歌罗西书 1 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

歌罗西书 1:1-29

1我是奉上帝旨意做基督耶稣使徒的保罗2提摩太弟兄写信给歌罗西的圣徒,就是忠于基督的弟兄姊妹。

愿我们的父上帝赐给你们恩典和平安!

感恩与祷告

3-4我们听说了你们对基督耶稣的信心和对众圣徒的爱心,为你们祷告的时候,常常感谢我们主耶稣基督的父上帝。 5你们能有这样的信心和爱心是因为那给你们存在天上的盼望,就是你们从前从福音真道中听到的盼望。 6这福音不但传到了你们那里,也传到了世界各地,并且开花结果,信主的人数不断增长,正如你们当初听了福音,因为明白真理而认识上帝的恩典后的情形。 7这福音是你们从我们亲爱的同工以巴弗那里得知的。他代表我们1:7 我们”有古卷作“你们”。做基督的忠仆, 8并把圣灵赐给你们的爱心告诉了我们。

9因此,从听到你们的消息那天起,我们便不断地为你们祷告,求上帝使你们在一切属灵的智慧和悟性上完全明白祂的旨意, 10以便你们行事为人对得起主,凡事蒙祂喜悦,在一切良善的事上结出果实,对上帝的认识不断增加。 11愿上帝以祂荣耀的权能使你们刚强,无论遇到什么事都能长久忍耐, 12欢喜地感谢天父,因祂使你们有资格跟众圣徒在光明中同享基业。 13祂把我们从黑暗的权势下拯救出来,带进祂爱子的国度里。 14我们借着祂的爱子蒙救赎,罪过得到赦免。

基督超越一切

15基督是那不能看见之上帝的真像,超越1:15 超越”或译“先存于”,希腊文是“长子”,常用来指地位上的优越或时间上的优先。一切受造之物。 16因为万物都是借着祂创造的,天上的、地上的、有形的、无形的、做王的、统治的、执政的、掌权的,一切都是借着祂也是为了祂而创造的。 17祂存在于万物之前,万物都靠祂而维系。 18祂是教会的头,教会是祂的身体;祂是源头,是首先从死里复活的,这样祂可以在一切事上居首位。 19因为上帝乐意让一切的丰盛住在祂里面, 20又借着祂在十字架上所流的血成就了和平,使天地万物借着祂与上帝和好。

21你们从前与上帝隔绝,行事邪恶,心思意念与祂为敌; 22但现在上帝借着基督肉身的死使你们与祂和好了,让你们在祂面前成为圣洁无瑕、无可指责的人。 23只是你们必须恒心持守所信的道,根基稳固,坚定不移,不要失去你们听到福音后所得到的盼望。这福音传给了天下万民。我保罗也做了这福音的使者。

保罗为教会受苦

24现在我因能够为你们受苦而欢喜,并且我是为基督的身体——教会的缘故,在自己身上补满基督未受的苦难。 25我受上帝的委派成为教会的仆人,要把上帝的道完整地传给你们。 26这道是历世历代一直隐藏的奥秘,现在已经向祂的众圣徒显明了。 27上帝要他们知道这奥秘在外族人中有何等丰富的荣耀,这奥秘就是基督在你们里面,使你们有荣耀的盼望。 28我们传扬基督,用各样的智慧劝诫、教导众人,使他们在基督里长大成熟,好把他们带到上帝面前。 29为此,我按着祂在我身上运行的大能尽心竭力,不辞劳苦。

Luganda Contemporary Bible

Abakkolosaayi 1:1-29

Okwebaza n’okusaba

11:1 a 1Ko 1:1 b 2Ko 1:1Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu olw’okwagala kwa Katonda, wamu ne Timoseewo owooluganda, 21:2 a Bak 4:18 b Bar 1:7tuwandiikira abantu ba Katonda, abatukuvu era abooluganda abeesigwa mu Kristo ab’e Kkolosaayi, nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe bibeerenga nammwe.

31:3 Bar 1:8Buli bwe tubasabira, twebaza Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo. 41:4 a Bag 5:6 b Bef 1:15Twawulira okukkiriza kwe mulina mu Kristo Yesu, n’okwagala kwe mulina eri abantu ba Katonda bonna, abatukuvu, 51:5 a 1Bs 5:8; Tit 1:2 b 1Pe 1:4olw’essuubi eryabategekerwa mu ggulu, lye mwawulirako mu kigambo eky’amazima, ye Enjiri. 61:6 a Yk 15:16 b Bar 10:18Enjiri yajja gye muli, era ebunye mu nsi yonna ng’ebala ebibala era nga yeeyongera okukula. Okuviira ddala lwe mwasooka okugiwulira, ne mutegeerera ddala amazima agali mu kisa kya Katonda, Enjiri ebadde yeeyongera okubuna mu mmwe. 71:7 a Fir 23 b Bak 4:7Epafula muddu munnaffe omwagalwa omuweereza wa Kristo omwesigwa gye muli, eyabatuusaako Enjiri eyo, 81:8 Bar 15:30ye yatubuulira okwagala kwe mulina mu Mwoyo.

91:9 a Bef 5:17 b Bef 1:17Noolwekyo, okuviira ddala ku lunaku lwe twawulira ebibafaako, tetulekangayo kubasabira na kubeegayiririra mujjuzibwe okumanya Katonda by’ayagala mu magezi gonna ne mu kutegeera okw’omwoyo. 101:10 Bef 4:1Era tweyongera okubasabira, mutambulenga nga musiimibwa Mukama era nga mumusanyusa mu buli byonna bye mukola, era nga mubala ebibala mu buli mulimu omulungi, era nga mukula mu kutegeera Katonda. 111:11 a Bef 3:16 b Bef 4:2Amaanyi ag’ekitiibwa kye, galibafuula abagumiikiriza mu buli nsonga yonna, mulyoke musanyuke, 121:12 a Bef 5:20 b Bik 20:32nga mwebaza Kitaffe eyatusaanyiza okugabana ku birungi bye yategekera abantu be abatukuvu ab’obwakabaka obw’ekitangaala. 131:13 Bik 26:18Katonda eyatuwonya n’atuggya mu maanyi g’ekizikiza aga Setaani, n’atutwala mu bwakabaka bw’Omwana we omwagalwa, 14atusonyiwa ebibi byaffe, n’atufuula ba ddembe.

Obulamu bwa Kristo

151:15 a 2Ko 4:4 b Yk 1:18Mu ye mwe tulabira Katonda oyo atalabika, era ye yasooka okubeerawo nga byonna tebinnabaawo. 161:16 a Yk 1:3 b Bef 1:20, 21 c Bar 11:36Mu ye ebintu byonna mwe byatondebwa mu ggulu ne ku nsi, ebirabika n’ebitalabika oba ntebe za bwakabaka oba bwami, oba bafuzi oba ab’obuyinza; ebintu byonna byatondebwa nga biyita mu ye era ku lulwe. 171:17 Yk 1:2Kristo yaliwo nga byonna tebinnabaawo, era mu ye ebintu byonna mwe binywezebwa. 181:18 a Bef 1:22 b Bik 26:23; Kub 1:5Ye gwe mutwe gw’omubiri, n’omubiri ogwo ye Kkanisa. Ye mubereberye, era ye yasooka okuzuukira mu bafu, alyoke abeerenga omubereberye mu byonna. 191:19 a Bef 1:5 b Yk 1:16Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, 201:20 a 2Ko 5:18 b Bef 1:10 c Bef 2:13era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

211:21 a Bar 5:10 b Bef 2:3Edda temwali kumpi ne Katonda, era ebirowoozo byammwe n’ebikolwa byammwe ebibi bye byabalabisa ng’abakyawa Katonda. 22Naye kaakano mutabaganye ne Kristo olw’okufa kwe, abanjuleyo mu maaso ga Katonda nga muli batukuvu era abataliiko bbala wadde ekyokunenyezebwa. 23Muteekwa okubeerera ddala mu kukkiriza nga munywedde era nga temusagaasagana okuva mu ssuubi ery’Enjiri gye mwawulira, eyabuulirwa abantu bonna abali ku nsi, nze Pawulo gye nafuukira omuweereza waayo.

Okufuba kwa Pawulo ku lw’Ekkanisa

241:24 2Ko 1:5Kaakano nsanyuka olw’okubonaabona kwe mbonaabona ku lwammwe. Era kindeetera essanyu, kubanga ntuukiriza okubonaabona kwa Kristo mu mubiri gwange, nga mbonaabona ku lw’omubiri gwe, ye Kkanisa. 251:25 a nny 23 b Bef 3:2Katonda yateekateeka okunfuula omuweereza w’Ekkanisa ye ku lwammwe, ndyoke mbabuulire ekigambo kya Katonda mu bujjuvu. 261:26 Bar 16:25Ekyama ekyakwekebwa okuva edda n’edda lyonna, n’emirembe n’emirembe, kaakano kibikkuliddwa abantu be, be batukuvu be. 271:27 Mat 13:11Katonda bw’atyo bwe yasiima, alyoke amanyise Abaamawanga obugagga obw’ekitiibwa ky’ekyama ekyo. Ekyama ekyo ye Kristo abeera mu mmwe, era ly’essuubi ery’ekitiibwa.

281:28 a Bak 3:16 b 1Ko 2:6, 7 c Bef 5:27Kristo oyo gwe tutegeeza nga tuyigiriza buli muntu mu magezi gonna era nga tulabula buli omu, tulyoke twanjule buli muntu eri Katonda ng’atuukiridde mu Kristo. 291:29 a 1Ko 15:10 b Bak 2:1 c Bef 1:19Kyenva ntegana nga nfuba nga nkozesa obuyinza Katonda bw’ampa obw’amaanyi.