雅各书 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

雅各书 3:1-18

邪恶的舌头

1我的弟兄姊妹,不要个个当教师,因为你们知道,我们为人师表的将受到更严格的评判, 2因为我们在许多方面难免有过失。如果谁在言语上没有过失,他就是纯全的人,也能在各方面保持自制。 3我们如果把嚼环放在马嘴里,便可以使它顺服,驾驭它。 4一艘大船在遭遇暴风吹袭时,船身虽然庞大,但舵手只要操纵一个小小的舵,就能随意驾驶它。

5同样,人的舌头虽然很小,却能说夸大的话。

看啊,小火星能点燃大森林。 6舌头就是火,是我们身体上的一个充满邪恶的世界,能玷污人的全身,足以毁掉人的一生,它是从地狱点燃的火。 7自然界中的各类走兽、飞禽、爬虫、水族都可以被驯服,也已经被人类驯服了, 8但无人能驯服自己的舌头,因为舌头是个无法控制的邪恶之物,充满了致命的毒气。 9我们用舌头来赞美主和天父,也用舌头来咒诅照着上帝的形象被造的人。 10赞美和咒诅竟然从同一张嘴里发出来。我的弟兄姊妹,这是不应该的! 11同一个泉源能涌出甜苦两样水吗? 12我的弟兄姊妹,无花果树能结出橄榄吗?葡萄树能结出无花果吗?一个咸水泉必流不出甜水来。

天上的智慧

13你们当中谁是有智慧、有见识的呢?请他带着来自智慧的谦和,在善行上表现出来。 14但如果你们心怀苦毒的嫉妒和自私的野心,就不要自夸说有智慧,也不要违背真理去撒谎。 15这种智慧并非来自天上,而是从世俗、私欲和魔鬼来的。 16哪里有嫉妒和自私的野心,哪里就会有混乱和各样的恶事。

17但从天上来的智慧首先是纯洁,然后是爱好和平、温良柔顺、充满怜悯、多结善果、不存偏见、没有虚伪。 18使人和睦的人撒下和平的种子,必收获仁义的果实。

Luganda Contemporary Bible

Yakobo 3:1-18

Okufuga olulimi

1Abooluganda, abayigiriza tebasaanye kubeera bangi mu mmwe, kubanga mukimanyi nga ffe tulisalirwa omusango munene okusinga abalala. 23:2 a 1Bk 8:46; Yak 2:10 b 1Pe 3:10 c Mat 12:37 d Yak 1:26Ffenna tusobya mu ngeri nnyingi. Omuntu yenna atasobya mu kwogera, aba muntu eyatuukirira, asobola okufuga omubiri gwe gwonna.

33:3 Zab 32:9Tuyinza okufuga embalaasi ne tugikozesa kye twagala olw’ebyuma bye tuba tutadde mu kamwa kaayo. 4Era n’enkasi entono esobola okukyusa ekyombo ekinene ennyo n’ekiraza omugoba waakyo gy’ayagala, newaakubadde ng’empewo ekisindika ebeera ya maanyi mangi. 53:5 Zab 12:3, 4N’olulimi bwe lutyo, newaakubadde nga kantu katono, lwenyumiriza nnyo. Akaliro akatono kasobola okukoleeza ekibira ekinene ne kiggya. 63:6 a Nge 16:27 b Mat 15:11, 18, 19Olulimi nalwo muliro. Lujjudde obutali butuukirivu bungi okusinga ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe. Lwo omuliro luguggya mu ggeyeena, ne lulyoka lukoleeza omubiri gw’omuntu gwonna ne gwaka ng’oluyiira okumutuusa mu kuzikirira.

7Abantu, ebisolo ebya buli ngeri n’ennyonyi, n’ebyekulula, era n’eby’omu nnyanja basobola okubiyigiriza ne babifuga, 83:8 Zab 140:3; Bar 3:13naye tewali muntu n’omu asobola kufuga lulimi. Terufugika era lubi nnyo, lujjudde obutwa obuttirawo.

93:9 Lub 1:26, 27; 1Ko 11:7Olulimi tulukozesa okutendereza Mukama era Kitaffe, ate era lwe tukolimiza abantu abaatondebwa mu kifaananyi kya Katonda. 10Mu kamwa ke kamu ne muvaamu okutendereza n’okukolima. Abooluganda, kino si bwe kyandibadde bwe kityo! 11Ensulo y’emu eyinza okuvaamu amazzi agawoomerera n’agakaawa? 123:12 Mat 7:16Abooluganda omutiini guyinza okubala ezeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini? Bw’etyo n’ensulo y’emu teyinza kuvaamu mazzi ga munnyo na gawoomerera.

Amagezi agava mu ggulu

133:13 Yak 2:18Ani alina amagezi n’okutegeera mu mmwe? Kale abiragirenga mu mpisa ze ennungi ng’akola ebikolwa eby’obwetoowaze eby’amagezi. 143:14 a nny 16 b Yak 5:19Bwe muba n’omutima omukyayi ogujjudde n’obuggya, era nga mwefaako mwekka, temusaanidde kwewaana na kulimba nga mukontana n’amazima. 153:15 a Yak 1:17 b 1Ti 4:1Kubanga amagezi ng’ago tegava eri Katonda mu ggulu wabula ga ku nsi, era si ga mwoyo wazira ga Setaani. 16Kubanga buli awabeera obuggya n’okwefaako wekka, wabeerawo okutabukatabuka era n’ebikolwa ebirala ebibi byonna.

173:17 a 1Ko 2:6 b Luk 6:36 c Bar 12:9Naye amagezi agava mu ggulu okusooka byonna malongoofu, era ga mirembe, gafaayo ku bantu abalala, mawulize, gajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi, tegasosola mu bantu, era si gannanfuusi. 183:18 Nge 11:18; Is 32:17Era ekibala eky’obutuukirivu kiva mu abo abakolerera emirembe.