哥林多前書 5 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

哥林多前書 5:1-13

清除淫亂之罪

1我聽說在你們當中竟有人與繼母亂倫。這種淫亂的事,就是連異教徒都做不出來。 2你們竟然還自高自大!難道你們不該痛心,把做這事的人從你們當中趕出去嗎? 3現在,我雖然身在遠方,心卻在你們那裡。我已經審判了做這事的人,就像親自在場一樣。 4你們奉我們主耶穌的名聚會時,我的心並我們主耶穌的權能也與你們同在。 5你們要把這人交給撒旦去毀壞他的肉體,好使這人的靈魂在主耶穌再來的日子可以得救。

6你們自誇不是好事,豈不知一點麵酵能使整團麵發起來嗎? 7你們要把舊酵除掉,好成為真正無酵的新麵團,因為我們逾越節的羔羊——基督已經被獻為祭了。 8所以,我們不可帶著歹毒邪惡的舊酵守這逾越節,而要用真誠純潔的無酵餅。

9我以前曾經寫信吩咐你們,不可與淫亂的人交往。 10我的意思並不是指世上所有淫亂、貪婪、欺詐與祭拜偶像的人。那樣的話,你們將不得不離開這個世界。 11我的意思是,若有人自稱是信徒,卻淫亂、貪婪、祭拜偶像、毀謗、酗酒、欺詐,你們不要和他們交往,甚至不要和他們一起吃飯。

12我何必去審判教會以外的人呢?然而,教會裡面的人豈不是該由你們審判嗎? 13上帝自會審判教會以外的人,你們要把那邪惡的人從你們當中趕出去。

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 5:1-13

Okugoba owooluganda ow’empisa embi

15:1 Lv 18:8; Ma 22:30Twategeezebwa nga mu mmwe mulimu obwenzi, ate obwenzi obutali na mu baamawanga, kubanga omuntu atwala muka kitaawe n’amufuula mukazi we. 25:2 2Ko 7:7-11Mwekuluntazizza mu kifo ky’okwewombeeka. Oyo akola ekikolwa ng’ekyo eky’okwekuluntaza, tasaanye kuggyibwamu mu mmwe? 35:3 a Bak 2:5 b 2Bs 3:6Nze newaakubadde nga siri eyo nammwe mu mubiri, naye nga bwe ndi nammwe mu mwoyo, omuntu eyakola ekyo mmaze okumusalira omusango okumusinga. 4Mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukuŋŋaane nga nange ndi nammwe mu mwoyo n’amaanyi ga Mukama waffe Yesu nga gali nammwe. 55:5 1Ti 1:20Omuntu ng’oyo mumuweeyo eri Setaani omubiri gwe guzikirizibwe, omwoyo gwe gulyoke gulokolebwe ku lunaku lwa Mukama waffe.

65:6 a Yak 4:16 b Mat 16:6, 12 c Bag 5:9Okwenyumiriza kwammwe si kulungi. Temumanyi ng’ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna? 75:7 Mak 14:12Muggyeemu ekizimbulukusa eky’edda, mulyoke mubeere ekitole ekiggya, nga temuliimu kizimbulukusa; kubanga Kristo ye ndiga eyaweebwayo ng’ekiweebwayo eky’Okuyitako ku lwaffe. 85:8 Kuv 12:14, 15Noolwekyo tulye embaga si na kizimbulukusa eky’edda, newaakubadde ekizimbulukusa eky’ettima n’ekibi, naye tugirye n’omugaati ogutaliimu kizimbulukusa nga gulimu obulongoofu n’amazima.

95:9 Bef 5:11Mbawandiikira nga mbalabula obutegattanga na benzi, 105:10 1Ko 10:27so si okwewala abenzi ab’ensi eno, oba aboomululu, oba abakumpanya, oba abasinza bakatonda abalala, kubanga kyandibagwanidde mmwe okuva mu nsi. 115:11 1Ko 10:7, 14Naye kaakano mbawandiikira nga mbategeeza nti mwewale omuntu yenna ayitibwa owooluganda ng’ate mwenzi, owoomululu, asinza bakatonda abalala, oba omuvumi, oba omutamiivu oba omukumpanya. Ab’engeri eyo n’okulya temulyanga nabo.

125:12 a Mak 4:11 b nny 3-5; 1Ko 6:1-4Kale nze nfaayo ki okusalira ab’ebweru omusango? Lwaki sisalira abo abali mu mmwe? 135:13 Ma 13:5Naye ab’ebweru Katonda ye abasalira. Omubi oyo ali mu mmwe mumuggyeemu.