哥林多後書 11 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

哥林多後書 11:1-33

保羅與假使徒

1請你們多包涵,聽我說幾句愚妄話吧!我知道你們一定會包容我。 2我要求你們忠貞不渝,正如上帝要求祂的子民忠貞不渝一樣。因為我曾把你們當作貞潔的少女許配給一位丈夫——基督。 3但我真怕你們會像被狡猾的蛇欺騙的夏娃一樣,思想受迷惑,失去了對基督純真專一的心。 4有人來傳另一位耶穌——與我們所傳的不同,或要你們接受另一個靈——與你們所接受的不同,或要你們相信另一種福音——與你們所相信的不同,你們竟欣然容忍。 5我想,我一點也不比那些「超級使徒」差。 6我雖然不善辭令,但我認識真理。這一點,我在各樣的事上已經向你們證明了。

7我為了把福音白白地傳給你們,甘願卑微,以擢升你們,我這樣做有罪嗎? 8我「搶奪」其他教會,拿了他們的資助,來服侍你們。 9我在你們那裡經濟拮据的時候,沒有拖累過你們任何人,因為馬其頓來的弟兄姊妹補足了我的缺乏。我沒有在任何方面成為你們的負擔,將來也不會成為你們的負擔。 10我憑我心中基督的真理說,亞該亞地區無人會阻止我這樣誇口。 11為什麼呢?難道我不愛你們嗎?上帝知道我愛你們!

12我現在所做的,將來還會繼續做下去,為了要斷絕那些投機分子的機會,使他們無法吹噓自己的職分與我們一樣。 13其實這些人是假使徒,為人詭詐,冒充基督的使徒。 14這不足為奇,因為連撒旦都裝成光明的天使, 15牠的爪牙若冒充公義的僕人,又何足為奇呢?他們最終必得到應得的報應。

保羅的諸多苦難

16我再說,誰也別把我當作傻瓜。如果你們真的當我是傻瓜,就把我當傻瓜看待吧!好讓我也能說幾句自誇的話。 17我這樣說,並不是主的意思,而是像一個傻瓜一樣誇口。 18既然許多人憑血氣誇口,我當然也可以誇口。 19因為你們這些聰明人竟然甘願忍受那些傻瓜, 20就算有人奴役、剝削、利用、侮辱你們,打你們耳光,你們都能逆來順受! 21慚愧得很,我必須說,我們太軟弱了,做不出那樣的事!

然而,別人敢誇口的,讓我再講一句傻話,我也敢。 22他們是希伯來人,我也是。他們是以色列人,我也是。他們是亞伯拉罕的子孫,我也是。 23他們自稱是基督的僕人,我說句狂話,我更是!我比他們更辛苦,坐牢更多,身受更重的鞭打,經常出生入死。 24我被猶太同胞鞭打了五次,每次三十九鞭11·24 三十九鞭」希臘文是「四十鞭減一鞭」。25羅馬人用棍打了三次,被人用石頭打了一次,遇到船難三次,曾在大海上漂浮了一天一夜。 26我常常四處奔波,遭遇江河的危險、盜賊的威脅、同胞的威脅、外族的威脅,城中的危險,曠野的危險,海上的危險和假信徒的威脅。 27我勞碌困苦,不得安眠,又饑又渴,挨餓受凍,赤身露體。 28此外,我還掛慮眾教會的事,天天承受著壓力。 29有誰軟弱,我不感同身受呢?有誰失足犯罪,我不心急如焚呢?

30如果一定要誇耀,我情願誇耀自己的軟弱。 31主耶穌的父——永受稱頌的上帝知道我不撒謊。 32大馬士革的時候,亞哩達王手下的總督吩咐人把守城門,要逮捕我。 33我只好藏在筐子裡,被人從城牆上的窗戶縋下去,才逃出了他的魔掌。

Luganda Contemporary Bible

2 Abakkolinso 11:1-33

Pawulo n’abatume ab’obulimba

111:1 a nny 4, 19, 20 b nny 16, 17, 21Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize. 211:2 a Kos 2:19 b 2Ko 4:14Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo; 311:3 Lub 3:1-6, 13kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo. 411:4 a 1Ko 3:11 b Bar 8:15 c Bag 1:6-9Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza. 5Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza. 611:6 a 1Ko 1:17 b Bef 3:4Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna.

711:7 a 2Ko 12:13 b 1Ko 9:18Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda ey’obwereere? 811:8 Baf 4:15, 18Nanyaga ekkanisa endala, kubanga zampeerezanga ensimbi ne nzikozesa nga ndi nammwe ndyoke mbaweereze, 911:9 2Ko 12:13, 14, 16era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo. 1011:10 a Bar 9:1 b Bik 18:12 c 1Ko 9:15Ng’amazirna ga Kristo bwe gali mu nze, okwenyumiriza kuno tekujja kuziyizibwa mu nze mu bitundu bya Akaya. 1111:11 2Ko 12:15Lwaki? Olw’okubanga sibaagala? Katonda amanyi nga mbaagala. 12Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe. 1311:13 a 2Pe 2:1 b Tit 1:10 c Kub 2:2Abantu ng’abo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. 14Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika ow’omusana. 1511:15 Baf 3:19Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ng’abaweereza b’obutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ng’ebikolwa byabwe biri.

Okubonaabona kwa Pawulo

1611:16 nny 1Nziramu okubagamba nti omuntu yenna aleme kundowooza kuba musirusiru; kyokka ne bwe mundowooza okuba omusirusiru, munsembeze, nange neenyumirizeeko katono. 1711:17 1Ko 7:12, 25Kaakano bye njogera Mukama si yandagidde okubyogera, wabula neeyisa ng’omusirusiru mu buvumu buno obw’okwenyumiriza. 1811:18 Baf 3:3, 4Naye obanga bano beenyumiriza mu by’omubiri nange ka nneenyumirize. 1911:19 1Ko 4:10Mmwe muli bagezi, kyemuva mugumiikiriza abasirusiru. 20Omuntu yenna bw’abafuula abaddu, oba n’abanyaga, oba n’abalyazaamanya, oba ne yeegulumiza, oba n’abakuba empi, mukigumiikiriza. 2111:21 a 2Ko 10:1, 10 b Baf 3:4Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola. 2211:22 a Baf 3:5 b Bar 9:4Bo Baebbulaniya? Nange bwe ndi. Bagamba nti Bayisirayiri? Nange bwe ntyo. Bazzukulu ba Ibulayimu? Nange bwe ndi. 2311:23 a 1Ko 15:10 b Bik 16:23Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa. 24Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egy’enjawulo etaano. 2511:25 Bik 14:19Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba. 2611:26 a Bik 9:23; 14:5 b Bik 21:31 c Bag 2:4Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda; 2711:27 1Ko 4:11, 12; 2Ko 6:5mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. 28Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri. 29Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bw’agwa mu kibi, nange njaka munda yange.

3011:30 1Ko 2:3Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olw’ebyo ebiraga obunafu bwange! 3111:31 Bar 9:5Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba. 3211:32 Bik 9:24Bwe nnali mu Damasiko, Kabaka Aleta yalagira gavana alagire abakuumi b’ekibuga, nkwatibwe, 3311:33 Bik 9:25naye ne mpisibwa mu ddirisa, eryali mu kisenge kya bbugwe w’ekibuga, nga ndi mu kisero kye baaleebeesa ku miguwa okuntuusa ebweru wansi, bwe ntyo abo ne mbawona.