以弗所書 2 – CCBT & LCB

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

以弗所書 2:1-22

靠恩典、憑信心

1你們從前死在過犯和罪惡之中。 2那時,你們隨從今世的風俗,順服在空中掌權的魔鬼,就是如今在一切叛逆上帝之人心中運行的邪靈。 3我們以前也在他們當中隨從罪惡的本性2·3 罪惡的本性」希臘文是「肉體」。,放縱肉體和心中的私慾,與其他人一樣本是惹上帝發怒的人。

4然而上帝有豐富的憐憫,祂深愛我們, 5儘管我們死在過犯之中,祂仍然使我們和基督一同活了過來。你們得救是因為上帝的恩典。 6在基督耶穌裡,上帝使我們與基督一同復活,一同坐在天上, 7好藉著祂在基督耶穌裡向我們所施的恩慈,向後世顯明祂無可比擬的豐富恩典。 8你們得救是靠恩典,憑信心。這不是出於你們自己,而是上帝的禮物; 9也不是由於你們的行為,以免有人自誇。 10我們是上帝的傑作,是在基督耶穌裡創造的,為要叫我們做祂預先安排給我們的美善之事。

在基督裡合而為一

11因此,你們要記住,從前按照肉體來說你們是外族人,那些肉體上受過人手所行割禮的以色列人稱你們為「沒有受過割禮的」。 12那時,你們與基督無關,又不是以色列人,在上帝應許的諸約上是局外人,你們活在世上沒有盼望,沒有上帝。 13但你們這些從前遠離上帝的人,如今在基督耶穌裡,靠著祂所流的血已經被帶到上帝面前。 14因為基督耶穌親自給我們帶來了和平,以自己的身體拆毀了以色列人和外族人之間充滿敵意的隔牆,使雙方合而為一, 15並廢除了以誡命和規條為內容的律法制度。祂這樣做是為了在自己裡面把雙方造成一個新人,成就和平, 16並藉著十字架消滅彼此間的敵意,使雙方藉著一個身體與上帝和好。 17祂來傳揚這平安的福音給你們這些離上帝很遠的外族人,也給我們這些離上帝很近的以色列人。 18我們雙方都是靠著祂在同一位聖靈的引導下來到父上帝面前。

19從此,你們不再是外人或過客,你們與眾聖徒一樣是天國的子民,是上帝家裡的人了。 20你們已被建立在眾使徒和先知們的基礎上,基督耶穌自己是房角石。 21整座建築的各部分都靠祂巧妙地連接在一起,逐漸成為主的聖殿。 22你們也靠著祂被建造在一起,成為上帝藉著聖靈居住的地方。

Luganda Contemporary Bible

Abaefeso 2:1-22

Okuggyibwa mu kufa n’okufuulibwa abalamu

12:1 nny 5; Bak 2:13Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe. 22:2 a Bak 3:7 b Yk 12:31; Bef 6:12 c Bef 5:6Ebyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. 32:3 Bag 5:16Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna. 4Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi, 52:5 a nny 1 b nny 8; Bik 15:11ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa. 62:6 a Bef 1:20 b Bef 1:3Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo eby’omu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu. 72:7 Tit 3:4Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu. 82:8 nny 5Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda. 92:9 a 2Ti 1:9 b 1Ko 1:29Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga. 102:10 a Bef 4:24 b Tit 2:14Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.

11Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu, 122:12 a Bag 3:17 b 1Bs 4:13nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina. 132:13 a nny 17; Bik 2:39 b Bak 1:20Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.

14Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga. 152:15 a Bak 1:21, 22 b Bak 2:14 c Bag 3:28Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe, 16alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo. 17Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, n’abo abaali okumpi naye. 182:18 a Bef 3:12 b Bak 1:12 c 1Ko 12:13Ku bw’oyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.

192:19 a nny 12 b Baf 3:20 c Bag 6:10Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda. 202:20 1Pe 2:4-8Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda. 212:21 1Ko 3:16, 17Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe. 22Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.