俄巴底亞書 1 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

俄巴底亞書 1:1-21

1俄巴底亞看到的異象。

耶和華懲罰以東

論到以東

主耶和華這樣說:

「我們從耶和華那裡聽到消息,

有位使者被派到各國,說,

『來!我們去攻打以東吧!』」

2耶和華對以東說:

「我要讓你成為列國中最弱小的國家,

使你飽受藐視。

3你住在懸崖峭壁間,

住在高山上,

自以為誰也不能把你拉下來,

但你的驕傲欺騙了你。

4即使你如鷹高飛,

在星辰間築巢,

我也必把你拉下來。

這是耶和華說的。

5「盜賊深夜洗劫你的家,

不會洗劫一空;

人們摘葡萄,不會摘光;

但你會被徹底毀滅!

6以掃1·6 以掃」又名「以東」。要被洗劫一空,

他藏的珍寶要被搜去。

7你的盟友將你逐出家園;

你的朋友欺騙你,戰勝你;

你的知己設陷阱害你,

你卻懵然不知。」

8耶和華說:「到那天,

我要毀滅以東的智者,

除掉以掃山上的明哲。

9提幔的勇士必驚慌失措,

以掃山上的人盡遭殺戮。

懲罰以東的原因

10「因你曾殘暴地對待同胞兄弟雅各

你必蒙羞,永遭毀滅。

11外族人掠奪雅各的財物,

攻入耶路撒冷抽籤分贓時,

你竟然袖手旁觀,

就像他們的同夥一樣。

12你的親族遭難之日,

你不該幸災樂禍;

猶大人被滅的日子,

你不該興高采烈;

他們遭難的日子,

你不該口出狂言;

13我子民遭難的日子,

你不該闖進他們的城;

他們遭難的日子,

你不該幸災樂禍;

他們遭難的日子,

你不該趁火打劫;

14你不該站在路口截殺那些逃亡者;

他們遭難的日子,

你不該把倖存者交給仇敵。

15「耶和華懲罰萬國的日子近了。

必按你的所作所為報應你,

你的惡行必落到自己頭上。

16你們猶大人在我的聖山上怎樣飽飲憤怒,

萬國也要照樣飲,

且要大口吞下,

直到他們完全消逝。

以色列的復興

17「然而,錫安山必成為避難所,

成為聖地。

雅各家必得到自己的產業。

18雅各家將成為火,

約瑟家將成為烈焰,

以掃家將成為碎稭,

被火焚燒、吞噬,無一人逃脫。

這是耶和華說的。

19「南地的人將佔領以掃山;

丘陵的人將佔領非利士

奪取以法蓮撒瑪利亞

便雅憫人將佔領基列

20被擄的以色列人將返回家園,

佔領遠至撒勒法一帶的土地;

耶路撒冷被擄到西法拉的人將佔領南地各城。

21拯救者必登上錫安山,

統治以掃山,

耶和華必做王掌權。」

Luganda Contemporary Bible

Obadiya 1:1-21

11 a Is 63:1-6; Yer 49:7-22; Ez 25:12-14; Am 1:11-12 b Is 18:2 c Yer 6:4-5Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya.

Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu.

Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda,

Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti,

“Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”

2“Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,

era olinyoomererwa ddala.

33 a Is 16:6 b Is 14:13-15; Kub 18:7Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe,

mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi,

era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi.

Mmwe aboogera nti,

‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’

44 a Kbk 2:9 b Is 14:13 c Yob 20:6Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu

era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye,

ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”

bw’ayogera Mukama.

55 Ma 24:21“Singa ababbi babajjira,

n’abanyazi ne babalumba ekiro,

akabi nga kaba kabatuuseeko.

Tebandibabbyeko byonna bye baagala?

Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde,

tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?

6Esawu alinyagulurwa,

eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.

77 a Yer 30:14 b Zab 41:9Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo,

Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula;

abo abalya emmere yo balikutega omutego,

balikutega omutego kyokka toliguvumbula.

88 Yob 5:12; Is 29:14“Ku lunaku olwo,

sirizikiriza bagezi b’e Edomu,

abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.

99 Lub 36:11, 34“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya,

era na buli muntu mu nsozi za Esawu

alittibwa.

1010 a Yo 3:19 b Zab 137:7; Am 1:11-12 c Ez 35:9Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo,

oliswazibwa.

Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.

1111 Nak 3:10Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo,

nga banyaga obugagga bwa Isirayiri,

ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye,

ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi,

wali omu ku bo.

1212 a Ez 35:15 b Nge 17:5 c Mi 4:11Tosaanye kusekerera muganda wo

mu biseera bye eby’okulaba ennaku,

wadde okusanyuka ku lunaku

olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,

newaakubadde okwewaana ennyo

ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.

1313 Ez 35:5Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange

ku lunaku kwe baalabira obuyinike,

wadde okubasekerera

ku lunaku kwe baabonaabonera,

newaakubadde okutwala obugagga bwabwe

ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.

14Temulindira mu masaŋŋanzira

okutta abo abadduka,

wadde okuwaayo abawonyeewo

mu biro eby’okulabiramu ennaku.

1515 a Ez 30:3 b Yer 50:29; Kbk 2:8“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira

amawanga gonna omusango.

Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa.

Ebikolwa byammwe biribaddira.

1616 Yer 25:15; 49:12Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu

n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma;

balikinywa,

babe ng’abataganywangako.

1717 a Am 9:11-15 b Is 4:3Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona,

kubanga lutukuvu,

n’ennyumba ya Yakobo

eritwala omugabo gwabwe.

1818 Zek 12:6Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro,

n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro.

Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku,

era baligyokya n’eggwaawo.

Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu

n’omu alisigalawo,

kubanga Mukama akyogedde.

1919 a Is 11:14 b Yer 31:5“Abantu b’e Negebu balitwala

olusozi Esawu,

n’abantu ab’omu biwonvu balitwala

ensi y’Abafirisuuti.

Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya,

ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.

2020 a 1Bk 17:9-10 b Yer 33:13Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani,

balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi;

abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi,

balyetwalira ebibuga mu Negebu.

2121 Zab 22:28; Zek 14:9, 16; Kub 11:15Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni,

okufuga ensozi za Esawu.

Obwakabaka buliba bwa Mukama.”