使徒行傳 13 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

使徒行傳 13:1-52

巴拿巴和掃羅接受差遣

1安提阿教會中有幾位先知和教師,就是巴拿巴、綽號「黑人」的希緬古利奈路求、與分封王希律一同長大的馬念以及掃羅2一天,他們正在敬拜主、禁食的時候,聖靈對他們說:「要為我把巴拿巴掃羅分別出來,好讓他們做我呼召他們去做的事。」 3於是,他們禁食禱告並把手按在巴拿巴掃羅身上,然後差遣他們出去。

4二人受聖靈差遣,下到西流基,從那裡乘船去塞浦路斯5他們到了撒拉米,就在當地的猶太會堂傳講上帝的道。約翰·馬可作他們的助手。

6他們走遍全島,遠至帕弗,在那裡遇見一個冒充先知的猶太術士巴·耶穌7這人和當地的士求·保羅總督常有來往。士求·保羅是個聰明人,他邀請了巴拿巴掃羅來,要聽上帝的道。 8希臘名字叫以呂馬的那個術士反對使徒,試圖攔阻總督信主。 9又名保羅掃羅被聖靈充滿,盯著他說: 10「你這魔鬼的兒子,充滿了詭詐和邪惡,是一切正義之敵,到現在還想歪曲主的正道嗎? 11現在主要親手懲罰你,使你瞎眼,暫時不見天日!」

他頓覺眼前一片漆黑,只好四處摸索,求人領他走路。 12總督看見所發生的事,對主的道感到驚奇,就信了。

保羅傳揚基督

13保羅和同伴從帕弗乘船到旁非利亞別加約翰·馬可在那裡離開他們回耶路撒冷去了。 14他們由別加繼續前行,來到彼西底區的安提阿。在安息日那天,他們進了會堂坐下來。 15讀完律法書和先知書後,會堂主管派人告訴他們:「弟兄們,如果你們有什麼勸勉眾人的話,請講。」

16保羅站起來向大家揮手示意,說:「各位以色列同胞和各位敬畏上帝的外族朋友們,請聽我說。 17以色列的上帝揀選了我們的祖先,讓他們在埃及寄居期間人丁興旺成為大族,後來祂伸出臂膀帶領他們離開埃及18他們在曠野漂泊的那四十年間,上帝一直照顧、容忍他們。 19後來上帝又滅了迦南境內的七族,把土地分給他們作產業。 20前後歷時約四百五十年。之後,上帝又為他們設立士師,直到撒母耳先知的時代。

21「後來,他們求上帝為他們立一位王,上帝就選立便雅憫支派中基士的兒子掃羅為王,執政四十年。 22之後,上帝廢掉掃羅,選立大衛作王,並為他作證說,『我找到了耶西的兒子大衛,他是合我心意的人,他必遵行我一切的旨意。』 23上帝照自己的應許,從大衛的後裔中為以色列人立了一位救主,就是耶穌。 24在耶穌還未公開露面以前,約翰已經勸告以色列人要悔改,接受洗禮。 25約翰在工作快要完成的時候說,『你們以為我是誰?我不是基督。在我之後來的那位,我連給祂解鞋帶也不配。』

26「弟兄們,各位亞伯拉罕的子孫和敬畏上帝的外族人啊,這救恩之道原是傳給我們的。 27可是耶路撒冷的人和他們的官長不知道耶穌是基督,雖然每個安息日都誦讀先知的信息,卻把基督判死罪。這正應驗了先知們的話。 28他們雖然找不到判祂死罪的理由,卻強求彼拉多將祂處死。 29祂受死的記載全部應驗之後,有人把祂從十字架上取下來,安放在石墓裡。 30但上帝卻使祂從死裡復活。 31之後有許多天,那些從加利利跟隨祂上耶路撒冷的人都看見過祂,他們如今在百姓中都是祂的見證人。 32我們要報給你們一個好消息,上帝給我們祖先的應許, 33祂藉著使耶穌復活已為我們做子孫的成就了。正如詩篇第二篇所說,

『你是我的兒子,

我今日成為你父親。』

34聖經曾這樣記載上帝使祂從死裡復活、永不朽壞的事,

『我必將應許大衛的聖潔、

可靠的恩福賜給你們。』

35又在詩篇上說,

『你必不讓你的聖者身體朽壞。』

36大衛在世時遵行上帝的旨意,最後死了,葬在他祖先那裡,肉身也朽壞了。 37然而,上帝使之復活的那位卻沒有朽壞。 38所以,弟兄們,你們應該知道,赦罪的信息是藉著耶穌傳給你們的。 39你們靠遵行摩西律法不能被稱為義人,只有信靠耶穌才能被稱為義人。 40你們要當心,免得先知說的話應驗在你們身上,

41『藐視真理的人啊,看吧!

你們要在驚懼中滅亡,

因為我要在你們的時代行一件事,

即使有人告訴你們,

你們也不會信。』」

42保羅巴拿巴離開會堂時,會堂裡的人請求他們下一個安息日再來講道。 43許多猶太人和誠心改信猶太教的外族人都跟隨保羅巴拿巴,二人就與他們談論,勸勉他們要堅定不移地信靠上帝的恩典。

44到了下一個安息日,幾乎全城的人都聚集起來,要聽上帝的道。 45猶太人看見那麼多人聚集,充滿嫉妒,便反駁保羅所講的,誹謗他。 46保羅巴拿巴毫不畏懼地說:「上帝的道本該先傳給你們,你們既然拒絕接受,認為自己不配得永生,我們現在就把這道傳給外族人。 47因為主這樣吩咐我們,

『我已使你成為外族人的光,

好把救恩帶到地極。』」

48外族人聽後,非常歡喜,頌讚主的道。凡被選定得永生的人都信了主。 49主的道傳遍了那個地方。

50猶太人煽動虔誠的貴婦和城中顯要迫害保羅巴拿巴,將二人趕出城去。 51保羅巴拿巴便當眾跺掉腳上的塵土13·51 表示兩不相干,參見馬太福音10·14,去了以哥念52門徒滿心喜樂,被聖靈充滿。

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 13:1-52

Balunabba ne Sawulo batumibwa

113:1 a Bik 11:19 b Bik 11:27 c Bik 4:36; 11:22-26 d Mat 14:1Mu Kkanisa y’omu Antiyokiya mwalimu bannabbi n’abayigiriza bano: Balunabba, ne Simooni, eyayitibwanga, “Omuddugavu” ne Lukiyo ow’e Kuleene, ne Manaeni, eyakulira awamu ne kabaka Kerode, ne Sawulo. 213:2 a Bik 8:29 b Bik 14:26 c Bik 22:21Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.” 313:3 a Bik 6:6 b Bik 14:26Awo bwe baamala okusaba n’okusiiba, ne bassa emikono gyabwe ku Balunabba ne Sawulo, ne babasiibula ne bagenda.

413:4 a nny 2, 3 b Bik 4:36Awo Balunabba ne Sawulo ne batumibwa Mwoyo Mutukuvu okugenda e Serukiya, gye baava ne bawunguka okulaga e Kupulo. 513:5 a Bik 9:20 b Bik 12:12Bwe baatuuka mu Salamisi ne bayingira mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya ne babuulira ekigambo kya Katonda. Yokaana Makko yali nabo okubaweereza.

613:6 a Bik 8:9 b Mat 7:15Ne bagenda nga babuulira ku kizinga kyonna okutuuka e Pafo. Eyo ne basangayo omufumu Omuyudaaya eyali nnabbi ow’obulimba, erinnya lye Balisa. 713:7 nny 8, 12; Bik 19:38Yayitanga ne Serugiyo Pawulo, gavana Omuruumi ow’oku kizinga ekyo. Gavana ono yali musajja w’amagezi, n’atumya Balunabba ne Sawulo ng’ayagala okuwulira ekigambo kya Katonda. 813:8 a Bik 8:9 b nny 7 c Bik 6:7Naye Eruma omufumu (kubanga ago ge makulu g’erinnya lye mu Luyonaani), n’abeekiikamu, n’agezaako okusendasenda gavana aleme okuwuliriza ebigambo eby’okukkiriza. 913:9 Bik 4:8Naye Sawulo, era ng’ayitibwa Pawulo, n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, n’atunuulira Eruma enkaliriza, 1013:10 a Mat 13:38; Yk 8:44 b Kos 14:9n’amugamba nti, “Ggwe, omusajja ajudde obulimba bwonna n’obukuusa bwonna, omwana wa Setaani, era omulabe w’obutuukirivu bwonna olikomya ddi okukyusakyusa amakubo ga Katonda amatereevu? 1113:11 Kuv 9:3; 1Sa 5:6, 7; Zab 32:4Kaakano omukono gwa Mukama gukwolekedde, ojja kuziba amaaso, omale ebbanga nga tolaba musana.”

Amangwago olufu n’ekizikiza ne bimusaanikira, n’atandika okuwammanta ng’anoonya anaamukwata ku mukono. 1213:12 nny 7Awo gavana bwe yalaba ebibaddewo, n’akkiriza, era n’awuniikirira nnyo olw’okuyigiriza kw’ekigambo kya Mukama.

Balunabba ne Pawulo mu Antiyokiya eky’e Pisidiya

1313:13 a nny 6 b Bik 12:12Awo Pawulo ne be yali nabo ne basaabala ku nnyanja okuva e Pafo ne bagoba e Peruga eky’e Panfuliya. Naye Yokaana Makko n’abalekayo n’addayo e Yerusaalemi. 1413:14 a Bik 14:19, 21 b Bik 16:13 c Bik 9:20Kyokka Balunabba ne Pawulo ne beeyongerayo mu lugendo lwabwe ne batuuka mu kibuga Antiyokiya ekiri mu Pisidiya. Awo ku lunaku lwa Ssabbiiti ne bagenda ne batuula mu kkuŋŋaaniro. 1513:15 Bik 15:21Ebitundu ebyaggyibwa mu Mateeka ne mu Bannabbi bwe byaggwa okusomebwa, abakulembeze b’ekuŋŋaaniro ne batumira Balunabba ne Pawulo we baali batudde nga bagamba nti, “Abasajja abooluganda, obanga ku mmwe waliwo alina ekigambo ekizimba abantu akyogere.”

1613:16 Bik 12:17Awo Pawulo n’ayimuka, n’abawenya n’ayogera nti, “Abasajja Abayisirayiri, nammwe abatya Katonda, muwulirize! 1713:17 Kuv 6:6, 7; Ma 7:6-8Katonda w’eggwanga lino Isirayiri yalonda bajjajjaffe n’abafuula eggwanga ekkulu bwe baali abagenyi mu nsi y’e Misiri n’oluvannyuma n’abaggyayo n’omukono gwe ogw’amaanyi, 1813:18 a Ma 1:31 b Bik 7:36n’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu. 1913:19 a Ma 7:1 b Yos 19:51N’azikiriza amawanga musanvu agaabeeranga mu nsi ya Kanani, era ensi eyo n’agiwa Abayisirayiri okubeera omugabo gwabwe, 2013:20 a Bal 2:16 b 1Sa 3:19, 20okumala emyaka ng’ebikumi bina mu ataano.

“Oluvannyuma n’abalondera abalamuzi okubafuganga okutuusa mu biro bya nnabbi Samwiri. 2113:21 a 1Sa 8:5, 19 b 1Sa 10:1 c 1Sa 9:1, 2Awo abantu ne basaba bafugibwe kabaka. Katonda n’abawa Sawulo mutabani wa Kiisi, ow’omu kika kya Benyamini, n’afugira emyaka amakumi ana. 2213:22 a 1Sa 15:23, 26 b 1Sa 16:13 c 1Sa 13:14Naye Katonda n’amuggya ku bwakabaka, n’abuwa Dawudi, oyo Katonda gwe yayogerako obulungi nti, ‘Nnonze Dawudi, mutabani wa Yese, omusajja omutima gwange gwe gwagala ajja okukola bye njagala.’

2313:23 a Mat 1:1 b Luk 2:11“Mu zzadde lye, Katonda mwe yalonda Omulokozi, ye Yesu, nga bwe yasuubiza Isirayiri. 24Naye nga tannajja, Yokaana yabuulira abantu bonna mu Isirayiri okubatizibwa okw’okwenenya. 25Era Yokaana bwe yali ng’ali kumpi okufundikira omulimu gwe, yagamba nti, ‘Mundowooza kuba ani? Nze siri ye. Laba Ye ajja oluvannyuma lwange, n’okusaanira sisaanira na kusumulula ngatto ze.’

2613:26 Bik 4:12“Abasajja abooluganda mmwe bazzukulu ba Ibulayimu, nammwe abatya Katonda, obubaka buno obw’obulokozi, bwaffe ffenna wamu. 2713:27 a Bik 3:17 b Luk 24:27Ababeera mu Yerusaalemi n’abakulembeze baabwe ne batamumanya oyo newaakubadde ebigambo bya bannabbi, ebyasomebwanga buli Ssabbiiti. Baamusalira omusango, ne batuukiriza ebigambo bino. 2813:28 Mat 27:20-25Tebaalina nsonga emussa, naye era ne basaba Piraato amutte. 2913:29 a Luk 18:31 b Bik 5:30 c Luk 23:53Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyamuwandiikwako, n’awanulwayo ku musaalaba n’agalamizibwa mu ntaana. 3013:30 Mat 28:6; Bik 2:24Naye Katonda n’amuzuukiza mu bafu. 3113:31 a Mat 28:16 b Luk 24:48Era abo be yajja nabo e Yerusaalemi ng’ava e Ggaliraaya n’abalabikiranga okumala ennaku nnyingi. Era be bajulirwa be eri abantu.

32“Ne kaakano tubategeeza nti, Katonda kye yasuubiza bajjajjaffe 33yakituukiriza mu ffe ne mu baana baffe, bwe yazuukiza Yesu mu bafu. Nga bwe kyawandiikibwa mu Zabbuli eyookubiri nti,

“ ‘Mwana wange,

leero nfuuse Kitaawo.’

3413:34 Is 55:3Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:

“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’

3513:35 Zab 16:10; Bik 2:27Ne mu kyawandiikibwa ekirala agamba nti,

“ ‘Toliganya Mutukuvu wo kuvunda.’

3613:36 1Bk 2:10; Bik 2:29“Kino kyali tekyogera ku Dawudi, kubanga Dawudi bwe yamala okuweereza omulembe gwe nga Katonda bwe yayagala, n’afa, n’aziikibwa, era omubiri gwe ne guvunda. 37Noolwekyo, oyo Katonda gwe yazuukiza teyavunda.

3813:38 Luk 24:47; Bik 2:38“Abooluganda, mumpulirize! Mu muntu ono Yesu okusonyiyibwa ebibi mwe kubuuliddwa. Kino nga tekiyinzika mu mateeka ga Musa. 3913:39 Bar 3:28Buli amukkiriza n’amwesiga aggyibwako omusango gw’ekibi, n’aweebwa obutuukirivu. 40Mwegendereze, ebigambo bya bannabbi bireme kutuukirira ku mmwe, bwe baagamba nti:

4113:41 Kbk 1:5“ ‘Mulabe, mmwe abanyoomi,

musamaalirire era muzikirire!

Kubanga nnina omulimu gwe nkola mu kiseera,

gwe mutagenda kukkiriza newaakubadde omuntu

ne bw’aligubannyonnyola atya temuligukkiriza.’ ”

4213:42 nny 14Awo Pawulo ne Balunabba bwe baali bafuluma mu kkuŋŋaaniro, abantu ne babasaba bakomewo ku Ssabbiiti eddirira bongere okubabuulira ku bigambo ebyo. 4313:43 Bik 11:23; 14:22Abayudaaya bangi awamu n’abatya Katonda abaaliwo mu kusinza okwo mu kkuŋŋaaniro, ne babagoberera. Pawulo ne Balunabba ne banyumya nabo nga bwe batambula mu kkubo, nga babasendasenda banywerere mu kukkiriza ne mu kisa kya Katonda.

44Ku Ssabbiiti eyaddirira kumpi buli muntu eyali mu kibuga n’ajja okuwulira ekigambo kya Katonda. 4513:45 a 1Bs 2:16 b Bik 18:6; 1Pe 4:4; Yud 10Naye Abayudaaya bwe baalaba ebibiina ebinene nga bizze, ne bakwatibwa obuggya, ne batandika okuwakanya n’okujolonga byonna Pawulo bye yayogeranga. 4613:46 a nny 26; Bik 3:26 b Bik 18:6; 22:21; 28:28Awo Pawulo ne Balunabba ne babaanukula n’obuvumu bungi ne babagamba nti, “Kyali kituufu Ekigambo kya Katonda kino okusooka okubuulirwa mmwe Abayudaaya. Naye nga bwe mukigaanyi, ne mweraga nti obulamu obutaggwaawo temubusaanira; kale kaakano ka tukibuulire Abaamawanga. 4713:47 a Luk 2:32 b Is 49:6Kubanga bw’atyo Mukama bwe yatulagira bwe yagamba nti,

“ ‘Mbafudde omusana okwakira Abaamawanga,

olw’obulokozi okutuuka ku nkomerero y’ensi.’ ”

48Abaamawanga bwe baawulira ebyo ne bajjula essanyu; era bangi ne bakkiriza, abo Katonda be yalonda okuwa obulamu obutaggwaawo.

49Awo ekigambo kya Katonda ne kibuna mu kitundu ekyo kyonna. 5013:50 1Bs 2:16Naye Abayudaaya ne bafukuutirira abakazi abaasinzanga Katonda ab’ebitiibwa, n’abakulembeze mu kibuga, ne batandika akeegugungo mu kibiina ky’abantu nga koolekedde Pawulo ne Balunabba, okutuusa lwe baabagoba mu kitundu kyabwe. 5113:51 a Mat 10:14; Bik 18:6 b Bik 14:1, 19, 21; 2Ti 3:11Abatume ne babakunkumulira enfuufu ey’omu bigere byabwe, ne babaviira ne balaga mu Ikoniya. 52Abayigirizwa ne bajjula essanyu ne Mwoyo Mutukuvu.