哥林多前書 16 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

哥林多前書 16:1-24

捐助聖徒

1至於捐款幫助聖徒這件事,你們可以照我吩咐加拉太各教會的方法辦理。 2每逢週日,各人應按照自己的收入抽出一部分留起來,免得我到的時候才現湊。 3我到了以後,會差遣你們委託的人帶著推薦信把你們的捐款送到耶路撒冷4如果我也需要去的話,他們可以跟我一起去。

保羅的計劃

5我正打算從馬其頓經過,過了馬其頓,我就去探望你們。 6我也許會和你們住一段時期,甚至在你們那裡過冬。之後,我無論去什麼地方,你們都可以給我送行。 7我不想只是現在順道探望你們,主若許可,我盼望能夠和你們同住一段時期。 8我會在以弗所停留到五旬節, 9因為大門為我敞開了,工作很有成效,不過反對我的人也很多。

10提摩太到了以後,你們要好好接待他,讓他在你們那裡安心,因為他和我一樣,都是在為主做工。 11所以誰也不許輕視他。你們要幫助他平安地回到我這裡,我正在等候他和弟兄們同來。 12至於亞波羅弟兄,我雖然再三勸他和弟兄們去你們那裡,但他目前還不願啟行。不過他有機會就會去。

勸勉與問候

13你們要警醒,在信仰上堅定不移,做勇敢剛強的人。 14無論做什麼事,都要有愛心。

15弟兄姊妹,你們都知道司提法納一家在亞該亞是最早信主的16·15 最早信主的」希臘文是「最早的果子」。,也知道他們怎樣盡心竭力地服侍聖徒。 16你們要順服這樣的人,也要順服所有同心努力服侍的人。 17我很高興司提法納福徒拿都亞該古來我這裡,因為你們幫不到我的地方,他們都補足了。 18他們使我和你們心裡都感到十分欣慰,你們要敬重這樣的人。

19亞細亞的各教會問候你們。亞居拉百基拉夫婦和常在他們家裡聚會的信徒,奉主的名衷心地向你們問安。 20全體弟兄姊妹都問候你們。你們要以聖潔的吻彼此問候。

21保羅親筆問候你們。

22如果有人不愛主,這人可咒可詛!主啊,我願你來!

23願主耶穌基督的恩典與你們同在! 24我在基督耶穌裡愛你們所有的人。阿們!

Luganda Contemporary Bible

1 Abakkolinso 16:1-24

Okuyamba Abantu ba Katonda

116:1 a Bik 24:17 b Bik 9:13 c Bik 16:6Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya. 216:2 a Bik 20:7 b 2Ko 9:4, 5Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. 316:3 2Ko 8:18, 19Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi. 4Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.

Enteekateeka za Pawulo

516:5 a 1Ko 4:19 b Bik 19:21Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono. 6Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga. 7Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima. 816:8 a Bik 18:19 b Bik 2:1Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote. 9Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.

1016:10 a Bik 16:1 b 1Ko 15:58Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze. 1116:11 a 1Ti 4:12 b Bik 15:33Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.

1216:12 Bik 18:24; 1Ko 1:12Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.

Ebikomererayo

1316:13 a Bag 5:1; Baf 1:27 b Bef 6:10Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi. 14Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.

1516:15 a 1Ko 1:16 b Bar 16:5 c Bik 18:12Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba 16muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo. 1716:17 2Ko 11:9Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko16:17 Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko bandiba nga be baaleetera Pawulo ebbaluwa eyava mu Bakkolinso bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe. 1816:18 a Fir 7 b Baf 2:29Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.

1916:19 a Bik 18:2 b Bar 16:5Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza.

Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.

2016:20 Bar 16:16Era abooluganda bonna babalamusizza.

Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.

2116:21 Bag 6:11; Bak 4:18Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.

2216:22 a Bef 6:24 b Bar 9:3 c Kub 22:20Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!

2316:23 Bar 16:20Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

24Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.