撒母耳记上 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

撒母耳记上 3:1-21

主呼召撒母耳

1撒母耳跟着以利事奉耶和华。那时候,耶和华的话语稀少,异象也不多。 2一天晚上,老眼昏花的以利正睡在自己的房里。 3上帝的灯还没有熄灭,撒母耳睡在耶和华的殿内,即安放上帝约柜的地方。 4耶和华呼唤撒母耳撒母耳答道:“我在这里!” 5他跑到以利跟前,说:“我来了,你叫我吗?”以利说:“我没有叫你,你去睡吧。”于是,他就回去睡觉。 6耶和华又呼唤撒母耳撒母耳起来到以利跟前,说:“我来了,你叫我吗?”以利答道:“孩子,我没有叫你,回去睡吧。” 7那时,撒母耳还不认识耶和华,耶和华的话还没有向他显明。 8耶和华第三次呼唤他,撒母耳起来,到以利面前,说:“我来了,你叫我吗?”这时候,以利才明白原来是耶和华在呼唤这孩子。 9他就吩咐撒母耳说:“你回去睡吧,若再呼唤你,你就说,‘耶和华啊,请吩咐,仆人恭听。’”于是,撒母耳就回去睡下。 10耶和华来站在那里,再次像刚才一样呼唤:“撒母耳撒母耳!”撒母耳答道:“请吩咐,仆人恭听。” 11耶和华对撒母耳说:“我要在以色列做一件令人震惊的事。 12到时候,我要应验我说的有关以利家的一切预言。 13我对以利说过我要永远惩罚他家,因为他知道自己的儿子亵渎我,却没有制止他们。 14所以,我向以利家起誓说,‘靠祭物或礼物绝不能赎去以利家的罪恶。’”

15撒母耳在床上躺到天亮,然后起来打开耶和华的殿门。他不敢把耶和华的话告诉以利16以利叫他:“撒母耳,我的孩子。”撒母耳答道:“我在这里。” 17以利说:“耶和华对你说了什么?你不要向我隐瞒。如果你隐瞒一句,愿上帝重重地惩罚你。”

18撒母耳就一五一十地告诉了他。以利说:“祂是耶和华,祂看怎样好,就怎样行吧。” 19撒母耳渐渐长大,耶和华与他同在,使他所说的话没有一句落空。 20别示巴,全以色列的人都知道撒母耳被立为耶和华的先知。 21耶和华继续在示罗显现,用自己的话启示撒母耳撒母耳把耶和华的话传遍了以色列

Luganda Contemporary Bible

1 Samwiri 3:1-21

Mukama Ayita Samwiri

13:1 a 1Sa 2:11 b Zab 74:9 c Am 8:11Awo omuvubuka Samwiri n’aweerezanga mu maaso ga Mukama ng’alabirirwa Eri. Mu biro ebyo ekigambo kya Mukama kyali kya bbula, era nga n’okwolesebwa kwa bbalirirwe.

23:2 1Sa 4:15Mu kiseera ekyo, Eri eyali akaddiye, n’amaaso ge nga gayimbadde, yali awumuddeko mu kisenge kye. 33:3 Lv 24:1-4Ettabaaza3:3 Ettabaaza ya Katonda mu kifo ekitukuvu yali eteekeddwa okwaka ekiro kyonna (Kuv 27:20-21; 30:7-8). Noolwekyo okwolesebwa okwo kwaliwo mu ssaawa ez’oku makya ennyo, ng’enjuba tennavaayo ya Katonda yali tennazikira nga ne Samwiri yeebase mu yeekaalu3:3 eyogerwako wano ye Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu ya Mukama ng’aliraanye essanduuko ya Katonda we yali. 43:4 Is 6:8Awo Mukama n’akoowoola Samwiri nti, “Samwiri, Samwiri!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno.” 5N’adduka n’agenda ewa Eri n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, ddayo weebake.”

6Mukama n’addamu n’amuyita, “Samwiri!” Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri, n’amugamba nti, “Nze nzuuno, ompise.” Naye Eri n’amuddamu nti, “Sikuyise, mutabani, ddayo weebake.”

73:7 Bik 19:12Samwiri yali tannategeera nga Mukama y’amuyita, nga n’ekigambo kya Mukama tekimubikkulirwanga.

8Mukama n’addamu n’akoowoola Samwiri omulundi ogwokusatu, Samwiri n’asituka n’agenda eri Eri n’amugamba nti, “Nzuuno, ompise.”

Awo Eri n’ategeera nti Mukama y’ayita omuvubuka. 9Eri kyeyava agamba Samwiri nti, “Genda weebake, bw’anaddamu okukuyita, oddamu nti, Yogera, Mukama, kubanga omuweereza wo awulira.” Awo Samwiri n’agenda n’agalamira mu kifo kye.

10Mukama n’ajja nate, n’amukoowoola ng’olubereberye nti, “Samwiri! Samwiri!” Samwiri n’addamu nti, “Yogera, Ayi Mukama kubanga omuweereza wo awulira.”

113:11 2Bk 21:12; Yer 19:3Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Laba, ndikumpi okukola ekigambo mu Isirayiri ekirireetera amatu ga buli muntu alikiwulira okuwaawaala. 123:12 1Sa 2:27-36Ku lunaku olwo ndituukiriza ebyo byonna bye nnali njogedde ku nnyumba ya Eri. 133:13 1Sa 2:12, 17, 22, 29-31Namulabula nti ndibonereza ennyumba ye ennaku zonna, olw’obutali butuukirivu bwa batabani be abavvoola Katonda, n’akimanya naye n’atabaziyiza. 143:14 Lv 15:30-31; 1Sa 2:25; Is 22:14Kyenva ndayirira ennyumba ya Eri nga ŋŋamba nti, ‘Omusango oguli ku nnyumba ya Eri tegulisonyiyibwa na ssaddaaka newaakubadde ekiweebwayo ennaku zonna.’ ”

15Samwiri n’addayo n’agalamira okutuusa obudde lwe bwakya, n’aggulawo enzigi ez’ennyumba ya Mukama. N’atya okutegeeza Eri okwolesebwa kwe yafuna, 16naye Eri n’amuyita n’amugamba nti, “Samwiri, mwana wange.” N’addamu nti, “Nze nzuuno.”

173:17 Lus 1:17; 2Sa 3:35Eri n’amubuuza nti, “Kiki kye yakugambye? Tokinkisa. Katonda akuleeteko ekibonerezo eky’amaanyi bw’onoobaako ekigambo kyonna ky’onkisizza ku ebyo bye yakugambye.” 183:18 Yob 2:10; Is 39:8Awo Samwiri n’amutegeeza buli kimu, n’atabaako kigambo na kimu kye yamukisa. Eri n’ayogera nti, “Ye Mukama, akole nga bw’asiima.”

193:19 a Lub 21:22; 39:2 b 1Sa 2:21 c 1Sa 9:6Mukama n’abeera wamu ne Samwiri, n’akula. Buli kigambo kye yayogera ku nnyumba ya Eri ne kituukirira. 203:20 Bal 20:1Isirayiri yenna okuva mu Ddaani okutuuka e Beeruseba ne bategeera nga Samwiri ateekeddwawo okuba nnabbi wa Mukama. 213:21 nny 10Mukama ne yeeyongeranga okweyolekera Samwiri mu Siiro.