以西結書 33 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以西結書 33:1-33

耶和華立以西結為守望者

1耶和華對我說: 2「人子啊,你要告訴你的同胞,『我若使戰爭降臨某地,那地方的百姓就應選一人做守望者。 3守望者發現敵人來攻打,便吹號警告百姓。 4凡聽見號聲而不接受警告的,敵人來把他殺了,這流血的罪就要由他自己承擔。 5因為他聽見號聲,卻不接受警告,他的死是咎由自取。他若接受警告,就不至於死了。 6但如果守望者看見敵人來攻打而不吹號警告百姓,以致有人被敵人殺了,那人固然是因自己的罪惡而被殺,我卻要向這守望者追討那人被殺的血債。』

7「人子啊,現在我立你為以色列人的守望者,你要聽我的信息,代我警告他們。 8如果我說惡人必定要死,你卻不警告他離開罪惡的行徑,他必因自己的罪而死,我卻要向你追討他喪命的血債。 9如果你警告惡人離開罪惡的行徑,他卻不聽,他必因自己的罪惡而死,他的死與你無關。

10「人子啊,你要對以色列人說,『你們說,我們背負過犯和罪惡,正因此而滅亡。我們怎能存活下去呢? 11你要告訴他們,主耶和華說,「我憑我的永恆起誓,我絕不喜歡惡人死亡,我更願意惡人改邪歸正,得以存活。以色列人啊,回頭吧!回頭吧!改邪歸正吧!何必自取滅亡呢?」』 12人子啊,你要對你的同胞說,『當義人犯罪時,他以往的義救不了他;當惡人悔改時,他以往的惡不會使他滅沒。義人若犯罪,他以往的義不能使他存活。』 13我雖對義人說他必能存活,但如果他仗著自己的義而犯罪,他的義將不會被記念,他必因犯罪而死亡。 14我雖對惡人說他必定要死,但他若改邪歸正,行事公正仁義, 15償還抵押,歸還贓物,遵行生命之律例,不再犯罪,就必存活,不致死亡。 16他犯的罪不會被追究,因為他行事公正仁義,所以必得存活。

17「你的同胞卻說,主這樣做不公平。其實是他們自己行事不公。 18義人離義行惡,必因惡行而死亡。 19惡人棄惡行義,必因義行而存活。 20可是你們卻說,主這樣做不公平。以色列人啊,我必按你們各人的行為審判你們。」

21在我們被擄後第十二年十月五日,有人從耶路撒冷逃出來對我說:「城已經淪陷了。」 22逃難的人來的前一晚,耶和華的靈降在我身上,開了我的口。當那人早上來到我這裡時,我就開了口,不再沉默。

23耶和華對我說: 24「人子啊,那些住在以色列廢墟中的人說,『亞伯拉罕一人尚且能擁有這片土地,我們這麼多人更能擁有這片土地為業。』 25但你要告訴他們,主耶和華這樣說,『你們吃帶血的肉,仰賴偶像,又殺人流血,怎能擁有這片土地呢? 26你們靠刀劍行可憎之事,個個玷污別人的妻子,你們怎能擁有這片土地呢?』 27你要告訴他們,主耶和華這樣說,『我憑我的永恆起誓,那些住在廢墟中的必死於刀下,逃到田野的必被野獸吞吃,躲進堡壘和洞穴的必死於瘟疫。 28我要使這片土地荒涼不堪,使她所誇耀的勢力消逝。以色列的山必荒涼,杳無人跡。 29因為他們所行的一切可憎之事,我必使這地方荒涼不堪,那時他們就知道我是耶和華。』

30「人子啊,你的同胞在牆邊和門口彼此議論你說,『來,聽聽耶和華要他傳什麼信息。』 31他們隨著人群來到你面前,坐著聆聽你的話,儼然像我的子民。但他們不付諸實行,嘴裡說的是甜言蜜語,心中卻追求不義之財。 32他們只聽不做,你在他們眼中只不過是善唱情歌、長於彈奏樂器的人。 33看吧,我所說的必定應驗。當一切應驗的時候,他們就知道有先知在他們當中。」

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 33:1-33

Ezeekyeri Omukuumi wa Isirayiri

1Ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira nate n’aŋŋamba nti, 233:2 a Yer 12:12 b Ez 3:11“Omwana w’omuntu yogera eri abantu obategeeze nti, ‘Bwe ndirumba ensi n’ekitala, abantu ab’omu nsi ne baddira omu ku bo ne bamufuula omukuumi waabwe, 333:3 Kos 8:1n’alaba ekitala nga kijja eri ensi, n’afuuwa ekkondeere ng’alabula abantu, 433:4 a 2By 25:16 b Yer 6:17; Ez 18:13; Zek 1:4; Bik 18:6awo omuntu yenna bw’aliwulira ekkondeere n’atalabuka ekitala bwe kirijja ne kigyawo obulamu bwe, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe ye. 5Kubanga yawulira ekkondeere n’atalabuka, omusaayi gwe kyeguliva gubeera ku mutwe gwe ye. Singa yakola nga bwe yalabulwa yandiwonyezza obulamu bwe. 633:6 Ez 3:18Naye omukuumi bw’alaba ekitala nga kijja n’atafuuwa kkondeere okulabula abantu, ekitala ne kijja ne kigyawo obulamu bw’omu ku bo, omuntu oyo aliggyibwawo olw’obutali butuukirivu bwe, naye omusaayi gwe ndiguvunaana omukuumi.’

733:7 Yer 26:2; Ez 3:17“Omwana w’omuntu, nkufudde omukuumi ow’ennyumba ya Isirayiri, Noolwekyo wulira kye nkugamba, obalabule. 833:8 a nny 14 b Ez 18:4Bwe ŋŋambanga omukozi w’ebibi nti, ‘Ggwe omwonoonyi, mazima olifa,’ n’otoyogera okumulabula okuleka ekkubo lye, omwonoonyi oyo alifa olw’ebibi bye, naye omusaayi gwe ndiguvunaana gwe. 933:9 Ez 3:17-19Naye bw’olabulanga omwonoonyi okuleka ekkubo lye, n’ajeema, alifiira mu bibi bye, naye ggwe oliba olokodde obulamu bwo.

1033:10 a Ez 24:23 b Lv 26:39; Ez 4:17“Omwana w’omuntu, tegeeza ennyumba ya Isirayiri nti, Mwogera nti, ‘Okusobya kwaffe n’okwonoona kwaffe kutuzitoowerera, era tuyongobera mu kwo, tuyinza tutya okuwona?’ 1133:11 a Ez 18:32; 2Pe 3:9 b Ez 18:23Bategeeze nti, ‘Nga bwe ndi omulamu, bw’ayogera Mukama Katonda, sisanyukira kufa kw’abakozi ba bibi, wabula bo okukyuka ne bava mu kkubo lyabwe ebbi ne baba balamu. Mukyuke, mukyuke okuva mu makubo gammwe amabi. Lwaki mufa, mmwe ennyumba ya Isirayiri?’

1233:12 2By 7:14; Ez 3:20“Kale nno, omwana w’omuntu kyonoova otegeeza abantu bo nti, ‘Obutuukirivu obw’omutuukirivu tebulimuwonyesa bw’alijeema, era n’obutali butuukirivu bw’atalina butuukirivu tebulimuzikiriza bw’alikyuka n’abuleka. Omuntu omutuukirivu, bw’aliyonoona, taliba mulamu olw’obutuukirivu bwe obw’emabega.’ 1333:13 Ez 18:24; Beb 10:38; 2Pe 2:20-21Bwe ndigamba omutuukirivu nga mazima ddala aliba mulamu, naye ne yeesiga obutuukirivu bwe n’ayonoona, tewaliba ne kimu ku bikolwa eby’obutuukirivu bye yakola ebirijjukirwa, naye mu butali butuukirivu bwe bw’akoze omwo mw’alifiira. 1433:14 Ez 18:27Ate bwe ndigamba omwonoonyi nti, ‘Mazima ddala olifa,’ naye n’akyuka okuleka ebibi bye, n’akola ebyalagirwa era ebituufu, 1533:15 a Kuv 22:1-4; Lv 6:2-5 b Ez 20:11; Luk 19:8era bw’alisasula ebbanja lye, n’azaayo ne bye yabba, n’atambulira mu mateeka agaleeta obulamu, n’atayonoona, mazima ddala aliba mulamu, talifa. 1633:16 Is 43:25; Ez 18:22Tewaliba ne kimu ku bibi bye yakola ebirijjukirwa eri ye; aliba akoze ebyalagirwa era ebituufu, era aliba mulamu.

17“Naye ate abantu ab’ensi yo boogera nti, Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya, so nga ate ekkubo lyabwe lye litali lya bwenkanya. 1833:18 Ez 3:20; 18:26Omuntu omutuukirivu bw’alikyuka okuva mu butuukirivu bwe n’akola ebibi, alifa olw’ebibi bye. 19Ate omukozi w’ebibi bw’alikyuka okuleka obutali butuukirivu bwe n’akola ebyalagirwa era ebituufu, aliba mulamu olw’ebyo by’akoze. 20Naye mmwe ennyumba ya Isirayiri ne mwogera nti, ‘Ekkubo lya Mukama si lya bwenkanya.’ Naye ndibasalira omusango buli muntu amakubo ge nga bwe gali.”

Okugwa kwa Yerusaalemi Kunnyonnyolwa

2133:21 a Ez 24:26 b 2Bk 25:4, 10; Yer 39:1-2; Ez 32:1Mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri nga tuli mu buwaŋŋanguse, mu mwezi ogw’ekkumi ku lunaku olwokutaano, omusajja kaawonawo n’ava e Yerusaalemi n’ajja okuntegeeza nti, “Ekibuga kiwambiddwa.” 2233:22 a Ez 1:3 b Luk 1:64 c Ez 3:26-27; 24:27Naye akawungeezi nga kaawonawo tannatuuka, omukono gwa Mukama gwali gunziseeko, ng’asumuludde akamwa kange, omusajja n’alyoka atuuka enkeera. Nnali ntandise okwogera nga sikyali kasiru.

23Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2433:24 a Ez 36:4 b Is 51:2; Yer 40:7; Ez 11:15; Bik 7:5“Omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu matongo ago mu nsi ya Isirayiri, boogera nti, ‘Obanga Ibulayimu yali muntu omu n’agabana ensi, naffe abangi, tuligabana.’ 2533:25 a Lub 9:4; Ma 12:16 b Yer 7:9-10; Ez 22:6, 27Noolwekyo bategeeze nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti, Bwe muba nga mulya ennyama erimu omusaayi, ne musinza bakatonda bammwe abalala, ne muyiwa omusaayi, musaanidde okugabana ensi? 2633:26 Ez 22:11Mwesiga ekitala, ne mukola eby’ekivve, buli musajja n’ayenda ku muka muliraanwa we. Kale munaayinza mutya okugabana ensi?’

2733:27 1Sa 13:6; Is 2:19; Yer 42:22; Ez 39:4“Bagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: Nga bwe ndi omulamu, abaasigalawo mu bifulukwa balittibwa n’ekitala, n’abo abaliba ku ttale balitaagulwataagulwa ensolo enkambwe, n’abo abaliba beekwese mu biro ebinywevu ne mu mpuku balifa kawumpuli. 28Era ensi ndigifuula amatongo era etaliimu mugaso, era n’amaanyi ge yeewaana nago galikoma, era n’ensozi za Isirayiri ziryabulirwa, ne wataba n’omu azitambulirako. 29Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda, bwe ndifuula ensi okuba amatongo era etaliimu mugaso olw’ebikolwa eby’ekivve bye bakoze.’ 

30“Naawe ggwe omwana w’omuntu, abatuuze ab’omu ggwanga lyo abatuula ku Bbugwe ne mu nzigi ez’amayumba bagambagana nti, ‘Mujje tuwulire ekigambo ekiva eri Mukama Katonda,’ 3133:31 a Ez 8:1 b Zab 78:36-37; Is 29:13; Ez 22:27; Mat 13:22; 1Yk 3:18abantu bange nga bwe batera okukola, ne bawulira byoyogera naye ne batabikola, ne boolesa okwagala kwabwe n’emimwa gyabwe, naye ng’emitima gyabwe gigoberera amagoba gaabwe, 3233:32 Mak 6:20laba gye bali oli ng’omuntu ayimba oluyimba olw’okwagala mu ddoboozi eddungi, era amanyi okukuba obulungi ennanga, kubanga bawulira ebigambo byo naye ne batabissamu nkola.

3333:33 1Sa 3:20; Yer 28:9; Ez 2:5“Bino byonna bwe birituukirira, era bijja kutuukirira, kale balimanya nga nnabbi abadde mu bo.”