提摩太前书 5 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

提摩太前书 5:1-25

信徒的责任

1不要斥责年长的,要像对待父亲一样劝他们;对待青年男子要情同手足; 2对待年长的妇女要情同母亲;对待青年女子要心思纯正,视她们如姊妹。

3要敬重和帮助那些真正有需要的寡妇。 4如果寡妇有儿孙,就要叫她们的儿孙在家中学习尽孝道,奉养她们,以报答养育之恩,这是上帝所悦纳的。 5真正有需要、无依无靠的寡妇仰赖上帝的帮助,昼夜不住地祷告祈求。 6但贪图享受的寡妇虽然活着,却已经死了。 7你当教导众人这些事,好叫他们无可指责。 8谁不照顾自己的亲属,尤其是不照顾自己的家人,就是违背真道,比不信的人还坏。

9列入名册的寡妇必须年满六十岁,在婚姻上从一而终, 10并且在善事上有好名声,如教养儿女、接待外人、服侍圣徒、救助困苦、竭力做各种善事。

11不要把年轻的寡妇列入名册,因为当她们情欲冲动,无法持守对基督的委身时,就想再嫁, 12以致违背了起初的誓言而受审判。 13况且,她们不仅懒散成性,四处串门,还说长道短,好管闲事,搬弄是非。 14所以,我建议年轻的寡妇再嫁,生儿育女,料理家务,不要给仇敌毁谤的机会, 15因为有些人已经偏离正道,去追随撒旦了。 16女信徒的家里若有寡妇,就应该自己照顾她们,免得加重教会的负担,这样教会才能照顾那些真正无依无靠的寡妇。

17那些善于管理教会的长老,尤其是那些辛勤传道和教导人的,理当得到加倍的尊敬和报酬。 18因为圣经上说:“牛在踩谷时,不可笼住它的嘴。”又说:“做工的得报酬是应该的。” 19若有人向你控告长老,必须有两三个证人,否则不要受理。 20那些一直犯罪的人,你要当众责备他们,以警戒众人。

21我在上帝和主耶稣基督以及蒙拣选的众天使面前吩咐你:要遵行这些话,不要有成见,不要偏心。 22为人行按手礼,不要操之过急。不要沾染别人的罪,要洁身自好。

23你的胃不好,经常生病,不要只喝水,要稍微喝一点酒。

24有些人的罪很明显,自招审判,有些人的罪日后才暴露出来。 25同样,有些善行很明显,不明显的也不会被长久埋没。

Luganda Contemporary Bible

1 Timoseewo 5:1-25

Obuvunaanyizibwa bw’abakkiriza

15:1 a Tit 2:2 b Lv 19:32 c Tit 2:6Tokambuwaliranga musajja mukulu, wabula omubuuliriranga nga kitaawo. Abavubuka bayisenga nga baganda bo, 2abakazi abakadde bayisenga ng’abazadde bo, abato nga bannyoko, ng’omutima gwo mulongoofu ddala.

35:3 nny 5, 16Bannamwandu ddala, bassengamu ekitiibwa. 45:4 a Bef 6:1, 2 b 1Ti 2:3Nnamwandu bw’abanga n’abaana oba abazzukulu basookenga okuyiga ebyo ebikolebwa mu maka ge waabwe, nga bassaayo omwoyo ku bazadde baabwe era n’okubalabirira. Kubanga ekyo kisanyusa Katonda. 55:5 a nny 3, 16 b 1Ko 7:34; 1Pe 3:5 c Luk 2:37Oyo aba nnamwandu ddala, asigadde yekka, essuubi lye aba alitadde mu Katonda, era anyiikire okwegayirira n’okusaba Katonda emisana n’ekiro. 65:6 Luk 15:24Kyokka oyo nnamwandu eyeemalira mu masanyu, aba ng’afudde, newaakubadde ng’akyali mulamu. 75:7 1Ti 4:11Ebyo bibalagire, baleme kubaako kya kunenyezebwa. 85:8 2Pe 2:1; Yud 4; Tit 1:16Naye omuntu yenna bw’atalabirira bantu be, na ddala ab’omu nnyumba ye, aba yeegaanyi okukkiriza, era aba mubi okusinga atakkiriza.

9Nnamwandu awezezza emyaka enkaaga ye yekka anaawandiikibwanga ku lukalala lwa bannamwandu. Era ateekwa kuba nga yafumbirwa omusajja omu, 105:10 a Bik 9:36; 1Ti 6:18; 1Pe 2:12 b Luk 7:44 c nny 16nga yakolanga ebikolwa ebirungi, oba nga yaleranga abaana, oba nga yayanirizanga abagenyi, oba nga yanaazanga abatukuvu ebigere, oba nga yayambanga abanyigirizibwa, era oba nga yeewangayo nnyo okukola obulungi mu buli ngeri.

11Naye bannamwandu abakyali abato, tokkirizanga okubateeka ku lukalala lwa bannamwandu, kubanga omubiri bwe gulibalemesa okweweerayo ddala eri Kristo, balyagala okufumbirwa, 12bwe batyo ne bessaako omusango olw’obutatuukiriza ekyo kye baasooka okusuubiza. 135:13 2Bs 3:11N’ekirala bayiga okubeera abagayaavu ne batambulatambula mu buli nnyumba, so si bugayaavu kyokka, naye era balina olugambo, era beeyingiza mu bitali byabwe ne boogera n’ebitasaana. 145:14 a 1Ko 7:9 b 1Ti 6:1Kyenva njagala bannamwandu abato bafumbirwenga, bazaale abaana, era balabirire amaka gaabwe, baleme kuwa mulabe kkubo lya kutwogerako kibi. 155:15 Mat 4:10Kubanga bannamwandu abamu bakyamye ne bagoberera Setaani.

165:16 nny 3-5Naye bwe wabaawo omukkiriza alina bannamwandu ab’olulyo lwe abalabirirenga, Ekkanisa ereme okuzitoowererwa, kiryoke kisoboke okulabirira bannamwandu abataliiko abayamba.

175:17 a Bik 11:30 b Baf 2:29; 1Bs 5:12Abakulembeze abafuga basaanidde okuweebwanga ekitiibwa kingi, na ddala abo abanyiikira ennyo mu kubuulira n’okuyigiriza ekigambo kya Katonda. 185:18 a Ma 25:4; 1Ko 9:7-9 b Luk 10:7; Lv 19:13; Ma 24:14, 15; Mat 10:10; 1Ko 9:14Kubanga Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Ente ng’ewuula eŋŋaano, togisibanga mumwa.” Era nti, “Omukozi asaanira okusasulwa empeera ye.” 195:19 a Bik 11:30 b Mat 18:16Tokkirizanga ebyo bye bavunaana omukulembeze okuggyako nga biriko abajulirwa babiri oba basatu. 205:20 a 2Ti 4:2; Tit 1:13 b Ma 13:11Kyokka abo aboonoona banenyezenga mu lwatu, abalala balyoke batye. 215:21 1Ti 6:13; 2Ti 4:1Nkukuutirira mu maaso ga Katonda ne Kristo Yesu, ne bamalayika abalonde okugobereranga ebyo, nga teweekubira wadde okusaliriza.

225:22 a Bik 6:6 b Bef 5:11Toyanguyirizanga kussaako mikono ku muntu yenna, so tossanga kimu na bibi by’abalala; weekuumenga ng’oli mulongoofu.

235:23 1Ti 3:8Lekeraawo okunywanga amazzi gokka, naye nywanga ne ku wayini mutono olw’olubuto lwo, n’olw’okulwalalwala kwo.

24Ebibi by’abantu abamu birabika lwatu nga tebannasalirwa musango kubasinga, naye eby’abalala birabika luvannyuma. 25N’ebikolwa ebirungi nabyo bwe bityo birabika lwatu; ne bwe biba tebirabise lwatu, tebiyinza kukwekebwa bbanga lyonna.