以賽亞書 27 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以賽亞書 27:1-13

以色列必蒙拯救

1到那日,耶和華必用祂無堅不摧的利劍懲罰巨龍——那飛快、曲行的蛇。祂必殺死那海中的怪物。

2到那日,耶和華說:

「你們要歌頌那佳美的葡萄園。

3我耶和華是看守它的,

我勤加澆灌,

晝夜守護,

不讓人毀壞。

4我不再向它發怒。

若是發現荊棘和蒺藜,

我就對付它們,

把它們燒光。

5除非它們尋求我的庇護,

與我和好,

與我和好。」

6有一天,雅各必扎根生長,

以色列必發芽開花,

果實遍地。

7耶和華不像擊打以色列的敵人那樣擊打以色列人。

祂不像擊殺以色列的敵人那樣擊殺以色列人。

8祂與以色列人為敵,

使他們被擄,

驅逐他們離開本地,

用從東方颳來的暴風吹散他們。

9藉此,雅各家的罪惡必得到赦免,

他們罪惡被除掉後所結的果實是:

打碎假神祭壇的石頭,

推倒亞舍拉神像和香壇。

10堅城荒涼,被人遺棄,

如同曠野。

牛犢在那裡吃草、躺臥,

吃光樹枝上的葉子。

11樹枝枯乾斷落,

婦女拿去作柴燒。

因為以色列人愚昧無知,

所以他們的創造主不憐憫他們,

也不向他們施恩。

12到那日,耶和華必把以色列人從幼發拉底河到埃及小河一個一個地召集起來,像人打樹拾果子一樣。 13到那日,號角吹響後,亞述地將要滅亡的以色列人和流散到埃及以色列人,都必來到耶路撒冷的聖山敬拜耶和華。

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 27:1-13

Okununulibwa kwa Isirayiri

127:1 a Is 34:6; 66:16 b Yob 3:8 c Zab 74:13Mu biro ebyo,

Mukama Katonda alibonereza n’ekitala kye,

ekitala kye eky’amaanyi, ekikambwe era ekinene,

alibonereza Lukwata omusota ogwekulungula,

Lukwata omusota ogwezinga,

atte n’ogusota gw’ennyanja.

227:2 Yer 2:21Mu biro ebyo

“Yimba oluyimba ku bibala eby’ennimiro ey’emizabbibu ebaze ebibala.

327:3 Is 58:11Nze Mukama Katonda, ennimiro nze ngirabirira

era nze ngifukirira buli kiseera.

Ngikuuma emisana n’ekiro

Waleme kubaawo n’omu agikola akabi.

427:4 Is 10:17; Mat 3:12; Beb 6:8Siri munyiivu.

Singa katazamiti n’amaggwa binnumba,

nandibitabadde mu lutalo?

Byonna nandibyokezza omuliro.

527:5 a Is 25:4 b Yob 22:21; Bar 5:1; 2Ko 5:20Oba si weewaawo ajje gye ndi afune obuddukiro, tutabagane,

weewaawo tutabagane.”

627:6 a Kos 14:5-6 b Is 37:31Mu biro ebijja Yakobo alisimba emirandira,

Isirayiri aliroka n’amulisa

n’ajjuza ensi yonna ebibala.

727:7 Is 37:36-38Mukama amukubye omuggo

ng’akuba abo abaamukuba?

Attiddwa

nga be yatta, bwe battibwa?

827:8 Is 50:1; 54:7Olwanagana naye n’omusobola,

n’omuwaŋŋangusa, omugoba n’okuwuuma okw’amaanyi,

ng’embuyaga ey’ebuvanjuba bw’efuuwa ku lunaku lwayo.

927:9 a Bar 11:27* b Kuv 34:13Ekyo kye kiriggyawo omusango gwa Yakobo,

era ekyo kye kiriba ekibala ekijjuvu ekiriggyawo ekibi kye.

Bw’aliddira amayinja gonna ag’ekyoto okuba amayinja ag’ennoni

agayasiddwayasiddwa,

tewaliba Baasera newaakubadde ebyoto eby’okwoterezaako obubaane

ebirisigala biyimiridde.

1027:10 a Is 32:14; Yer 26:6 b Is 17:2Ddala ddala ekibuga ekyaliko enkomera kaakano matongo,

ekirekeddwa awo ng’eddungu.

Eyo ennyana gy’eriira era gy’egalamira,

n’erya amalagala gonna ku matabi gaago.

1127:11 a Ma 32:28; Is 1:3; Yer 8:7 b Ma 32:18; Is 43:1, 7, 15; 44:1-2, 21, 24 c Is 9:17Amatabi gaakyo bwe gakala,

gamenyebwako, abakazi ne bagakuŋŋaanya ne bagakumisa omuliro.

Bano bantu abatategeera,

eyamukola tamusaasira,

n’eyamutonda tamukwatirwa kisa.

1227:12 a Lub 15:18 b Ma 30:4; Is 11:12; 17:6Mu biro ebyo Mukama alikusengejja okuva mu mazzi agakulukuta ag’Omugga Fulaati okutuuka ku mugga gw’e Misiri we guyiwa, era mmwe abaana ba Isirayiri mulikuŋŋaanyizibwa kinnoomu. 1327:13 a Lv 25:9; Mat 24:31 b Is 19:21, 25Era mu biro ebyo ekkondeere eddene lirivuga, n’abo abaali boolekedde okuzikiririra mu nsi y’e Bwasuli, n’abo abaali baawaŋŋangusizibbwa mu Misiri balikomawo ne basinza Mukama ku lusozi olutukuvu e Yerusaalemi.