撒母耳记下 24 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记下 24:1-25

大卫统计人口

1耶和华又向以色列人发怒,祂促使大卫来对付他们,让大卫统计以色列犹大的人口。 2大卫对统领军队的约押说:“你去走遍以色列各支派,从别示巴,统计以色列犹大的人口,让我知道国民的数目。” 3约押说:“我主我王,愿你的上帝耶和华使国民增加百倍,让你亲眼看到。但我主我王为什么要统计人口呢?” 4大卫不听约押和其他将领的规劝。他们只好去统计以色列的人数。 5他们过了约旦河,在谷中亚罗珥城南面安营,又经过迦得前往雅谢6然后,他们到基列他停·合示地区、但·雅安,绕到西顿7再去泰尔的堡垒及希未人和迦南人的城邑。最后,他们到了犹大南部的别示巴8他们花了九个月零二十天的时间,走遍全国,最后回到耶路撒冷9约押把统计的人数奏告大卫:“以色列有八十万英勇的刀兵,犹大有五十万。”

10大卫统计了人口以后,内心不安,就对耶和华说:“我做这事犯了大罪。耶和华啊,求你赦免仆人的罪,我做了极其愚昧的事。” 11第二天早上,耶和华对大卫的先见——迦得先知说: 12“你去告诉大卫,耶和华说,‘我有三样灾祸,你可以选择让我降哪一样给你。’” 13迦得就来见大卫,对他说:“你愿意国内有七年饥荒呢?还是被敌人追杀三个月呢?还是国内发生三天瘟疫呢?请你考虑好后告诉我,我好回复那差我来的。” 14大卫说:“我实在为难!不过我宁愿落在耶和华的手中,也不愿落在人的手中,因为耶和华有无限的怜悯。”

15于是,那天早晨,耶和华在以色列降下瘟疫,瘟疫持续了三天,从别示巴共有七万人死亡。 16当天使准备伸手毁灭耶路撒冷的时候,耶和华心生怜悯,就对灭命天使说:“够了,住手吧!”当时,耶和华的天使正站在耶布斯亚劳拿的麦场上。 17大卫看见灭命天使,就对耶和华说:“是我犯了罪,做了恶事,这些百姓有什么过错呢?愿你的手惩罚我和我的家族。”

18就在那天,迦得来见大卫,对他说:“你要去耶布斯亚劳拿的麦场,在那里为耶和华筑一座坛。” 19大卫就照耶和华借迦得所说的话去了亚劳拿的麦场。 20亚劳拿看见王及他的臣仆来了,就上前俯伏在地,向王跪拜, 21说:“我主我王到仆人这里有什么事?”大卫说:“我要买你的麦场,好在这里为耶和华筑一座坛,使百姓当中的瘟疫止住。” 22亚劳拿说:“我主我王喜欢什么,就拿去献祭吧。这里有牛可以作燔祭,还有麦场的工具和牛轭可以作柴。 23王啊,仆人亚劳拿愿意把这一切都献给你,愿你的上帝耶和华悦纳你。” 24王却说:“不可,我一定要出钱买,我不愿意用白白得来之物作为燔祭献给我的上帝耶和华。”大卫就用六百克银子买了亚劳拿的麦场和牛。 25大卫在麦场上为耶和华建了一座坛,献上燔祭和平安祭,耶和华垂听了他的祷告,瘟疫就在以色列止住了。

Luganda Contemporary Bible

2 Samwiri 24:1-25

Dawudi Abala Eggye

124:1 a Yos 9:15 b 1By 27:23Awo Mukama n’asunguwalira Isirayiri nate, n’aleetera Dawudi okubabala. Dawudi n’alagira nti, “Genda obale Isirayiri ne Yuda.”

224:2 a 2Sa 20:23 b Bal 20:1; 2Sa 3:10Kabaka n’alagira Yowaabu n’abaduumizi ab’eggye nti, “Mugende mu bika byonna ebya Isirayiri okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba mubale abantu, ntegeere omuwendo gwabwe.”

324:3 Ma 1:11Naye Yowaabu n’addamu kabaka nti, “Mukama Katonda wo ayongere ku bantu bo emirundi kikumi n’okusingawo, nga mukama wange kabaka akyali mulamu. Naye kiki ekikukoza ekintu bwe kityo mukama wange kabaka?”

4Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga amaanyi ebigambo bya Yowaabu n’abaduumizi b’eggye, era ne bava mu maaso ga kabaka ne batanula okubala abantu ba Isirayiri.

524:5 a Ma 2:36; Yos 13:9 b Kbl 21:32Oluvannyuma olw’okusomoka Yoludaani, ne basiisira okumpi ne Aloweri ku luuyi olw’obukiikaddyo olw’ekibuga mu kiwonvu, ne bayitira mu Gaadi okutuuka e Yazeri. 624:6 Lub 10:19; Yos 19:28; Bal 1:31Ne bagenda e Gireyaadi ne mu kitundu kya Tatimukodusi, ne batuuka e Ddaani-Yaani ne beebungulula ne baggukira e Sidoni. 724:7 a Yos 19:29 b Lub 21:22-33 c Ma 1:7; Yos 11:3Ne bagenda ku kigo eky’e Ttuulo ne mu bibuga byonna eby’Abakiivi24:7 Abakiivi n’Abakanani be baabeeranga mu nsi y’e Kanani, Abayisirayiri nga tebannagitwala. n’eby’Abakanani, ne bakomekkereza omulimu gwabwe e Beeruseba mu bukiikaddyo obwa Yuda.

8Awo oluvannyuma olw’okuyitaayita mu nsi yonna omulimu nga bagukoledde emyezi mwenda n’ennaku amakumi abiri, ne baddayo e Yerusaalemi. 924:9 Kbl 1:44-46; 1By 21:5Yowaabu n’awaayo omuwendo gw’abantu bonna eri kabaka. Mu Isirayiri mwaweramu abasajja abalwanyi emitwalo kinaana, ne mu Yuda ne muweramu abasajja abalwanyi emitwalo amakumi ataano. 1024:10 a 1Sa 24:5 b 2Sa 12:13 c Kbl 12:11; 1Sa 13:13Naye Dawudi n’akeŋŋeentererwa emmeeme olw’ekikolwa ekyo eky’okubala abantu. N’agamba Mukama nti, “Nnyonoonye nnyo olw’ekyo kye nkoze. Kaakano, Ayi Mukama Katonda nziggyako omusango guno omuddu wo gw’azizza, kubanga nkoze eky’obusirusiru.”

1124:11 a 1Sa 22:5 b 1Sa 9:9; 1By 29:29Awo mu kiro ekigambo kya Mukama Katonda ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi nti, 12“Genda otegeeze Dawudi nti, ‘Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti: ku bino ebisatu londawo ekimu kye nnaakukola.’ ”

1324:13 a Ma 28:38-42, 48; Ez 14:21 b Lv 26:25Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Ndireeta enjala mu nsi okumala emyaka musanvu? Oba, ndikuddusa mu maaso g’abalabe bo okumala emyezi esatu, nga bakugoba? Oba, walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? Kirowoozeeko, ontegeeze ky’onoosalawo, nzizeeyo obubaka eri oyo antumye.”

1424:14 Nek 9:28; Zab 51:1; 103:8, 13; 130:4Awo Dawudi n’agamba Gaadi nti, “Nsobeddwa nnyo; wakiri tugwe mu mukono gwa Mukama Katonda, kubanga okusaasira kwe kungi; okusinga okugwa mu mikono gy’abantu.”

1524:15 1By 27:24Awo Mukama Katonda n’aweereza kawumpuli ku Isirayiri okuva ku makya okwo okumala ekiseera Mukama kye yateekateeka, abantu emitwalo musanvu ne bafa okuva mu bitundu ebya Ddaani okutuuka e Beeruseba. 1624:16 a Lub 6:6; 1Sa 15:11 b Kuv 12:23; Bik 12:23Malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa olw’ekikolwa ekyo, n’agamba malayika eyabonereza abantu nti, “Kinaamala, toyoongera nate.” Olwo malayika wa Mukama Katonda yali atuuse ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.

1724:17 a Zab 74:1 b Yon 1:12Awo Dawudi bwe yalaba malayika wa Mukama Katonda eyabonereza abantu, n’ayogera nti, “Nze nnyonoonye era nze nkoze eby’ekyejo, naye endiga zino, tezirina kye zikoze. Nkwegayiridde, omukono gwo ka gubonereze nze n’ennyumba ya kitange.”

Dawudi Azimbira Mukama Ekyoto

18Ku lunaku olwo Gaadi n’agenda eri Dawudi n’amugamba nti, “Yambuka ozimbire Mukama Katonda ekyoto ku gguuliro24:18 Gguuliro Amagguuliro gaabeeranga waggulu ku busozi, empewo gye yabeeranga ennyingi. lya Alawuna Omuyebusi.” 19Awo Dawudi n’agondera ebiragiro bya Mukama Katonda bye yayisa mu Gaadi, n’ayambuka ku gguuliro. 20Alawuna n’alengera kabaka n’abasajja be nga bajja gy’ali, n’afuluma n’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi.

2124:21 Kbl 16:44-50Alawuna n’abuuza nti, “Kiki ekireese mukama wange kabaka eri omuddu we?” Dawudi n’addamu nti, “Nzize okugula egguuliro lyo, nzimbire Mukama ekyoto, kawumpuli aleke okubuna mu bantu.”

2224:22 1Sa 6:14; 1Bk 19:21Alawuna n’agamba Dawudi nti, “Mukama wange kabaka atwale kyonna ky’anaasiima akiweeyo. Ente ziizo ez’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ebintu ebiwuula n’ebikoligo by’ente byonna mbiwaddeyo okuba enku. 2324:23 Ez 20:40-41Ebyo byonna, Alawuna abiwaddeyo eri kabaka.” Alawuna n’ayongerako nti, “Olabe ekisa mu maaso ga Mukama Katonda wo.”

2424:24 Mal 1:13-14Naye kabaka n’agamba Alawuna nti, “Nedda, nzija kulisasulira24:24 Dawudi n’agula akasozi konna aka Moliya. Mu kifo ekyo mwe yazimba Yeekaalu ya Mukama, okumpi ennyo n’ekibuga kya Dawudi ku luuyi lw’obukiikakkono (1By 22:1; 2By 3:1).. Sijja kuwaayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange, nga sisasulidde muwendo.”

Awo Dawudi n’asasulira egguuliro n’ente, omuwendo ogw’enkana effeeza, gulaamu lukaaga. 2524:25 a 1Sa 7:17 b 2Sa 21:14Dawudi n’azimbira Mukama ekyoto n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. Olwo Mukama Katonda n’ayanukula okusaba kwe ku lw’ensi, kawumpuli n’ava ku Isirayiri.