耶利米书 39 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

耶利米书 39:1-18

耶路撒冷沦陷

1犹大西底迦执政第九年十月,巴比伦尼布甲尼撒率领全军包围耶路撒冷2西底迦执政第十一年四月九日,耶路撒冷沦陷。 3尼甲·沙利薛三甲·尼波撒西金和另一个尼甲·沙利薛巴比伦王的所有将领都进城坐在中门。 4犹大西底迦和所有军兵见势不妙,便在夜间穿过御花园,从两城墙中间的门逃往亚拉巴5迦勒底的军队追上来,在耶利哥的平原擒住西底迦,把他带到哈马利比拉去见巴比伦尼布甲尼撒,接受审判。 6巴比伦王在利比拉当着西底迦的面杀了他的众子和犹大所有的贵族, 7并且挖去他的双眼,把他用铜链锁着带到巴比伦8迦勒底人放火焚烧王宫和民居,拆毁耶路撒冷的城墙。 9护卫长尼布撒拉旦把城中的余民以及投降的人都掳到巴比伦10却让那些一贫如洗的穷人留在犹大,将葡萄园和田地分给他们。

耶利米获释

11至于耶利米巴比伦尼布甲尼撒吩咐护卫长尼布撒拉旦12“你好好照顾耶利米,切不可伤害他。他有什么要求,你都要满足。” 13于是,护卫长尼布撒拉旦尼布沙斯班尼甲·沙利薛巴比伦王的所有将领, 14便派人把耶利米从护卫兵的院子提出来,让沙番的孙子、亚希甘的儿子基大利带他回家。从此,耶利米就生活在百姓当中。

15耶利米被监禁在护卫兵院子里的时候,耶和华对他说: 16“你去告诉古实以伯·米勒以色列的上帝——万军之耶和华说,‘看啊,我必照我说的使这城遭受灾祸,得不到祝福。你必亲眼看见这一切发生。’ 17耶和华说,‘但那时,我必拯救你,使你不致落在你所惧怕的人手中。 18我必拯救你,使你保全性命,不致丧身刀下,因为你信靠我。这是耶和华说的。’”

Luganda Contemporary Bible

Yeremiya 39:1-18

139:1 2Bk 25:1; Yer 52:4; Ez 24:2Mu mwaka ogwomwenda ogw’obufuzi kwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw’ekkumi, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, n’alumba Yerusaalemi, n’eggye lye lyonna, n’akizingiza. 2Ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi ogwokuna ogw’omwaka ogw’ekkumi n’ogumu ogw’obufuzi kwa Zeddekiya, ekisenge ky’ekibuga kyabotolwa. 339:3 Yer 21:4Awo Nerugalusalezeeri, ne Samugaluneebo, ne Salusekimu, ne Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu abalala bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bajja ne batuula mu mulyango ogwa wakati ogwa Yerusaalemi. 4Awo Zeddekiya kabaka wa Yuda n’abaserikale be bonna bwe babalaba ne bava mu kibuga kiro ne badduka; ne bayita mu nnimiro ya kabaka, nga bayita mu mulyango wakati w’ebisenge ebibiri, ne boolekera Alaba.

539:5 a Yer 32:4 b 2Bk 23:33Naye eggye ly’Abakaludaaya ne libagoba ne lisanga Zeddekiya mu nsenyi ez’e Yeriko, ne bamuwamba, ne bamuleeta eri kabaka Nebukadduneeza ow’e Babulooni e Libuna mu nsi y’e Kamasi; n’amusalira eyo omusango. 6Kabaka w’e Babulooni n’attira batabani ba Zeddekiya mu maaso ga kitaabwe e Libuna, era kabaka w’e Babulooni n’atta abakungu ba Yuda bonna. 739:7 a Ez 12:13 b Yer 32:5Nebukadduneeza n’aggyamu Zeddekiya amaaso, n’amusiba mu masamba n’amutwala e Babulooni.

839:8 a Yer 38:18 b Nek 1:3Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n’ennyumba z’abantu, ne bamenya n’ebisenge bya Yerusaalemi. 939:9 Yer 40:1Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye n’atwala abantu abaali basigaddewo mu kibuga, n’abo abaali bamwegasseeko, n’abo abaali basigaddewo mu bifo ebirala, e Babulooni. 10Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, n’aleka abamu ku bantu abaavu abaali batalina kantu, mu nsi ya Yuda; n’abawa ebibanja n’ennimiro z’emizabbibu.

11Awo Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni yali awadde Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni, ebiragiro bino ebikwata ku Yeremiya ng’amugamba nti, 1239:12 Nge 16:7; 1Pe 3:13“Mmutwale omulabirire: tomubonyaabonya wabula mukolere byonna by’ayagala.” 13Awo Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye, ne Nebusazibaani omukungu ow’oku ntikko ne Nerugalusalezeeri, ne Labumagi, n’abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni, 1439:14 a Yer 38:28 b 2Bk 22:12 c Yer 40:5ne batumya ne baggya Yeremiya mu luggya lw’abaserikale. Ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, amuzzeeyo ewaabwe. Olwo n’asigala n’abantu be.

15Yeremiya bwe yali asibiddwa mu luggya lw’abaserikale abakuumi, ekigambo kya Mukama ne kimujjira nga kigamba nti, 1639:16 a Yer 38:7 b Yer 21:10; Dan 9:12“Genda ogambe Ebedumeleki Omuwesiyopya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okutuukiriza ebigambo byange eri ekibuga kino nga nkozesa ebibonoobono, si kukulaakulana. Mu biseera ebyo birituukirizibwa nga mulaba n’amaaso gammwe. 1739:17 Zab 41:1-2Naye ndikuwonya ku lunaku olwo,’ bw’ayogera Mukama; ‘toliweebwayo eri abo b’otya. 1839:18 a Yer 45:5 b Yer 21:9; 38:2 c Yer 17:7Ndikuwonya; tolittibwa, olisigala ng’oli mulamu, kubanga onneesiga, bw’ayogera Mukama.’ ”