箴言 8 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

箴言 8:1-36

智慧的呼唤

1智慧不是在呼唤吗?

悟性不是在呐喊吗?

2她在路边高处站立,

她在十字街头停留,

3在城门旁,在入口处大喊:

4“世人啊,我呼唤你们,

我向全人类大声呼吁。

5愚昧人啊,要学会谨慎!

愚顽人啊,要慎思明辨!

6你们听啊,我要说美好的话,

开口谈论正直的事。

7我的口传扬真理,

我的嘴憎恨邪恶。

8我口中的言语公正,

没有一句错谬的话。

9我的话,智者明白,哲士认同。

10要接受我的教诲,而非白银;

要选择知识,而非黄金。

11因为智慧比宝石更珍贵,

一切美物都不能与之相比。

12“我智慧与谨慎同住,

我拥有知识和明辨力。

13敬畏耶和华就当憎恨邪恶,

我憎恨骄傲、狂妄、恶道和谎言。

14我有谋略和真知,

又有悟性和能力。

15君王靠我安邦定国,

首领借我秉公行义,

16王公大臣靠我治理天下,

官宦贵胄凭我公正断案。

17爱我的,我也爱他;

恳切寻求我的,必能寻见。

18富贵和尊荣在我,

恒久的产业和公义也在我。

19我的果实胜过纯金,

我的出产胜过纯银。

20我在公义的道上奔走,

在公平的路上前行。

21我要赐财富给爱我的人,

使他们的库房充盈。

22“在耶和华造物的起头,

在太初万物被造以前,

就已经有我。

23从亘古,从太初,

大地还没有形成以前,

我已经被立。

24没有深渊,

没有涌流的水泉以前,

我已经诞生。

25大山未曾奠定,

小丘未曾形成,

我已经出生。

26那时耶和华还没有造大地和原野,

还没有造一粒尘土。

27祂铺设诸天的时候,我已在场。

祂在深渊上画出地平线,

28上使穹苍坚固,

下使深渊的泉源安稳,

29设定沧海的界限,

使海水不得越过祂定的范围,

为大地奠定根基的时候,

30我就在祂身旁,

做祂的工程师,

天天成为祂的喜乐,

终日在祂面前欢悦,

31因祂所造的人世而欢悦,

因祂所造的世人而喜乐。

32“孩子们啊,你们要听从我,

持守我道路的人有福了。

33要听从教诲,不可轻忽,

要做智者。

34人若听从我、天天在我门口仰望、

时时在我门边等候,就有福了。

35因为找到我的,便找到了生命,

他必蒙耶和华的恩惠。

36没找到我就是害自己;

憎恨我就是喜爱死亡。”

Luganda Contemporary Bible

Engero 8:1-36

Amagezi Gakoowoola

18:1 Nge 1:20; 9:3Amagezi tegakoowoolera waggulu,

n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?

2Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo,

mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,

38:3 Yob 29:7ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga,

ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,

4Mmwe abantu, mmwe b’empita;

nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.

58:5 a Nge 1:22 b Nge 1:4Mmwe abatategeera mufune okutegeera;

nammwe abasirusiru mufune amagezi.

6Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba,

era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.

78:7 Zab 37:30; Yk 8:14Akamwa kange koogera bituufu byereere;

kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.

8Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya

tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.

9Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera,

era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.

108:10 Nge 3:14-15Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange,

era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,

118:11 a Yob 28:17-19 b Nge 3:13-15kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi,

era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.

128:12 Nge 1:4Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,

era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.

138:13 a Nge 16:6 b Yer 44:4Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;

nkyawa amalala n’okwemanya,

n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.

148:14 Nge 21:22; Mub 7:19Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;

ntegeera era ndi wa buyinza.

158:15 Dan 2:21; Bar 13:1Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga,

abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.

16Abalangira bafuga ku bwange,

n’abakungu bonna abafuga ku nsi.

178:17 a 1Sa 2:30; Zab 91:14; Yk 14:21-24 b Nge 1:28; Yak 1:5Njagala abo abanjagala,

n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.

188:18 a Nge 3:16 b Ma 8:18; Mat 6:33Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze,

obugagga obutakoma n’okukulaakulana.

198:19 Nge 3:13-14; 10:20Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose,

n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.

20Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu,

mu kkubo ery’obwenkanya,

218:21 Nge 24:4n’abo abanjagala mbagaggawaza

era nzijuza amawanika gaabwe.

22Mukama nze gwe yasooka okwoleka

nga tannabaako kirala ky’akola.

23Nateekebwawo dda nnyo,

ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.

248:24 Lub 7:11Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo,

nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,

258:25 Yob 15:7ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo,

nga n’obusozi tebunnabaawo;

268:26 Zab 90:2nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo,

wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.

278:27 Nge 3:19Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo,

ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,

28ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga,

n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,

298:29 a Lub 1:9; Yob 38:10; Zab 16:6 b Zab 104:9 c Yob 38:5bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma,

amazzi galeme kusukka we yagalagira,

ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.

308:30 Yk 1:1-3Nnali naye ng’omukozi omukugu,

nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku,

nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,

318:31 Zab 16:3; 104:1-30nga nsanyukira mu nsi ye yonna,

era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.

328:32 a Luk 11:28 b Zab 119:1-2Kale nno, batabani bange mumpulirize;

balina omukisa abo abakwata amakubo gange!

33Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi,

so temugalekanga.

348:34 Nge 3:13, 18Alina omukisa omuntu ampuliriza,

alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange

buli lunaku.

358:35 a Nge 3:13-18 b Nge 12:2Kubanga buli andaba afuna obulamu,

era afuna okuganja eri Mukama.

368:36 Nge 15:32Oyo atannoonya yeerumya yekka,

era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.