但以理书 6 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

但以理书 6:1-28

但以理在狮子坑

1大流士决定设立一百二十个总督治理全国。 2总督之上,设三个总长,以维护王的统治,但以理是其中之一。 3因为但以理有非凡的心智,远超过其他总长和总督,王便考虑让他治理全国。 4于是,其他总长和总督想在但以理的政务中找把柄控告他,却找不到任何把柄或过失,因为他诚实可靠,毫无过失。 5最后他们说:“除非我们从但以理上帝的律法下手,否则找不到指控他的把柄。”

6于是,这些总长和总督齐来见王,说:“愿大流士王万岁! 7所有总长、行政官、总督、谋士和省长都认为王应该下一道禁令,三十天内,任何人不得向王以外的神明或人祷告,违者必被扔进狮子坑。 8王啊,求你颁布、签署这道禁令,使之不可更改,正如玛代人和波斯人的律令是不可更改的。” 9于是大流士王签署了这道禁令。

10但以理知道王签署禁令后,就回到家里。他楼上的窗户朝向耶路撒冷,他像往常一样每日三次跪下向上帝祷告、感恩。 11那些官员一同来了,发现但以理向他的上帝祷告、祈求, 12便去见王,提及王的禁令,说:“王啊,你不是签署禁令,三十天内,任何人不得向王以外的神明或人祷告,违者必被扔进狮子坑吗?”王说:“确有此事,按照玛代人和波斯人的律,这禁令不可更改。” 13他们对王说:“王啊,被掳来的犹大但以理不理会你和你的禁令,仍一日三次向他的上帝祈祷。” 14王听了这些话,十分愁烦,一心想救但以理,直到日落都在筹划解救之道。 15那些人齐来见王,说:“王啊,按照玛代人和波斯人的律,王颁布的禁令和律例是不可更改的。”

16王便下令把但以理带来扔进狮子坑。他对但以理说:“愿你忠心事奉的上帝拯救你!” 17坑口用大石封住,并加上王和大臣的封印,使惩办但以理的事不可更改。 18王回宫后,整夜禁食,拒绝娱乐,无法入睡。

19次日黎明,王起来匆忙赶往狮子坑, 20到了坑边,凄声呼喊但以理:“永活上帝的仆人但以理啊,你忠心事奉的上帝有没有救你脱离狮子的口?” 21但以理对王说:“愿王万岁! 22我的上帝差遣天使封住了狮子的口,不让它们伤害我,因为我在上帝面前是清白的。王啊,我在你面前也没有过错。” 23王非常高兴,便命人把但以理从坑中拉上来。于是,但以理从坑中被拉了上来,他因为信靠他的上帝,身上毫无损伤。 24王下令把那些恶意控告但以理的人及其儿女妻子都带来,扔进狮子坑。他们还没到坑底,狮子便扑上去,咬碎了他们的骨头。

25后来,大流士王传谕境内的各族、各邦、各语种的人,说:“愿你们大享平安! 26我下令,我统治的国民都要敬畏但以理的上帝,

“因为祂是永活长存的上帝,

祂的国度永不灭亡,

祂的统治直到永远。

27祂庇护、拯救,

在天上地下行神迹奇事,

但以理脱离狮子的口。”

28因此,在大流士波斯塞鲁士执政期间,但以理凡事亨通。

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 6:1-28

Danyeri asuulibwa mu Mpuku y’Empologoma

1Daliyo yalonda abaamasaza kikumi mu abiri mu bwakabaka bwonna, 26:2 a Dan 2:48-49 b Ezr 4:22era mu abo n’alonda abaabakuliranga basatu, Danyeri nga y’omu ku bo. Abaamasaza baateekebwawo okutegeezanga ng’obwakabaka bwe, bwe bwaddukanyizibwanga, kabaka aleme kufiirizibwa. Era ekyo ne kisanyusa Daliyo. 36:3 Lub 41:41; Es 10:3; Dan 5:12-14Mu biro ebyo Danyeri n’ayatiikirira nnyo okusinga abakulu abalala bonna n’abaamasaza bonna kubanga yalimu omwoyo omulungi, era kabaka n’ateekateeka okumukuza okuvunaanyizibwanga ensonga zonna z’obwakabaka bwonna. 4Olwawulira ebyo, abakungu abalala ababiri n’abaamasaza ne basala amagezi okunoonya ensonga ku Danyeri ku nzirukanya ye ey’ebyemirimu egy’obwakabaka, naye ne batayinza kulaba nsonga nkyamu newaakubadde akabi konna, kubanga yali musajja mwesigwa ataalina kwonoona okw’engeri yonna newaakubadde obulagajjavu. 56:5 Bik 24:13-16Awo abasajja abo ne bayiiya ensonga endala, ne boogera nti, “Tetugenda kulaba nsonga evunaanyisa Danyeri wabula ng’ekwata ku tteeka lya Katonda we.”

66:6 Nek 2:3; Dan 2:4Abakungu abo n’abaamasaza kyebaava bagenda bonna eri kabaka mu kibiina ne boogera nti, “Ayi kabaka Daliyo, owangaale! 76:7 a Dan 3:2 b Zab 59:3; 64:2-6; Dan 3:6Abakungu bonna, n’abamyuka baabwe, n’abaamasaza, n’abawi b’amagezi ab’oku ntikko, n’abakungu, bateesezza ne bakkiriziganya okusaba kabaka okuteeka etteeka, n’okuwa ekiragiro ekinywevu, nga buli anaasabanga eri katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu ezinaddirira, okuggyako ng’asinza ggwe, ayi kabaka, asuulibwe mu mpuku y’empologoma. 86:8 Es 1:19Kaakano ayi kabaka teeka etteeka era liwandiikibwe, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi agatajjulukuka bwe gali, kireme okukyusibwa.”

9Awo kabaka Daliyo n’akola etteeka n’alissaako n’omukono gwe. 106:10 a 1Bk 8:48-49 b Zab 95:6 c Bik 5:29Awo Danyeri bwe yamanya ng’etteeka liwandiikiddwa, n’agenda ewuwe mu nnyumba ye, n’ayambuka mu kisenge kye ekya waggulu ekyalina amadirisa nga goolekedde Yerusaalemi, n’afukamiranga emirundi esatu olunaku, n’asabanga era ne yeebazanga Katonda we nga bwe yakolanga bulijjo. 11Awo abasajja bali ne bateekateeka okugenda ng’ekibiina ne basanga Danyeri ng’asaba era nga yeegayirira Katonda we. 126:12 Es 1:19; Dan 3:8-12Ne bagenda eri kabaka ne bamujjukiza ekiragiro ne boogera nti, “Ayi kabaka, tewateeka etteeka nga buli anaasabanga katonda omulala oba omuntu omulala yenna mu nnaku amakumi asatu eziddirira wabula ng’asinza ggwe, alisuulibwa mu mpuku y’empologoma?”

Kabaka n’addamu nti, “Weewaawo, etteeka bwe liri, ng’amateeka g’Abameedi n’Abaperusi bwe gali agatajjulukuka.”

136:13 a Dan 2:25; 5:13 b Es 3:8; Dan 3:12Awo ne bagamba nti, “Danyeri omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, takussaako mwoyo, ayi kabaka, newaakubadde etteeka ly’owandiise. Asaba eri Katonda we emirundi esatu buli lunaku.” 146:14 Mak 6:26Kabaka bwe yawulira ebigambo ebyo n’anakuwala nnyo, n’agezaako okuwonya Danyeri, era n’amala olunaku lwonna ng’afuba nnyo okumuwonya.

156:15 Es 8:8Naye abasajja ne bagenda bonna ng’ekibiina eri kabaka ne bamugamba nti, “Jjukira, ayi kabaka, ng’etteeka ery’Abameedi n’Abaperusi kabaka ly’ataddeko omukono, terikyusibwa.”

166:16 a nny 7 b Yob 5:19; Zab 37:39-40Awo kabaka n’alagira, Danyeri n’aleetebwa, n’asuulibwa mu mpuku y’empologoma. Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Nkusabira eri Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akulokole!”

176:17 Mat 27:66Ne baleeta ejjinja ne baliteeka ku mulyango gw’empuku, kabaka n’alissaako akabonero ke ye, n’abakungu be ne balissaako obubonero bwabwe, ekigambo kyonna kireme okukyusibwa ku nsonga ya Danyeri. 186:18 a 2Sa 12:17 b Es 6:1; Dan 2:1Awo kabaka n’addayo mu lubiri lwe, naye n’atalya kintu na kimu ekiro ekyo, era n’atakkiriza kusanyusibwa, n’otulo ne tumubula.

19Ku makya ennyo emambya ng’esaze, kabaka n’agolokoka n’ayanguwa okugenda ku mpuku ey’empologoma. 206:20 Dan 3:17Bwe yasembera okumpi ne Danyeri we yali, n’amukoowoola mu ddoboozi ery’ennaku ng’agamba nti, “Danyeri omuddu wa Katonda omulamu, Katonda wo, gw’oweereza bulijjo akuwonyezza empologoma?”

216:21 Dan 2:4Danyeri n’addamu nti, “Wangaala, ayi kabaka. 226:22 a Dan 3:28 b Zab 91:11-13; Beb 11:33 c Bik 12:11; 2Ti 4:17Katonda wange yatumye malayika we, n’aziba emimwa gy’empologoma zireme okunkolako akabi kubanga nasangiddwa nga sirina musango mu maaso ge. Ate ne mu maaso go sirina musango, ayi kabaka.”

236:23 a Dan 3:27 b 1By 5:20Kabaka n’asanyuka nnyo n’alagira Danyeri aggyibwe mu mpuku. Awo Danyeri n’aggyibwa mu mpuku, n’atasangibwako kiwundu na kimu, kubanga yeesiga Katonda we.

246:24 a Ma 19:18-19; Es 7:9-10; Zab 54:5 b Ma 24:16; 2Bk 14:6 c Is 38:13Awo amangwago kabaka n’alagira, abasajja abaalumiriza Danyeri baleetebwe, era basuulibwe mu mpuku y’empologoma, wamu ne bakyala baabwe n’abaana baabwe. Baali tebanatuuka na ku ntobo y’empuku, empologoma ne zibasinza amaanyi ne zimenyaamenya amagumba gaabwe gonna.

256:25 Dan 4:1Awo kabaka Daliyo n’awandiikira abantu bonna, n’amawanga gonna n’abantu ab’ennimi zonna mu nsi yonna nti,

“Emirembe gibeere gye muli!

266:26 a Zab 99:1-3; Dan 3:29 b Dan 2:44; 4:34“Nteeka etteeka mu buli kitundu ky’obwakabaka bwange bwonna nga ndagira nti abantu bateekwa okutya n’okussaamu Katonda wa Danyeri ekitiibwa.

“Kubanga ye Katonda omulamu,

abeerera emirembe gyonna;

n’obwakabaka bwe tebuliggwaawo,

n’okufuga kwe tekulikoma.

276:27 a Dan 4:3 b nny 22Alokola era awonya:

akola obubonero n’ebyamagero

mu ggulu ne ku nsi.

Yalokodde Danyeri

mu mannyo6:27 mannyo: Bayibuli ey’Olungereza eyogera ku maanyi, naye mu Luganda twogera “mannyo ga mpologoma”, kubanga tewaaliwo kulwanagana na mpologoma. Mu buntu empologoma zaali zimusinza amaanyi g’empologoma.”

286:28 2By 36:22; Dan 1:21Awo Danyeri n’aba n’omukisa mu mirembe gya Daliyo era n’awangaala okutuusa ne mu mirembe gya Kuulo Omuperuzi.