撒母耳记下 7 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记下 7:1-29

上帝对大卫的应许

1大卫住在王宫里,耶和华使他安享太平,不受四围的仇敌侵扰。 2一天,王对拿单先知说:“你看!我住在香柏木造的王宫中,但上帝的约柜还留在帐篷里。” 3拿单答道:“你只管照着自己的想法去做吧,因为耶和华与你同在。” 4当晚耶和华对拿单说: 5“你去告诉我的仆人大卫,‘耶和华说,你岂是为我建造殿宇的人? 6从我把以色列人带出埃及那天起,直到今天,我从未住过殿宇,一路上都住在帐篷里。 7在我与以色列人同行的日子,我从未责问任何我委派牧养我子民的士师,你为何不为我建香柏木的殿宇呢?’

8“现在你要告诉我的仆人大卫,万军之耶和华说,‘你原本在草场牧羊,我召你来做我以色列子民的首领。 9无论你去哪里,我都与你同在,为你铲除所有仇敌。现在我要使你声名远播,与世上的伟人齐名。 10-11我必为我的以色列子民预备一个地方,栽培他们,让他们住在自己的家园,不再受惊扰,不会像从前我设立士师治理他们的时候那样受恶人压迫。我必使你安定,免受仇敌的侵扰。我耶和华向你宣告,我必建立你的王室。 12你寿终正寝、与祖先同眠之后,我必立你的后裔接替你的王位,使他江山稳固。 13他必为我的名建造圣殿,我必使他的王位坚立,直到永远。 14我要做他的父亲,他要做我的儿子。如果他犯了罪,我必用人的杖、世人的鞭子来惩治他, 15但我的慈爱却不会像离开从你面前被废的扫罗那样离开他。 16你的家和你的国必在我面前永远坚立,你的王位必永远稳固。’”

17拿单就把所听到的启示全部告诉大卫

大卫的祷告

18于是,大卫王走进会幕,在耶和华面前坐下,说:“主耶和华啊,我是谁?我的家算什么?你竟如此厚待我。 19主耶和华啊,你觉得这还不够,你还要施恩赐福给你仆人的后代。主耶和华啊,这样的福分岂是常人可以得到的? 20主耶和华啊,我还能对你说什么呢?你深知你的仆人。 21你让仆人知道你凭自己的应许、按自己的旨意行了这大事。 22主耶和华啊,你真伟大!我们从未听过有谁能与你相比,你是独一无二的上帝。 23世上哪个民族比得上你的以色列子民呢?你从埃及救出他们,让他们做你的子民,又彰显你的大名,行神迹奇事,把列国及其神明从你的以色列子民面前赶走。 24你让以色列人永远做你的子民,你耶和华做他们的上帝。

25“耶和华上帝啊,求你永远信守你对仆人和仆人家的应许。 26这样,你的名必永远被尊崇,人们必说,‘万军之耶和华是治理以色列的上帝。’愿你仆人大卫的家在你面前坚立。 27以色列的上帝——万军之耶和华啊,因为你曾启示仆人,说你要使我家世代为王,仆人才有勇气这样向你祷告。 28主耶和华啊,只有你是上帝,你的话真实可靠,你给了仆人美好的应许。 29现在求你赐福给仆人家,让仆人家在你面前永续不断。主耶和华啊,这些都是你的应许,愿你永远赐福给仆人家。”

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 7:1-29

Ekisuubizo kya Katonda eri Dawudi

17:1 1By 17:1Awo olwatuuka kabaka n’atereera mu lubiri lwe, Mukama n’amuwa okuwummula eri abalabe be bonna abaamwetooloola. 27:2 a 2Sa 5:11 b Kuv 26:1; Bik 7:45-46N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.” 3Nasani n’addamu kabaka nti, “Genda okole ng’omutima gwo bwe gukugamba, kubanga Mukama ali wamu naawe.”

4Ekiro ekyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Nasani nti,

57:5 a 1Bk 8:19; 1By 22:8 b 1Bk 5:3-5“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu? 67:6 a Kuv 40:18, 34 b 1Bk 8:16Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema. 77:7 a Ma 23:14 b 2Sa 5:2 c Lv 26:11-12Mu bifo byonna bye ntambudde n’Abayisirayiri bonna, nnina ekigambo n’ekimu kye nagamba abafuzi baabwe be nalagira okukulembera abantu bange, Isirayiri nti, “Kiki ekibalobedde okunzimbira ennyumba ey’emivule?” ’ 

87:8 a 1Sa 16:11 b 2Sa 6:21 c Zab 78:70-72“Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri. 97:9 a 2Sa 5:10 b Zab 18:37-42Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi. 107:10 a Kuv 15:17; Is 5:1-7 b Zab 89:22-23 c Is 60:18Ndifunira abantu bange Isirayiri ekifo ekyabwe ku bwabwe, balemenga okutawanyizibwanga. Abantu ababi tebalibacocca nate, nga bwe baakolanga olubereberye, 117:11 a Bal 2:16 b 1Sa 25:28okuva lwe nalonda abalamuzi okufuga abantu bange Isirayiri. Era ndikuwa ebiseera eby’emirembe abalabe bo baleme okukuyigganya.

“ ‘ “Mukama akugamba nti Mukama Katonda yennyini, alinyweza ennyumba yo. 127:12 a 1Bk 2:1 b Zab 132:11-12Ennaku zo bwe ziriggwaako, n’owummula ne bajjajjaabo, ndikuza ezzadde lyo eririva munda yo likusikire, era ndinyweza obwakabaka bwe. 137:13 a 1Bk 5:5; 8:19, 29 b Is 9:7Oyo yalizimbira Erinnya lyange ennyumba, era ndinyweza entebe ye ey’obwakabaka bwe ennaku zonna. 147:14 a Zab 89:26; Beb 1:5* b Zab 89:30-33Nnaabeeranga kitaawe, naye aliba mwana wange. Bw’anasobyanga nnaamukangavvulanga n’omuggo ogw’abantu n’enga ez’abantu. 157:15 1Sa 15:23, 28Naye okwagala kwange tekumuvengako, nga bwe kwava ku Sawulo, gwe naggya mu maaso go. 167:16 a Zab 89:36-37 b nny 13Ennyumba yo n’obwakabaka bwo birifuuka bya nkalakkalira ennaku zonna mu maaso gange, era entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa ennaku zonna.” ’ ”

17Nasani n’ategeeza Dawudi ebigambo byonna eby’okubikkulirwa kwe.

Okusaba kwa Dawudi

187:18 Kuv 3:11; 1Sa 18:18Awo kabaka Dawudi n’ayingira n’atuula mu maaso ga Mukama, n’ayogera nti,

“Nze ani, Ayi Mukama Katonda, n’ennyumba yange kye ki, ggwe okuntuusa wano? 197:19 Is 55:8-9Gy’obeera ekyo tekimala, Ayi Mukama Katonda, oyogedde ku bigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso ku nnyumba ey’omuddu wo. Bw’otyo bw’okolagana n’omuntu, Ayi Mukama Katonda?

207:20 a Yk 21:17 b 1Sa 16:7“Kiki ekirala Dawudi kyayinza okukugamba, kubanga ggwe, Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo. 21Olw’ekigambo kyo n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, n’obimanyisa omuddu wo.

227:22 a Zab 48:1; 86:10; Yer 10:6 b Ma 3:24 c Kuv 15:11 d Kuv 10:2; Zab 44:1“Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe. 237:23 a Ma 4:32-38 b Ma 10:21 c Ma 9:26; 15:15Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye yeenunulira, ne yeekolera erinnya, n’abakolera ebintu ebikulu eby’amagero bwe yagoba amawanga ne balubaale baabwe mu maaso g’abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri? 247:24 a Ma 26:18 b Kuv 6:6-7; Zab 48:14Onywezezza abantu bo, Isirayiri ng’ababo ddala emirembe gyonna era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.

25“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, otuukirize ekyo kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye okole nga bwe wasuubiza, 26erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, ‘Mukama ow’Eggye ye Katonda wa Isirayiri,’ era n’ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.

27“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ng’ogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gy’oli. 287:28 Kuv 34:6; Yk 17:17Ayi Mukama Katonda, oli Katonda, n’ebigambo byo bya mazima, era omuddu wo omusuubizza ebintu ebirungi. 297:29 Kbl 6:23-27Kale nno okkirize okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi Mukama Katonda oyogedde, era ennyumba ey’omuddu wo eneebanga n’omukisa ennaku zonna.”