng’Abafirisuuti be batufuga? Kaakano kiki kino ky’otukoze?” N’abaddamu nti, “Nneesasuzza kye bankola.” 12Ne bamuddamu nti, “Tuzze okukusiba tukuweeyo mu mukono gw’Abafirisuuti.” Samusooni n’abagamba nti, “Mundayirire nga temunzitte mmwe mwennyini.”

13Ne bamuddamu nti, “Tukkiriziganyizza. Tujja kukusiba busibi, tukuweeyo mu mukono gwabwe, naye tetujja kukutta.” Ne bamusiba emiguwa ebiri emiggya ne bamuggyayo mu mpuku. 1415:14 Bal 3:10; 14:19; 1Sa 11:6Bwe yali asemberera Leki Abafirisuuti ne bajja gy’ali nga baleekaana. Awo Omwoyo wa Mukama Katonda n’amukkako, emiguwa egyali gimusibye emikono ne giba ng’obugoogwa obwokeddwa omuliro, ne gisumulukuka okuva ku mikono gye. 1515:15 Lv 26:8; Yos 23:10; Bal 3:31N’alaba oluba lw’endogoyi olutannavunda, n’alukwata, n’akuba abasajja lukumi.

16Samusooni n’alyoka ayogera nti,

“Nkozesezza oluba lw’endogoyi

okukola entuumu bbiri;

nkozesezza oluba lw’endogoyi

okutta abasajja lukumi.”

17Bwe yamala okwogera ekyo, n’akanyuga oluba n’alusuula, ekifo ekyo n’akituuma Lamasuleki. 1815:18 Bal 16:28N’alumwa nnyo ennyonta, n’akabira Mukama Katonda ng’agamba nti, “Omuddu wo omuwadde obuwanguzi olw’amaanyi; ne kaakano nfe, ngwe mu mukono gw’abatali bakomole?” 1915:19 Lub 45:27; Is 40:29Katonda n’akola ekinnya mu Leki, ne muvaamu amazzi, kwe yanywa n’addamu amaanyi, n’aba mulamu. Ekifo ekyo kyeyava akituuma Enkakkole, era kikyaliyo mu Leki n’okutuusa leero.

2015:20 Bal 13:1; 16:31; Beb 11:32Samusooni n’akulembera Isirayiri mu biro by’Abafirisuuti, okumala emyaka amakumi abiri.