但以理書 5 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

但以理書 5:1-31

牆上寫字

1伯沙撒王盛宴款待一千大臣,與他們一同飲酒。 2王暢飲的時候,命人將先王尼布甲尼撒耶路撒冷聖殿中擄來的金銀器皿拿來,供他與大臣、王后和妃嬪用來飲酒。 3於是,他們把從耶路撒冷上帝殿中擄來的金器拿來,王與大臣、王后和妃嬪便用這些器皿飲酒。 4他們一邊飲酒,一邊頌讚金、銀、銅、鐵、木、石所造的神明。

5突然,有人手的指頭出現,在燈臺對面王宮的粉牆上寫字。王看見那隻手在寫字, 6臉色驟變,驚恐萬分,兩腿發軟,雙膝顫抖。 7他大聲傳令,召來巫師、占星家和占卜者,對這些巴比倫的智者說:「誰能讀牆上的字,把意思告訴我,他必身穿紫袍,頸戴金鏈,在國中位居第三。」 8王所有的智者進來後,竟無人能讀懂或把意思告訴王。 9伯沙撒王愈發恐懼,臉色蒼白,他的大臣都不知所措。

10太后聽到王和大臣的喊聲,便來到宴會廳,對王說:「願王萬歲!不要驚慌失色。 11你國中有一個人,他有聖潔神明的靈。先王在世時,曾發現他有神明一樣的灼見、悟性和智慧。先王尼布甲尼撒立他為術士、巫師、占星家和占卜者的首領。 12他有非凡的心智、知識和悟性,能解夢、釋謎、解惑。他叫但以理,先王給他取名叫伯提沙撒。現在可以把他召來,他必能解釋這些字的意思。」

13於是,但以理被帶到王面前。王問他:「你就是先王從猶大擄來的但以理嗎? 14我聽說你有神明的靈,有灼見、悟性和非凡的智慧。 15我召智者和巫師來讀這些字,為我解釋字的意思,但他們都不能解釋。 16我聽說你能釋夢、解惑。你若能讀出牆上的字,把意思告訴我,你必身穿紫袍、頸戴金鏈,在我的國中位居第三。」

17但以理回答說:「你的禮物自己留著,你的賞賜可以給別人,不過我會為你讀這些字,解釋意思。 18王啊,至高的上帝曾將國位、權力、尊榮、威嚴賜給你的先王尼布甲尼撒19因為他有上帝所賜的大權,各族、各邦、各語種的人都在他面前戰抖,充滿恐懼。他操生殺大權,可隨意擢升、罷黜。 20但他變得心高氣傲、剛愎自用、狂妄自大,因而被革除王位、剝去尊榮。 21他從人群中被趕走,他的心變成獸心,他與野驢同住,像牛一樣吃草,被天上的露水浸濕,直到他知道至高的上帝主宰世上萬國,祂要把國賜給誰就賜給誰。

22伯沙撒啊,你是他的後裔,你雖然知道這一切事,仍不謙卑, 23竟在天上的主面前自大,命人拿來祂殿裡的器皿,供你和大臣、王后、妃嬪用來飲酒,並頌讚不能看、不能聽、一無所知、用金、銀、銅、鐵、木、石所造的神明,卻不尊崇賜你生命氣息、掌管你一舉一動的上帝。

24「因此,上帝使指頭出現,寫下這些字, 25就是『彌尼,彌尼,提客勒,烏法珥新』。 26這些字的意思是這樣,彌尼——指上帝已經數算你國度的年日,使之到此為止; 27提客勒——指你已經被放在秤上稱了,發現分量不夠; 28烏法珥新5·28 烏法珥新」亞蘭文是「毗勒斯」,即「烏法珥新」的單數格式。——指你的國要分裂,歸給瑪代人和波斯人。」

29於是,伯沙撒下令給但以理穿上紫袍,戴上金項鏈,又宣告他在國中位居第三。 30當夜,迦勒底伯沙撒被殺。 31瑪代大流士六十二歲時奪取了王權。

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 5:1-31

Ekiwandiiko ku Kisenge

15:1 Es 1:3Kabaka Berusazza n’agabula embaga nnene eri abakungu be lukumi, ne banywa omwenge naye. 25:2 a 2Bk 24:13; Yer 52:19 b Es 1:7; Dan 1:2Awo Berusazza, yali ng’anywa omwenge, n’atumya ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza, Nebukadduneeza kitaawe bye yaggya mu yeekaalu mu Yerusaalemi, ye n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be babinyweremu. 3Era ne baleeta ebikompe ebya zaabu n’ebya ffeeza ebyaggyibwa mu yeekaalu ya Katonda mu Yerusaalemi, kabaka n’abakungu be, n’abakyala be n’abazaana be ne babinyweramu. 45:4 Zab 135:15-18; Kbk 2:19; Kub 9:20Ne banywa omwenge ne batandika okutendereza bakatonda aba zaabu n’aba ffeeza, n’ab’ebikomo, n’ab’ekyuma, n’ab’emiti n’ab’amayinja.

5Mu kiseera ekyo ne walabika engalo z’omukono gw’omuntu ne ziwandiika ku kisenge okuliraana ettaala mu lubiri lwa kabaka; kabaka n’alaba ekibatu ky’omukono nga kiwandiika. 65:6 a Dan 4:5 b Ez 7:17Entunula ye n’ekyuka, n’atya nnyo, n’amaviivi ge ne gakubagana n’amagulu ge ne galemererwa okumuwanirira.

75:7 a Is 44:25 b Dan 4:6-7 c Lub 41:42 d Dan 2:5-6, 48; 6:2-3Kabaka n’alagira mu ddoboozi ery’omwanguka baleete abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. Kabaka n’agamba abasajja abagezigezi abo ab’e Babulooni nti, “Omuntu yenna anaasoma ekiwandiiko ekyo, n’antegeeza amakulu gaakyo, alyambazibwa engoye ez’effulungu era alyambazibwa omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era aliba mukulu owa waggulu ow’ekifo ekyokusatu mu bwakabaka.”

85:8 Dan 2:10, 27Awo abasajja ba kabaka abagezigezi bonna ne bajja, naye ne balemwa okusoma ekiwandiiko ekyo newaakubadde okutegeeza kabaka amakulu gaakyo. 95:9 Is 21:4Kabaka Berusazza ne yeeyongera nnyo okweraliikirira, n’entunula ye ne yeeyongera okukyuka; n’abakungu be amagezi ne gababula.

105:10 Dan 3:9Awo muka kabaka bwe yawulira ebigambo ebyatuuka ku kabaka n’abakungu be, n’agenda mu kisenge ekinene embaga mwe yali n’ayogera nti, “Ayi kabaka, owangaale! Leka kweraliikirira, so tokeŋŋentererwa. 115:11 a Dan 4:8-9, 19 b nny 14; Dan 1:17 c Dan 2:47-48Waliwo omusajja mu bwakabaka bwo alimu omwoyo gwa bakatonda abatukuvu. Mu mirembe gya kitaawo yasangibwa okuba n’okutegeera, n’amagezi, ng’aga bakatonda, era Kabaka Nebukadduneeza kitaawo, n’amufuula omukulu w’abasawo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi. 125:12 a Dan 1:7 b nny 14-16; Dan 6:3Omusajja oyo Danyeri, kabaka gwe yatuuma Berutesazza, yasangibwa ng’alina omwoyo ogw’okutegeera, n’okumanya, n’okulootolola ebirooto, n’okubikkula ebigambo eby’ekyama, n’okutta ebibuuzo ebizibu ennyo. Kale Danyeri ayitibwe, anaakutegeeza amakulu g’ekiwandiiko.”

135:13 Dan 6:13Awo Danyeri n’aleetebwa mu maaso ga kabaka, kabaka n’amubuuza nti, “Ggwe Danyeri, omu ku abo abaaleetebwa kabaka kitange mu buwaŋŋanguse okuva mu Yuda? 14Bantegeezezza ng’omwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli w’amagezi amasukkirivu. 15Abasajja abagezigezi, n’abafumu baaleeteddwa mu maaso gange basome ekiwandiiko ekyo era bantegeeze n’amakulu gaakyo, naye balemeddwa okukinnyonnyola. 16Naye ntegeezeddwa, ng’oyinza okunnyonnyola amakulu g’ebigambo ebizibu. Kaakano bw’ononsomera ekiwandiiko ekyo, era n’ontegeeza n’amakulu gaakyo, onooyambazibwa engoye ez’effulungu n’omukuufu ogwa zaabu mu bulago, era oliba mukulu owookusatu mu bwakabaka.”

175:17 2Bk 5:16Awo Danyeri n’addamu kabaka nti, “Ebirabo byo byeterekere, n’empeera yo ogiwe omuntu omulala. Naye nzija kukusomera ekiwandiiko era nkutegeeze n’amakulu gaakyo.

185:18 Yer 27:7; Dan 2:37-38“Katonda Ali Waggulu Ennyo yawa Nebukadduneeza kitaawo obwakabaka, n’obuyinza, n’ekitiibwa n’obukulu, ayi kabaka; 195:19 Dan 2:12-13; 3:6era olw’obuyinza bwe yamuwa, abantu bonna n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna baamutyanga era ne bakankana mu maaso ge. Abo kabaka be yayagalanga battibwe, battibwanga; n’abo be yasonyiwanga, baasonyiyibwanga; n’abo be yayagalanga okugulumiza bagulumizibwanga, n’abo be yayagalanga okutoowaza, baatoowazibwanga. 205:20 a Dan 4:30 b Yer 13:18 c Yob 40:12; Is 14:13-15Naye omutima gwe bwe gwegulumiza ne gukakanyala olw’amalala ge, yaggyibwa ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ekitiibwa kye ne kimuggyibwako. 215:21 a Ez 17:24 b Dan 4:16-17, 35N’agobebwa mu bantu, n’ebirowoozo bye ne biwaanyisibwa n’aba ng’ensolo ey’omu nsiko, n’abeera wamu n’endogoyi ez’omu nsiko, n’alya omuddo ng’ente, n’omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’eggulu, okutuusa lwe yategeera nga Katonda Ali Waggulu Ennyo, y’afuga obwakabaka bw’abantu, era y’ateekawo buli gw’asiima.

225:22 Kuv 10:3; 2By 33:23“Naye ggwe mutabani we, Berusazza, teweetoowazizza mu mutima newaakubadde ng’ebyo byonna wabimanya. 235:23 a Yer 50:29 b Zab 115:4-8; Kbk 2:19 c Yob 12:10 d Yob 31:4; Yer 10:23Weegulumizizza eri Mukama w’eggulu; ebikompe ebyaggyibwa mu yeekaalu ye, obitumizzaayo; era ggwe, n’abakungu bo, n’abakyala bo, n’abazaana bo mubinywereddemu omwenge, n’oluvannyuma ne mutandika okutendereza bakatonda aba ffeeza, n’aba zaabu, n’ab’ebikomo, n’ab’ebyuma, n’ab’emiti, n’ab’amayinja abatayinza kulaba newaakubadde okuwulira newaakubadde okutegeera. Naye Katonda oyo alina omukka gwo mu ngalo ze, era amanyi engeri zo zonna, tomugulumizizza. 24Kale kyeyavudde akusindikira omukono ogwawandiise ebigambo ebyo.

25“Era ebigambo ebyawandiikiddwa bye bino nti:

Mene, Mene, Tekel, Ufarsin.

265:26 a Yer 27:7 b Is 13:6“N’amakulu gaabyo ge gano:

Mene:5:26 MENE kiyinza okutegeeza nti kubalibwa Katonda akendezezza ennaku z’obwakabaka bwo era abukomezza.

275:27 Zab 62:9Tekel:5:27 TEKEL kiyinza okutegeeza nti kupimibwa ku minzaani Opimiddwa ku minzaani, era osangiddwa ng’obulako;

285:28 a Is 13:17 b Dan 6:28Peres:5:28 PERES kiyinza okutegeeza nti kugabanyaamu Obwakabaka bwo bugabanyiziddwamu, era buweereddwa Abameedi n’Abaperusi.”

29Awo amangwago Berusazza n’alagira Danyeri ayambazibwe engoye ez’effulungu, era bamwambaze omukuufu ogwa zaabu, era n’ekiragiro ne kiyita nga bw’ali omukulembeze owookusatu mu bwakabaka.

305:30 a nny 1 b Is 21:9; Yer 51:31Ekiro ekyo Berusazza kabaka w’Abakaludaaya n’attibwa. 315:31 a Dan 6:1; 9:1 b Dan 5:31 c Es 1:1Daliyo Omumeedi n’alya obwakabaka nga wa myaka nkaaga mu ebiri.