路加福音 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

路加福音 1:1-80

1-2提阿非罗大人,已经有很多人根据最初的目击者和传道者给我们的口述,把我们中间发生的事记载下来。 3我把一切事情从头至尾仔细查考之后,决定按次序写出来, 4使你知道自己所学的道都是有真凭实据的。

天使预告施洗者约翰出生

5犹太希律执政期间,亚比雅的班里有位祭司名叫撒迦利亚,他妻子伊丽莎白亚伦的后裔。 6夫妻二人遵行主的一切诫命和条例,无可指责,在上帝眼中是义人。 7但他们没有孩子,因为伊丽莎白不能生育,二人又年纪老迈。

8有一天,轮到撒迦利亚他们那一班祭司当值, 9他们按照祭司的规矩抽签,抽中撒迦利亚到主的殿里去烧香。 10众百姓都在外面祷告。 11那时,主的天使在香坛的右边向撒迦利亚显现, 12撒迦利亚见了,惊慌害怕起来。

13天使对他说:“撒迦利亚,不要害怕,你的祷告已蒙垂听。你的妻子伊丽莎白要为你生一个儿子,你要给他取名叫约翰14你必欢喜快乐,许多人也会因为他的诞生而欣喜雀跃, 15因为他将成为主伟大的仆人。他必滴酒不沾,并且在母腹里就被圣灵充满。 16他将劝导许多以色列人回心转意,归顺主——他们的上帝。 17他将以先知以利亚的心志和能力做主的先锋,使父亲的心转向儿女,使叛逆的人回转、顺从义人的智慧,为主预备合用的子民。”

18撒迦利亚对天使说:“我已经老了,我的妻子也上了年纪,我如何知道这是真的呢?” 19天使回答说:“我是侍立在上帝面前的加百列,奉命来向你报这喜讯。 20我说的这些话到时候必定应验。但因为你不肯相信我的话,所以这事成就以前,你将变成哑巴,不能说话。”

21人们在等候撒迦利亚,见他在圣殿里迟迟不出来,都感到奇怪。 22后来他出来了,却成了哑巴,不能说话,只能打手势,大家意识到他在圣殿里看见了异象。 23撒迦利亚供职期满,就回家去了。 24不久,伊丽莎白果然怀了孕,她有五个月闭门不出。 25她说:“主真是眷顾我,除掉了我不生育的羞耻。”

天使预告耶稣降生

26伊丽莎白怀孕六个月的时候,天使加百列又奉上帝的命令到加利利拿撒勒27去见一位童贞女,她叫玛丽亚玛丽亚已经和大卫的后裔约瑟订了婚。

28天使到了玛丽亚那里,说:“恭喜你,蒙大恩的女子,主与你同在!”

29玛丽亚听了觉得十分困惑,反复思想这话的意思。

30天使对她说:“玛丽亚,不要害怕,你在上帝面前已经蒙恩了。 31你要怀孕生子,并给祂取名叫耶稣。 32祂伟大无比,将被称为至高者的儿子,主上帝要把祂祖先大卫的王位赐给祂。 33祂要永远统治以色列1:33 以色列”希腊文是“雅各的家”。,祂的国度永无穷尽。”

34玛丽亚对天使说:“这怎么可能呢?我还是童贞女。”

35天使回答说:“圣灵要临到你身上,至高者的能力要荫庇你,所以你要生的那圣婴必称为上帝的儿子。 36看啊,你的亲戚伊丽莎白年纪老迈,一向不能生育,现在已经怀男胎六个月了。 37因为上帝无所不能。”

38玛丽亚说:“我是主的婢女,愿你所说的话在我身上成就。”于是天使离开了她。

玛丽亚看望伊丽莎白

39不久,玛丽亚便动身赶到犹太山区的一座城, 40进了撒迦利亚的家,向伊丽莎白请安。 41伊丽莎白一听见玛丽亚的问安,腹中的胎儿便跳动起来,伊丽莎白被圣灵充满, 42高声喊着说:“在妇女中你是最蒙福的!你腹中的孩子也是蒙福的! 43我主的母亲来探望我,我怎么敢当呢? 44我一听到你问安的声音,腹中的孩子就欢喜跳动。 45相信主所说的话必实现的女子有福了!”

46玛丽亚说:

“我的心尊主为大,

47我的灵因我的救主上帝而欢喜,

48因祂眷顾我这卑微的婢女,

从今以后,

世世代代都要称我是有福的。

49全能者在我身上行了奇事,

祂的名是神圣的。

50祂怜悯敬畏祂的人,

直到世世代代。

51祂伸出臂膀,施展大能,

驱散心骄气傲的人。

52祂使当权者失势,

叫谦卑的人升高。

53祂使饥饿的得饱足,

叫富足的空手而去。

54祂扶助了自己的仆人以色列

55祂要施怜悯给亚伯拉罕和他的子孙,

直到永远,

正如祂对我们祖先的应许。”

56玛丽亚伊丽莎白同住了约三个月,便回家去了。

施洗者约翰出生

57伊丽莎白的产期到了,生下一个儿子。 58亲戚和邻居听见主向她大施怜悯,都和她一同欢乐。 59到了第八天,他们来给孩子行割礼,想照他父亲的名字给他取名叫撒迦利亚

60伊丽莎白说:“不!要叫他约翰。”

61他们说:“你们家族中没有人用这个名字啊!” 62他们便向他父亲打手势,问他要给孩子起什么名字。 63撒迦利亚就要了一块写字板,写上:“他的名字叫约翰。”大家看了都很惊奇。 64就在那时,撒迦利亚恢复了说话的能力,便开口赞美上帝。 65住在周围的人都很惧怕,这消息很快就传遍了整个犹太山区。 66听见的人都在想:“这孩子将来会怎样呢?因为主与他同在。”

撒迦利亚的预言

67孩子的父亲撒迦利亚被圣灵充满,便预言说:

68“主——以色列的上帝当受称颂,

因祂眷顾、救赎了自己的子民,

69在祂仆人大卫的家族中为我们兴起了一位大能的拯救者1:69 拯救者”希腊文是“拯救的角”。

70正如祂从亘古借着祂圣先知们的口所说的。

71祂要从仇敌和一切恨我们之人手中拯救我们。

72祂怜悯我们的祖先,

持守自己的圣约,

73就是祂对我们的先祖亚伯拉罕所起的誓,

74要把我们从仇敌手中拯救出来,

75使我们一生一世在圣洁和公义中坦然无惧地事奉祂。

76至于你,我的儿子啊!

你将要被称为至高者的先知,

因为你要走在主的前面,

为祂预备道路,

77使百姓因罪得赦免而明白救恩的真谛。

78由于上帝的怜悯,

清晨的曙光必从高天普照我们,

79照亮那些生活在黑暗中和死亡阴影下的人,

带领我们走平安的道路。”

80那孩子渐渐长大,心灵强健,在向以色列人公开露面之前,一直住在旷野。

Luganda Contemporary Bible

Lukka 1:1-80

1Abantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe, 21:2 a Mak 1:1; Yk 15:27; Bik 1:21, 22 b Beb 2:3; 1Pe 5:1; 2Pe 1:16; 1Yk 1:1 c Mak 4:14ng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye. 31:3 a Bik 11:4 b Bik 24:3; 26:25 c Bik 1:1Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana. 41:4 Yk 20:31Olyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa.

Okulanga Okuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza

51:5 a Mat 2:1 b 1By 24:10Awo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi. 61:6 Lub 7:1; 1Bk 9:4Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. 7Bombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba.

81:8 1By 24:19; 2By 8:14Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe, 91:9 Kuv 30:7, 8; 1By 23:13; 2By 29:11n’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga. 101:10 Lv 16:17Mu ssaawa eyo ey’okwoteza obubaane ekibiina kyonna eky’abantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu.

111:11 a Bik 5:19 b Kuv 30:1-10Awo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane! 121:12 Bal 6:22, 23; 13:22Zaakaliya n’atya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa n’emukwata. 131:13 a nny 30; Mat 14:27 b Mat 14:60, 63Naye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana. 141:14 nny 58Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olw’okuzaalibwa kwe. 151:15 a Kbl 6:3; Bal 13:4; Luk 7:33 b Yer 1:5; Bag 1:15Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina. 16Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe. 171:17 a nny 76 b Mat 11:14 c Mal 4:5, 6Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, n’akyusa emitima gy’aba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, n’okukyusa emitima gy’abajeemu okudda eri amagezi g’abatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”

181:18 nny 34; Lub 17:17Zaakaliya n’agamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.”

191:19 nny 26; Dan 8:16; 9:21; Mat 18:10Malayika n’amugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era y’antumye okwogera naawe n’okukuleetera amawulire gano. 201:20 Ez 3:26Naye olw’okuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ng’ebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”

21Abantu abaali balindirira ebweru wa Yeekaalu okulaba Zaakaliya ne beewuunya nnyo ekyamulwisaayo ennyo bw’atyo. 221:22 nny 62Oluvannyuma ennyo bwe yavaayo, yali tasobola kwogera nabo, ne bategeera nga mu Yeekaalu afuniddeyo okwolesebwa. N’asigala ng’azibye omumwa naye ng’abategeeza mu bubonero.

23N’abeera mu Yeekaalu okutuusa ennaku ze ez’oluwalo lwe zaggwaako n’alyoka addayo eka. 24Ennaku ezo bwe zaayitawo, mukazi we Erisabesi n’aba olubuto, ne yeekwekera ebbanga lya myezi etaano. 251:25 Lub 30:23; Is 4:1N’agamba nti, “Mukama nga wa kisa kingi, kubanga anziggyeeko ensonyi olw’obutaba na mwana.”

Okuzaalibwa kwa Yesu Kulangibwa

261:26 a nny 19 b Mat 2:23Awo mu mwezi ogw’omukaaga, Katonda n’atuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya 271:27 Mat 1:16, 18, 20; Luk 2:4eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi. 28Awo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!”

29Maliyamu n’atya, n’abulwa n’ekyokwogera, ng’okulamusa okwo kumutabudde, nga n’amakulu gaakwo tagategeera. 301:30 nny 13; Mat 14:27Awo malayika n’amugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda. 311:31 Is 7:14Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. 321:32 nny 35, 76; Mak 5:7Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. 331:33 a Mat 28:18 b Dan 2:44; 7:14, 27Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.”

34Awo Maliyamu n’abuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.”

351:35 a Mat 1:18 b nny 32, 76 c Mak 1:24 d Mat 4:3Malayika n’amuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda. 36Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe. 371:37 Mat 19:26Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”

38Maliyamu n’addamu nti, “Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bw’ogambye.” Malayika n’ava w’ali, n’agenda.

Maliyamu Akyalira Erisabesi

391:39 nny 65Awo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo. 40N’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi. 41Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu. 421:42 Bal 5:24Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa. 43Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira! 44Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu! 45Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”

Oluyimba lwa Maliyamu

461:46 Zab 34:2, 3Maliyamu n’agamba nti,

471:47 1Ti 1:1; 2:3“Emmeeme yange etendereza Mukama.

N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,

481:48 a Zab 138:6 b Luk 11:27Kubanga alabye

obuwombeefu bw’omuweereza we.

Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.

491:49 a Zab 71:19 b Zab 111:9Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;

N’erinnya lye ttukuvu.

501:50 Kuv 20:6; Zab 103:17N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe

eri abo abamutya.

511:51 Zab 98:1; Is 40:10Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.

Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.

52Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka

n’agulumiza abawombeefu.

531:53 Zab 107:9Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.

Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.

541:54 Zab 98:3Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,

n’ajjukira okusaasira,

551:55 Lub 17:19; Zab 132:11; Bag 3:16nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,

eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

56Maliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe.

Okuzaalibwa kwa Yokaana

57Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. 58Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.

591:59 Lub 17:12; Lv 12:3; Luk 2:21; Baf 3:5Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 601:60 nny 13, 63Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”

61Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”

621:62 nny 22Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 631:63 nny 13, 60N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! 641:64 nny 20Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. 651:65 nny 39Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. 661:66 Lub 39:2; Bik 11:21Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.

Oluyimba lwa Zaakaliya

671:67 Yo 2:28Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,

681:68 a Zab 72:18 b Zab 111:9; Luk 7:16“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,

kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.

691:69 a 1Sa 2:1, 10; Zab 18:2; 89:17; 132:17; Ez 29:21 b Mat 1:1Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,

mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.

701:70 Yer 23:5Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,

71Okulokolebwa mu balabe baffe,

n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,

721:72 a Mi 7:20 b Zab 105:8, 9; 106:45; Ez 16:60okulaga bajjajjaffe ekisa,

n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,

731:73 Lub 22:16-18ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,

741:74 Beb 9:14okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,

tulyoke tuweereze mu maaso ge,

751:75 Bef 4:24mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.

761:76 a Mat 11:9 b nny 32, 35 c nny 17; Mal 3:1“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;

kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.

771:77 Yer 31:34; Mak 1:4Okumanyisa abantu be obulokozi,

obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.

781:78 Mal 4:2Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.

Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,

791:79 Is 9:2; 59:9; Mat 4:16; Bik 26:18okwakira abo abatudde mu kizikiza

ne mu kisiikirize eky’okufa,

okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”

801:80 Luk 2:40, 52Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.