列王紀上 11 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

列王紀上 11:1-43

所羅門背棄上帝

1除了埃及公主以外,所羅門王還寵愛許多外邦女子,有摩押人、亞捫人、以東人、西頓人和人。 2耶和華曾告訴以色列人不可跟這些外族人通婚,免得受引誘去隨從他們的神明,所羅門卻迷戀這些女子。 3他有七百個妻子,都是外國的公主,還有三百個妃嬪。這些女子使他的心背棄耶和華。 4所羅門年老的時候,他的嬪妃誘惑他的心去追隨別的神明。他沒有像他父親大衛那樣忠心順服他的上帝耶和華。 5所羅門西頓人的女神亞斯她錄亞捫人的可憎神明米勒公6他做了耶和華視為惡的事,沒有像他父親大衛那樣忠心順服耶和華。 7耶路撒冷東面的山上,所羅門摩押人可憎的神明基抹亞捫人可憎的神明摩洛修建邱壇。 8他又為所有的外邦妃嬪修建邱壇,供她們向自己的神明燒香獻祭。

9-10所羅門背棄了曾兩次向他顯現的以色列的上帝耶和華,違背耶和華的命令去隨從別的神明。所以,耶和華向他發怒, 11說:「你既然違背我的命令,不遵守我的約和律例,我必奪走你的國,將它賜給你的一個臣僕。 12然而,因你父大衛的緣故,我不會在你有生之年這樣做,我要從你兒子手中把國奪走。 13但我不會全部奪走,為了我僕人大衛和我揀選的耶路撒冷,我會留下一個支派給你兒子。」

所羅門的敵人

14耶和華使以東王的後裔哈達興起,與所羅門為敵。 15從前大衛征討以東,元帥約押前去埋葬陣亡的人,將以東的男子都殺了。 16他率領以色列人在那裡住了六個月,直到殺光了以東的男子。 17那時,哈達年紀還小,他和他父親的幾個以東臣僕一起逃往埃及18他們從米甸逃到巴蘭,在那裡招聚了一些人,然後又逃到埃及去見埃及王法老。法老賜他糧食、房屋和田地。 19法老非常喜歡哈達,將王后答比妮的妹妹許配給他。 20他們生了一個兒子,取名基努拔,由王后在宮中撫養,跟王子們在一起。 21後來,哈達知道大衛已與祖先同眠,約押元帥也死了,就求法老准他回國。 22法老問他:「你為什麼要回國呢?你在我這裡還缺什麼嗎?」哈達答道:「什麼都不缺,但還是求王准我回國。」 23上帝又使以利亞大的兒子利遜興起,與所羅門為敵。這人從他主人瑣巴哈大底謝身邊逃走後, 24招聚了一群匪徒,自己做頭目。大衛征服瑣巴人後,他又前往大馬士革,在那裡做王。 25所羅門活著的時候,哈達利遜不斷為患。利遜統治亞蘭,他憎恨以色列人。

耶羅波安叛變

26所羅門的一個臣僕耶羅波安也叛變了。他是以法蓮支派洗利達尼八的兒子,母親洗魯阿是個寡婦。 27以下是他反叛所羅門的緣由:

當年所羅門建造米羅堡,修補大衛城的城牆時, 28發現年輕的耶羅波安勤奮能幹,就提拔他監管約瑟家族的一切工程。

29有一次,耶羅波安出了耶路撒冷,在路上遇見身披新衣的示羅亞希雅先知。當時野外只有他們二人。 30亞希雅將身上的新衣撕作十二片, 31耶羅波安說:「你可以拿十片。以色列的上帝耶和華說,『我必奪走所羅門的國,把十個支派賜給你。 32然而,為了我僕人大衛和我在以色列眾支派中揀選的耶路撒冷城,我會留下一個支派給所羅門33所羅門背棄了我,去祭拜西頓人的女神亞斯她錄摩押的神明基抹亞捫人的神明米勒公。他沒有遵行我的道,沒有做我視為正的事,也不像他父親大衛那樣遵守我的律例和典章。 34然而,我不會奪走他整個國,我會讓所羅門終生為王,因為我所揀選的僕人大衛遵守我的誡命和律法。 35我必從他兒子手中把國奪走,將十個支派賜給你, 36只給他兒子留下一個支派,好使我僕人大衛有後裔留在我選為居所的耶路撒冷城。 37我要讓你做王,使你如願地統治以色列38若你像我僕人大衛一樣聽從我的一切吩咐,遵行我的道,做我視為正的事,遵守我的律例誡命,我就與你同在,鞏固你的王朝,像鞏固大衛的王朝一樣,使你統治以色列39所羅門的所作所為,我必讓大衛的後裔遭難,但不會永遠如此。』」

40所羅門想殺耶羅波安,他就逃到埃及投奔埃及示撒,在那裡一直住到所羅門過世。

41所羅門的其他事蹟、作為和智慧都記在所羅門記上了。 42所羅門耶路撒冷統治以色列四十年, 43他與祖先同眠後葬在他父親大衛的城裡。他兒子羅波安繼位。

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 11:1-43

Abakazi ba Sulemaani

111:1 Ma 17:17; Nek 13:26Kabaka Sulemaani yayagala abakazi bannaggwanga bangi: Abamowaabu, n’Abamoni, n’Abayedomu, n’Abasidoni, n’Abakiiti, ng’okwo kw’ogasse muwala wa Falaawo, 211:2 Kuv 34:16; Ma 7:3-4nga bava mu mawanga Mukama ge yayogerako ng’alabula Abayisirayiri nti, “Temufumbiriganwanga nabo kubanga tebalirema kukyusa mitima gyammwe okugoberera bakatonda baabwe.” Naye omutima gwa Sulemaani ne guwugulwa, era naabagala. 3Sulemaani yalina abakyala lusanvu abambejja, n’abakazi abalala ebikumi bisatu, era abo bonna ne bamuwabya. 411:4 1Bk 8:61; 9:4Mu bisera bya Sulemaani eby’obukadde, bakyala be ne basendasenda omutima gwe okugoberera bakatonda abalala. 511:5 a nny 33; Bal 2:13; 2Bk 23:13 b Bal 2:7N’atanula okusinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abasidoni, ne Mirukomu katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. 6Sulemaani n’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama n’atagobererera ddala Mukama, n’atakola nga Dawudi kitaawe bwe yakola.

711:7 a 2Bk 23:13 b Kbl 21:29; Bal 11:24 c Lv 20:2-5; Bik 7:43Sulemaani n’azimba ebifo ebigulumivu ku kasozi11:7 Akasozi akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi lwe lusozi lw’Emizeeyituuni, oluyitibwa Olusozi olw’Obwonoonefu (2Bk 23:13) akali ebuvanjuba w’e Yerusaalemi, ng’abizimbira Kemosi katonda ow’omuzizo ow’Abamowaabu, ne Moleki katonda ow’omuzizo ow’Abamoni. 8Bakyala be bonna bannamawanga, abaayoterezanga obubaane eri bakatonda baabwe, nabo n’abakolera bw’atyo. 911:9 nny 2-3; 1Bk 3:5; 9:2Mukama n’asunguwalira Sulemaani kubanga omutima gwe gwava ku Mukama Katonda wa Isirayiri, eyamulabikira emirundi ebiri. 1011:10 a 1Bk 9:6 b 1Bk 6:12Newaakubadde nga Mukama yali alabudde Sulemaani obutagoberera bakatonda abalala, Sulemaani teyagondera kiragiro kya Mukama. 1111:11 nny 31; 1Bk 12:15-16; 2Bk 17:21Mukama kyeyava agamba Sulemaani nti, “Olw’empisa zo, n’obutakuuma ndagaano yange newaakubadde okugondera amateeka gange ge nakulagira, ndikuggyako obwakabaka, ne mbuwa omu ku baddu bo. 12Naye olwa Dawudi kitaawo, ekyo sirikikola mu biro byo, ndikikola, mutabani wo atandise okufuga. 1311:13 a 1Bk 12:20 b 2Sa 7:15 c Ma 12:11Ate era sirimuggyako bwakabaka bwonna, naye ndimuwa ekika kimu ku lwa Dawudi omuddu wange, n’olwa Yerusaalemi, kye neerondera.”

Abalabe ba Sulemaani

14Awo Mukama n’ayimusiza Sulemaani omulabe erinnya lye Kadadi Omwedomu, ow’olulyo olulangira mu Edomu. 1511:15 Ma 20:13; 2Sa 8:14; 1By 18:12Emabegako Dawudi bwe yali alwana ne Edomu, Yowaabu omuduumizi w’eggye eyali agenze okuziika Abayisirayiri abaali battiddwa, yasigalayo n’atta abasajja bonna mu Edomu. 16Yowaabu n’Abayisirayiri bonna be yagenda nabo ne babeera eyo okumala emyezi mukaaga, okutuusa lwe baasaanyaawo abasajja bonna mu Edomu. 17Naye Kadadi, ng’akyali mulenzi, yaddukira e Misiri n’abakungu abamu Abayedomu abaweerezanga kitaawe. 1811:18 Kbl 10:12Ne bagolokoka okuva mu Midiyaani okugenda e Palani. Ne bafuna abasajja okuva mu Palani, ne bagenda e Misiri, ewa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, eyamuwa ennyumba ne ttaka, era n’amuwanga n’emmere ey’okulya.

19Awo Kadadi n’alaba ekisa mu maaso ga Falaawo n’okumuwa n’amuwa mulamu we, muganda wa Tapenesi kaddulubaale, okumufumbirwa. 20Muganda wa Tapenesi n’azaalira Kadadi omwana wabulenzi n’amutuuma Genubasi, era Tapenesi n’amutwala mu lubiri okumulabirira. Genubasi n’akulira eyo wamu n’abaana ba Falaawo.

21Kadadi bwe yali mu Misiri, n’awulira nti Dawudi yeebakira wamu ne bajjajjaabe era nga ne Yowaabu omuduumizi w’eggye yafa, n’agamba Falaawo nti, “Ka nzireyo ewaffe mu nsi yange.”

22Falaawo n’amubuuza nti, “Kiki ky’otofunye wano, ekikwagaza okuddayo mu nsi yo?” Kadadi n’amuddamu nti, “Tewali, naye nzikiriza ŋŋende.”

2311:23 a nny 14 b 2Sa 8:3Katonda n’ayimusiza Sulemaani, omulabe omulala, erinnya lye Lezoni mutabani wa Eriyada, eyali adduse ku mukama we Kadadezeri kabaka w’e Zoba. 2411:24 2Sa 8:5; 10:8, 18Dawudi bwe yatta eggye ly’e Zoba, Lezoni n’akuŋŋaanya abasajja abajeemu n’afuuka mukulu waabwe, n’addukira e Ddamasiko, n’akiwamba, n’abeera eyo nga gy’afugira. 2511:25 2Sa 10:19Yali mulabe wa Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwa Sulemaani, ng’okwo kw’otadde emitawaana Kadadi gye yaleetera Isirayiri. Lezoni n’addukira mu Alamu, era n’abeera mulabe wa Isirayiri omuzibu ennyo.

Yerobowaamu Ajeemera Sulemaani

2611:26 2Sa 20:21; 1Bk 12:2; 2By 13:6Yerobowaamu mutabani wa Nebati, Omwefulayimu ow’e Zereda, nnyina nga ye nnamwandu wa Zeruwa, ate nga y’omu ku bakungu ba Sulemaani, n’ajeemera kabaka. 2711:27 1Bk 9:24Eno y’engeri gye yajeemeramu kabaka: Sulemaani yali azimbye obusenge obuwagika, ng’azibye ebituli ebyali mu bbugwe ow’ekibuga kya Dawudi kitaawe. 2811:28 a Lus 2:1 b Nge 22:29Yerobowaamu yali musajja mwesimbu, era Sulemaani bwe yalaba omulimu gwe omulungi, n’amusiima n’amufuula omukulu w’emirimu gyonna egy’amaanyi mu nnyumba ya Yusufu. 2911:29 1Bk 12:15; 14:2; 2By 9:29Awo mu biro ebyo Yerobowaamu bwe yali ng’ava mu Yerusaalemi, n’asisinkana Akiya nnabbi w’e Siiro ng’ayambadde ekyambalo ekiggya, baali bokka ku ttale. 3011:30 1Sa 15:27Akiya n’addira ekyambalo kye n’akiyuzaamu ebitundu kkumi na bibiri. 3111:31 nny 11N’agamba Yerobowaamu nti, “Weetwalire ebitundu kkumi, kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Laba, ŋŋenda kuggya ku Sulemaani obwakabaka, nkuweeko ebika kkumi. 32Naye olw’omuddu wange Dawudi n’ekibuga Yerusaalemi, kye neerondera mu bika byonna ebya Isirayiri, alisigazaako ekika kimu. 3311:33 a nny 5-7 b 1Bk 3:3Kino ndikikola kubanga banvuddeko ne basinza Asutoleesi katonda omukazi ow’Abamoni, ne batatambulira mu kkubo lyange, wadde okukola ebituufu mu maaso gange newaakubadde okugondera ebiragiro byange oba amateeka gange, nga Dawudi kitaawe wa Sulemaani bwe yakola.

34“ ‘Naye Sulemaani sirimuggyako bwakabaka bwonna, wabula ndimuleka nga y’afuga ennaku zonna ez’obulamu bwe olw’omuddu wange Dawudi, gwe nalonda era eyagondera amateeka n’ebiragiro byange. 35Ndiggya obwakabaka ku mutabani wa Sulemaani, ne nkuwa ebika kkumi. 3611:36 a nny 13; 1Bk 12:17 b 1Bk 15:4; 2Bk 8:19Ekika ekimu ndikiwa mutabani we, omuddu wange Dawudi abeerenga n’ettabaaza mu maaso gange mu Yerusaalemi, ekibuga kye neeroboza olw’erinnya lyange. 3711:37 2Sa 3:21Wabula, ggwe ndikutwala, era olifuga wonna omutima gwo gye gulisiima, era olibeera kabaka wa Isirayiri. 3811:38 a Ma 17:19 b Yos 1:5; 2Sa 7:11, 27Bw’onoogonderanga byonna bye nkulagira n’otambuliranga mu makubo gange, era n’okolanga ebituufu mu maaso gange ng’okugonderanga ebiragiro n’amateeka gange, nga Dawudi omuddu wange bwe yakola, nnaabeeranga naawe. Ndikukolera ekika eky’enkalakkalira, nga kye nakolera Dawudi, era ndikuwa ne Isirayiri. 39Kyendiva nzikakkanya ezzadde lya Dawudi, naye si bbanga lyonna.’ ”

4011:40 2By 12:2Sulemaani n’agezaako okutta Yerobowaamu, naye Yerobowaamu n’addukira e Misiri, ewa Sisaki11:40 Sisaki ye falaawo eyasooka mu kyasa ky’abafuzi ab’amakumi abiri mu ebiri mu Misiri (945–924 bc). kabaka waayo, n’abeera eyo okutuusa Sulemaani bwe yafa.

Okufa kwa Sulemaani

41Ebyo byonna ebyabaawo ku mulembe gwa Sulemaani, ne byonna bye yakola, n’amagezi ge yalaga, byawandiikibwa mu bitabo eby’ebyafaayo ebya Sulemaani. 42Sulemaani yafuga Isirayiri yonna ng’ali mu Yerusaalemi okumala emyaka amakumi ana. 4311:43 1Bk 14:21; Mat 1:7N’afa n’aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe. Awo Lekobowaamu mutabani we n’amusikira.