創世記 28 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

創世記 28:1-22

1以撒雅各叫來,給他祝福,又囑咐他說:「你不要娶迦南的女子為妻。 2馬上去巴旦·亞蘭,到你外祖父彼土利家,在你舅父拉班的女兒中選一個做妻子。 3願全能的上帝賜福給你,使你的子孫眾多,成為許多民族。 4願上帝把賜給亞伯拉罕的福氣賜給你和你的後代,讓你承受你寄居之地為產業,就是上帝賜給亞伯拉罕的地方。」 5以撒雅各前往巴旦·亞蘭,去亞蘭人彼土利的兒子拉班那裡。拉班雅各以掃的舅父。

6以掃看見父親給雅各祝福,讓他到巴旦·亞蘭娶妻,叮囑他不要娶迦南的女子, 7又看見雅各聽從父母到巴旦·亞蘭去了, 8就知道父親以撒不喜歡迦南的女子。 9他便到亞伯拉罕的兒子以實瑪利那裡,娶了以實瑪利的女兒、尼拜約的妹妹瑪哈拉為妻。他娶瑪哈拉以前已經有兩個妻子了。

雅各的夢

10雅各離開別示巴,前往哈蘭11到了一個地方,太陽已經下山,他便在那裡過夜。他枕著一塊石頭睡覺, 12夢中看見有個梯子立在地上,直通到天上,梯子上有上帝的天使上上下下。 13耶和華站在梯子上28·13 在梯子上」或譯「在他旁邊」。雅各說:「我是耶和華,是你祖父亞伯拉罕的上帝,也是以撒的上帝。我要把你現在躺臥的地方賜給你和你的後代。 14你的後代必多如地上的塵沙,遍佈四方,地上萬族必因你和你的後代而蒙福。 15我與你同在,無論你去哪裡,我都會保護你,領你返回這片土地。我必實現對你的應許,決不離棄你。」

16雅各一覺醒來,說:「耶和華居然在這裡,我卻不知道。」 17他就害怕起來,說:「這地方何等可畏!這裡是上帝的家,是通天的大門。」

18雅各清早起來,把枕的那塊石頭立成柱子作記號,在上面澆上油。 19他稱那地方為伯特利28·19 伯特利」意思是「上帝的家」。,那地方以前叫路斯20雅各許願說:「如果上帝與我同在,在路上保護我,供給我衣食, 21帶領我平安地回到父親的家,我就一定敬奉耶和華為我的上帝。 22我立為柱子的這塊石頭必成為上帝的殿。凡你賜給我的,我必把十分之一獻給你。」

Luganda Contemporary Bible

Olubereberye 28:1-22

Isaaka Asindika Yakobo eri Labbaani

128:1 Lub 24:3Awo Isaaka n’ayita Yakobo n’amuwa omukisa, n’amukuutira nti, “Towasanga, wadde omu ku bakazi Abakanani. 228:2 Lub 25:20Golokoka ogende e Padanalaamu mu nnyumba ya Besweri kitaawe wa nnyoko, ofune omukazi omu ku bawala ba Labbaani mwannyina nnyoko. 328:3 a Lub 17:1 b Lub 17:6Katonda Ayinzabyonna akuwe omukisa, akwaze, weeyongere, era obeerenga n’abantu ab’enjawulo bangi. 428:4 a Lub 12:2, 3 b Lub 17:8Akuwe emikisa gya Ibulayimu, era agiwe n’ezzadde lyo, olyoke ofune ensi mw’otambulira, Katonda gye yawa Ibulayimu.” 528:5 a Kos 12:12 b Lub 24:29Bw’atyo Isaaka n’asiibula Yakobo, Yakobo n’agenda e Padanalaamu ewa Labbaani, mutabani wa Besweri Omusuuli mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Esawu ne Yakobo.

628:6 nny 1Esawu n’ategeera nga Isaaka awadde Yakobo omukisa, era ng’amusindise e Padanalaamu afuneyo omukazi, era nga bwe yamuwa omukisa yamukuutira nti, “Towasanga ku bakazi Abakanani,” 7era nga Yakobo agondedde kitaawe ne nnyina n’agenda e Padanalaamu. 828:8 a Lub 24:3 b Lub 26:35Awo n’ategeera nti abakazi Abakanani tebaasanyusa kitaawe Isaaka. 928:9 a Lub 25:13 b Lub 26:34Esawu n’agenda eri Isimayiri n’awasa omukazi erinnya lye Makalasi, muwala wa Isimayiri, mutabani wa Ibulayimu, mwannyina wa Nebayoosi, n’amwongera ku bakazi be yalina.

Ekirooto kya Yakobo ng’ali e Beseri

1028:10 Lub 11:31Awo Yakobo n’ava e Beeruseba n’ayolekera Kalani. N’atuuka mu kifo ekimu, n’asula awo ekiro ekyo, kubanga obudde bwali buzibye. 11N’addira erimu ku mayinja agaali mu kifo ekyo, n’alyezizika ne yeebaka. 1228:12 a Lub 20:3 b Yk 1:51N’aloota ng’alaba eddaala eggwanvu nga liva ku nsi okutuuka mu ggulu, era nga bamalayika ba Katonda balikkirako era nga balinnyirako, 1328:13 a Lub 12:7; 35:7, 9; 48:3 b Lub 26:24 c Lub 13:15; 35:12era nga Mukama atudde waggulu waalyo. Mukama n’agamba Yakobo nti, “Nze Mukama Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka; ensi kw’ogalamidde ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo. 1428:14 a Lub 26:4 b Lub 13:14 c Lub 12:3; 18:18; 22:18; Bag 3:8Era ezzadde lyo liriba ng’enfuufu y’oku nsi, era olibuna obugwanjuba n’obuvanjuba era n’obukiikakkono n’obukiikaddyo. Mu ggwe ne mu zadde lyo amawanga gonna ag’oku nsi mwe galiweerwa omukisa. 1528:15 a Lub 26:3; 48:21 b Kbl 6:24; Zab 121:5, 7-8 c Ma 31:6, 8 d Kbl 23:19Laba ndi wamu naawe, era nnaakukuumanga buli gy’onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno, kubanga sirikuleka okutuusa nga mmaze okukola ekyo kye nkugambye.”

16Awo Yakobo n’ava mu tulo n’agamba nti, “Mazima ddala Mukama ali mu kifo kino, nze mbadde ssimanyi.” 1728:17 Kuv 3:5; Yos 5:15N’atya nnyo, n’agamba nti, “Ekifo kino nga kyantiisa! Ekifo kino ye nnyumba ya Katonda, era guno gwe mulyango gw’eggulu.”

1828:18 a Lub 35:14 b Lv 8:11Awo Yakobo n’agolokoka ku makya, n’addira ejjinja lye yali yeezizise n’alisimba okuba empagi n’ayiwa amafuta ku mutwe gwalyo. 1928:19 Bal 1:23, 26Ekifo ekyo n’akituuma Beseri, songa ekibuga ekyo kyayitibwanga Luzi.

2028:20 a Lub 31:13; Bal 11:30; 2Sa 15:8 b nny 15Awo Yakobo ne yeerayirira ng’agamba nti, “Katonda bw’alibeera nange, n’ankuuma mu lugendo luno lwe ndiko, n’ampa emmere okulya era n’ebyokwambala ne nkomawo mirembe mu nnyumba ya kitange, 2128:21 a Bal 11:31 b Ma 26:17olwo Mukama n’aba Katonda wange. 2228:22 a Lub 35:7, 14 b Lub 14:20; Lv 27:30Era ejjinja lino lye nsimbye okuba empagi liriba nnyumba ya Katonda, era n’ebyo byonna by’ompa ndikuwaako ekimu eky’ekkumi.”