以賽亞書 45 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 45:1-25

耶和華使塞魯士興起

1「我耶和華膏立塞魯士為王,

我牽著他的右手幫助他征服列國、降服列王;

我使城門洞開,

讓他通行無阻。

我對他說,

2『我要走在你前面,

為你鏟平高山,

打破銅門,

砍斷鐵閂。

3我要把隱藏的寶物和秘密收藏的財富賜給你,

好叫你知道點名呼召你的是我——以色列的上帝耶和華。

4雖然你不認識我,

但為了我的僕人雅各

我所揀選的以色列

我還是點名呼召你,

賜給你一個尊貴的名號。

5我是獨一無二的耶和華,

除我以外再沒有上帝。

雖然你不認識我,

但我還是賜你力量。

6這樣,從日出之地到日落之處,

普天下都知道除我以外,

別無他神,

我耶和華獨一無二。

7我造光明,也造黑暗;

賜平安,也降災禍。

這一切都是我耶和華的作為。

8『我使諸天降下甘露,

雲彩降下公義,

使大地裂開,

萌生拯救和公義,

這是我耶和華的作為。』

9「跟造物主爭辯的人有禍了!

他不過是世上瓦器中的一件。

陶泥怎能對陶匠說,『你在做什麽』?

受造之物怎能說,『造我的沒手藝』?

10對父親說『你生的是什麼』

或對母親說『你產的是什麼』的人有禍了!」

11耶和華——以色列的聖者和創造主說:

「你們就我子民將來的事質問我嗎?

你們發號施令要告訴我如何做嗎?

12是我造了大地,又造了地上的人;

我親手鋪展穹蒼,

佈置天上的萬象。

13我憑公義使塞魯士王興起,

我要讓他的道路暢通無阻。

他必重建我的城,

釋放我被擄的子民,

不是為了得報酬或獎賞。

這是萬軍之耶和華說的。」

14耶和華說:

埃及的出產和古實的貨物必歸你所有。

身材高大的西巴人必來歸附你,

戴著鎖鏈跟在你身後。

他們要向你下拜,

在你面前懇求,

並說,『上帝真的與你們同在,

祂獨一無二,除祂以外,

別無他神。』」

15救主——以色列的上帝啊,

你真是一位隱藏自己的上帝。

16製造偶像的都必蒙羞受辱,

一同慚愧。

17以色列必蒙耶和華拯救,

享受永遠的救恩,

永遠不會再蒙羞受辱。

18創造諸天、塑造和建立大地給人居住、沒有使地荒涼的耶和華上帝說:

「我是耶和華,是獨一無二的上帝。

19我沒有在隱秘處暗暗地說話,

我沒有對雅各的後裔說,

『你們找不到我。』

我耶和華宣揚真理,

傳講正義。

20「列國的流亡者啊,

你們要聚集到這裡來。

那些抬著木頭神像、

向不能救人的神明禱告的人真愚昧!

21你們要彼此商議,

陳明你們的理由。

誰早已預言過今天發生的事?

誰很久以前就說過這些預言?

難道不是我耶和華嗎?

除我以外別無他神。

我是公義的上帝,我是救主,

除我以外別無他神。

22普世的人啊,歸向我吧,

你們必蒙拯救,

因為我是獨一無二的上帝。

23我憑自己起誓,

我口中的話真實可靠,絕不更改,

『萬膝必向我跪拜,

萬口必起誓效忠於我。』

24他們必說,

『只有耶和華那裡才有公義和能力。』」

向祂發怒的必在祂面前蒙羞。

25以色列的後裔必被耶和華稱為義人,得到榮耀。

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 45:1-25

145:1 a Zab 73:23; Is 41:13; 42:6 b Yer 50:35“Bw’ati Mukama bw’agamba Kuulo gwe yafukako amafuta,

oyo gwe mpadde amaanyi mu mukono gwe ogwa ddyo

okujeemulula amawanga mu maaso ge

era n’okwambula bakabaka ebyokulwanyisa byabwe,

okuggulawo enzigi ezimuli mu maaso,

emiryango eminene gireme kuggalwawo.

245:2 a Is 40:4 b Zab 107:16; Yer 51:30Ndikukulembera

ne ntereeza ebifo ebigulumivu.

Ndimenyaamenya emiryango egy’ebikomo

ne ntemaatema ebisiba eby’ekyuma.

345:3 a Yer 50:37 b Yer 41:8 c Is 41:23 d Kuv 33:12; Is 43:1Era ndikuwa obugagga obwakwekebwa mu bifo ebyekusifu

era n’ebintu ebyakwekebwa mu bifo ebyekyama

olyoke omanye nga nze Mukama,

Katonda wa Isirayiri akuyitira ddala erinnya lyo.

445:4 a Is 41:8-9 b Bik 17:23Ku lwa Yakobo omuweereza wange ne ku lwa Isirayiri omulonde wange

kyenvudde nkuyita erinnya,

ne nkuwa ekitiibwa

wadde nga tonzisaako mwoyo.

545:5 a Is 44:8 b Zab 18:31 c Zab 18:39Nze Mukama, tewali mulala.

Tewali katonda mulala wabula nze.

Ndikuwa amaanyi

wadde nga tonzisaako mwoyo,

645:6 a Is 43:5; Mal 1:11 b nny 5, 18balyoke bamanye nga okuva enjuba gy’eva okutuuka gyegenda

tewali mulala wabula nze.

Nze Mukama,

tewali mulala.

745:7 Is 31:2; Am 3:6Nze nteekawo ekitangaala

ne ntonda ekizikiza.

Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.

Nze Mukama akola ebyo byonna.

845:8 a Zab 72:6; Yo 3:18 b Zab 85:11; Is 60:21; 61:10, 11; Kos 10:12 c Is 12:3“Mmwe eggulu eriri waggulu,

mutonnyese obutuukirivu.

Ebire bitonnyese obutuukirivu.

Ensi egguke n’obulokozi bumeruke,

ereete obutuukirivu.

Nze Mukama nze nagitonda.

945:9 a Yob 15:25 b Is 29:16; Bar 9:20-21*“Zimusanze oyo ayomba n’omutonzi we!

Zimusanze oyo oluggyo mu nzigyo z’ensi.

Bbumba ki eribuuza oyo alibumba nti,

‘Obumba ki?’

Oba omulimu gwo okukubuuza nti,

‘Aliko emikono?’

10Zimusanze oyo agamba kitaawe nti,

‘Wazaala ki?’

Oba nnyina nti,

‘Kiki ky’ozadde?’

1145:11 Is 19:25“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omutukuvu wa Isirayiri

era Omutonzi we nti,

‘Lwaki mumbuuza ebigenda okujja,

oba ebikwata ku baana bange,

oba okumpa ebiragiro ku bikwata ku mirimu gy’emikono gyange?’

1245:12 a Lub 2:1; Is 42:5 b Nek 9:6Nze nakola ensi ne ngitonderamu abantu. Emikono gyange gyennyini gye gyayanjuluza eggulu, era ne ndagira eby’omu bwengula byonna bitondebwewo.

1345:13 a 2By 36:22; Is 41:2 b Is 52:3Ndiyimusa Kuulo mu butuukirivu

era nditereeza amakubo ge gonna.

Alizimba ekibuga kyange

n’asumulula abantu bange abaawaŋŋangusibwa;

naye si lwa mpeera oba ekirabo,”

bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

1445:14 a Is 14:1-2 b Yer 16:19; Zek 8:20-23 c 1Ko 14:25Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Ebiva mu Misiri n’ebyamaguzi bya Kuusi birireetebwa,

n’abo Abasabeya abawanvu

balijja

babeere abaddu bo,

bajje nga bakugoberera

nga basibiddwa mu njegere.

Balikuvuunamira bakwegayirire nga bagamba nti,

‘Ddala Katonda ali naawe, ye Katonda yekka, tewali Katonda mulala.’ ”

1545:15 Zab 44:24Ddala oli Katonda eyeekweka,

ggwe Katonda wa Isirayiri era Omulokozi we.

1645:16 Is 44:9, 11Bonna abakola bakatonda abakole n’emikono baliswazibwa,

balikwatibwa ensonyi, bonna balikwata ekkubo limu nga baswadde.

1745:17 a Bar 11:26 b Is 26:4Naye Isirayiri alirokolebwa Mukama

n’obulokozi obutaliggwaawo.

Temuukwatibwenga nsonyi,

temuuswalenga emirembe gyonna.

1845:18 a Lub 1:2 b Lub 1:26; Is 42:5 c nny 5Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama eyatonda eggulu,

ye Katonda eyabumba ensi n’agikola.

Ye yassaawo emisingi gyayo.

Teyagitonda kubeera nkalu

naye yagikola etuulwemu.

Ye yagamba nti, “Nze Mukama so tewali mulala.

1945:19 a Is 48:16 b Is 41:8 c Ma 30:11Soogereranga mu kyama,

oba mu nsi eyeekizikiza.

Sigambanga bazzukulu ba Yakobo nti,

‘Munoonyeze bwereere.’

Nze Mukama njogera mazima,

mbuulira ebigambo eby’ensonga.

2045:20 a Is 43:9 b Is 44:19 c Is 46:1; Yer 10:5 d Is 44:17; 46:6-7“Mwekuŋŋaanye mujje,

mukuŋŋaane, mmwe abasigaddewo mu mawanga.

Tebalina magezi abo abasitula ebifaananyi ebibajje,

abasaba eri katonda atasobola kubalokola.

2145:21 a Is 41:22 b nny 5Mukuŋŋaane muleete ensonga zammwe.

Muteese muyambagane.

Ani eyayogera nti kino kiribaawo?

Ani eyakyogerako edda?

Si nze Mukama?

Tewali Katonda mulala wabula nze,

Katonda omutuukirivu era Omulokozi,

tewali mulala wabula nze.

2245:22 a Zek 12:10 b Kbl 21:8-9; 2By 20:12 c Is 49:6, 12“Mudde gye ndi, mulokoke,

mmwe mwenna abali ku nkomerero z’ensi,

kubanga nze Katonda so tewali mulala.

2345:23 a Lub 22:16 b Beb 6:13 c Is 55:11 d Zab 63:11; Is 19:18; Bar 14:11*; Baf 2:10-11Neerayiridde,

ekigambo kivudde mu kamwa kange mu mazima

so tekiriggibwawo mu maaso gange.

Buli vviivi lirifukamira,

na buli lulimi lulirayira!

2445:24 a Yer 33:16 b Is 41:11Balinjogerako nti, ‘Mu Mukama mwokka mwe muli obutuukirivu n’amaanyi.’ ”

Bonna abaamusunguwalira

balijja gy’ali nga baswadde.

2545:25 Is 41:16Naye mu Mukama ezzadde lyonna erya Isirayiri mwe liriweerwa obutuukirivu

era mwe liryenyumiririza.