Zabbuli 23
Zabbuli ya Dawudi.
123:1 a Is 40:11; Yk 10:11; 1Pe 2:25 b Baf 4:19Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
223:2 Ez 34:14; Kub 7:17Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
323:3 a Zab 19:7 b Zab 5:8; 85:13Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
423:4 a Yob 10:21-22 b Zab 3:6; 27:1 c Is 43:2Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
523:5 a Zab 92:10 b Zab 16:5Onsosootolera emmere
abalabe bange nga balaba;
onsiize amafuta ku mutwe,23:5 Okusiiga omuntu amafuta ku mutwe, kaali kabonero akalaga nti omugenyi ayanirizibbwa ku mukolo.
ekikompe kyange kiyiwa.
6Ddala ddala obulungi n’okwagala okutaggwaawo binaagendanga nange
ennaku zonna ez’obulamu bwange;
nange nnaabeeranga mu nnyumba ya Mukama,
ennaku zonna.