诗篇 137 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

诗篇 137:1-9

第 137 篇

被掳者的哀歌

1我们坐在巴比伦河畔,

想起锡安禁不住凄然泪下。

2我们把琴挂在柳树上。

3俘虏我们的人要我们唱歌,

掳掠我们的人要我们歌唱,说:

“给我们唱一首锡安的歌。”

4我们流落异邦,

怎能唱颂赞耶和华的歌呢?

5耶路撒冷啊,倘若我忘了你,

情愿我的右手无法再拨弄琴弦;

6倘若我忘了你,

不以你为我的至爱,

情愿我的舌头不能再歌唱。

7耶和华啊,

求你记住耶路撒冷沦陷时以东人的行径。

他们喊道:

“拆毁这城,把它夷为平地!”

8巴比伦城啊,

你快要灭亡了,

那向你以牙还牙为我们复仇的人有福了!

9那抓住你的婴孩摔在石头上的人有福了!

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 137:1-9

Zabbuli 137

1137:1 a Ez 1:1, 3 b Nek 1:4Twatuula ku mabbali g’emigga gy’e Babulooni,

ne tukaaba amaziga bwe twajjukira Sayuuni.

2Ne tuwanika ennanga zaffe

ku miti egyali awo.

3137:3 Zab 80:6Abaatunyaga ne batulagira okuyimba,

abaatubonyaabonya ne batulagira okusanyuka;

nga bagamba nti, “Mutuyimbireyo lumu ku nnyimba za Sayuuni.”

4Tunaayimba tutya oluyimba lwa Mukama

mu nsi eteri yaffe?

5Bwe nnaakwerabiranga, ggwe Yerusaalemi,

omukono gwange ogwa ddyo gukale!

6137:6 Ez 3:26Olulimi lwange lwesibire waggulu w’ekibuno kyange

singa nkwerabira,

ggwe Yerusaalemi, ne sikulowoozaako

okusinga ebintu ebirala byonna.

7137:7 a Yer 49:7; Kgb 4:21-22; Ez 25:12 b Ob 11Jjukira, Ayi Mukama, batabani ba Edomu kye baakola,137:7 Nebukadduneeza bwe yazikiriza Yerusaalemi, bazzukulu ba Edomu baasanyuka okulaba ng’abalabe baabwe Abayisirayiri bazikiridde. Kino kyali kibi nnyo kubanga Abayisirayiri ne bazzukulu ba Edomu baaluganda. Bazzukulu ba Edomu bava mu Esawu

ku lunaku Yerusaalemi lwe kyawambibwa;

ne baleekaana nti, “Kisuule,

kimalirewo ddala n’emisingi gyakyo.”

8137:8 Is 13:1, 19; Yer 25:12, 26; 50:15; Kub 18:6Ggwe omuwala wa Babulooni, agenda okuzikirizibwa,

yeesiimye oyo alikusasula ebyo

nga naawe bye watukola.

9137:9 2Bk 8:12; Is 13:16Yeesiimye oyo aliddira abaana bo

n’ababetentera137:9 Okukakasa nga tewaba n’omu ku b’omu kibuga ekiwambiddwa asigalawo, abaakiwambanga baabetentanga emitwe gy’abaana abato ab’omu kibuga ekyo ku lwazi ku lwazi.