以赛亚书 60 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 60:1-22

锡安将来的荣耀

1起来,发光吧!因为你的光已经来到,

耶和华的荣耀已经照在你身上。

2看啊,黑暗遮盖大地,

幽暗笼罩万民,

但耶和华必照耀你,

祂的荣耀必照在你身上。

3万国要来就你的光,

君王要来就你的曙光。

4耶和华说:“举目四望吧,

众人正聚到你面前,

你的儿子们从远方来,

你的女儿们被护送回来。

5你看见后就容光焕发,

心花怒放,

因为海上的货物要归给你,

列国的财富都要归给你。

6米甸以法的骆驼必成群结队而来,

布满你的地面;

示巴人必带着黄金和乳香来颂赞耶和华。

7基达的羊群必集合到你那里,

尼拜约的公羊必供你使用,

它们在我的坛上必蒙悦纳。

我要使我荣美的殿更荣美。

8“这些好像云彩飞来,

又像鸽子飞回巢穴的是谁?

9众海岛的人都等候我,

他施的船只行在前面,

从远处把你的儿子和他们的金银财宝一同带来,

以尊崇你的上帝耶和华——以色列的圣者,

因为我已经使你得到荣耀。

10“外族人要为你建造城墙,

他们的君王要服侍你。

我曾发怒击打你,

如今我要施恩怜悯你。

11你的城门要一直敞开,

昼夜不关,

好让各国的君王带着他们的人民和财物列队前来向你朝贡。

12不肯向你俯首称臣的国家必灭亡,被彻底摧毁。

13黎巴嫩引以为荣的松树、杉树和黄杨树都要运到你这里,

用来装饰我的圣所;

我要使我脚踏之处充满荣耀。

14欺压你之人的子孙要向你下拜,

藐视你的人要在你脚前跪拜。

他们要称你为耶和华的城,

以色列圣者的锡安

15“虽然你曾被撇弃、被厌恶,

无人从你那里经过,

但我要使你永远尊贵,

世世代代都充满欢乐。

16你必吸各国的乳汁,

吃王室的奶水。

那时,你就知道我耶和华是你的救主,

是你的救赎主,是雅各的大能者。

17“我要以金代替铜,

以银代替铁,

以铜代替木头,

以铁代替石头。

我要使和平做你的官长,

使公义做你的首领。

18你国中再没有暴力,

境内再没有破坏和毁灭的事;

你必给你的城墙取名叫‘拯救’,

给你的城门取名叫‘赞美’。

19“太阳不再作你白昼的光,

月亮也不再给你光辉,

因为耶和华要作你永远的光,

你的上帝要成为你的荣耀。

20你的太阳不再落下,

你的月亮也不再消失,

因为耶和华要作你永远的光,

你悲哀的日子将要结束。

21你的人民都必成为义人,

永远拥有这土地。

他们是我亲手栽种的树苗,

以彰显我的荣耀。

22最小的家族要变成千人的大家族,

最弱的一国要成为强国。

时候一到,我耶和华必迅速成就这些事。”

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 60:1-22

Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja

160:1 a Is 52:2 b Bef 5:14“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase

era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.

260:2 Yer 13:16; Bak 1:13Kubanga laba ensi eribikkibwa ekizikiza

era n’ekizikiza ekikutte ennyo kibikke abantu baamawanga gonna,

naye ggwe Mukama alikwakirako

era ekitiibwa kye kikulabikeko.

360:3 a Is 45:14; Kub 21:24 b Is 49:23Amawanga galijja eri omusana gwo

ne bakabaka eri okumasamasa okunaakubangako ng’ojja.

460:4 a Is 11:12 b Is 43:6 c Is 49:20-22“Yimusa amaaso go olabe;

abantu bo bonna bakuŋŋaana okujja gy’oli

batabani bo abava ewala ne bawala bo

abasituliddwa mu mikono.

5Kino oli wakukirabako ojjule essanyu,

omutima gwo, gujjule okweyagala n’okujaguza.

Obugagga bw’amawanga bulyoke bukuleetebwe,

era n’ebirungi byonna eby’omu nnyanja birikweyuna.

660:6 a Lub 25:2 b Lub 25:4 c Zab 72:10 d Is 43:23; Mat 2:11 e Is 42:10Ebisibo by’eŋŋamira birijjula ensi yammwe,

eŋŋamira ento ez’e Midiyaani ne Efa.60:6 Midiyaani lyali ggwanga lya balunzi ba nsolo abaatambulatambulanga mu bukiikaddyo bw’obugwanjuba bwa Yoludaani. Efa ye yali mutabani wa Midiyaani

Era ne zonna ez’e Seba zirijja nga zeetisse zaabu n’obubaane

okulangirira ettendo lya Katonda.

760:7 a Lub 25:13 b nny 13; Kag 2:3, 7, 9N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,

endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.

Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange

era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.

860:8 Is 49:21“Bano baani abaseyeeya nga ebire,

ng’amayiba agadda mu bisu byago?

960:9 a Is 11:11 b Is 14:2; 43:6 c Is 55:5Ddala ddala ebizinga bitunuulidde nze;

ebidyeri by’e Talusiisi bye bikulembedde

bireete batabani bammwe okubaggya ewala

awamu ne zaabu yaabwe ne ffeeza,

olw’ekitiibwa kya Mukama Katonda wammwe,

Omutukuvu wa Isirayiri,

kubanga akufudde ow’ekitiibwa.

1060:10 a Is 14:1-2 b Is 49:23; Kub 21:24 c Is 54:8“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,

era bakabaka baabwe bakuweereze;

Olw’obusungu bwange, nakukuba,

naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.

1160:11 a nny 18; Is 62:10; Kub 21:25 b Is 62:5; Kub 21:26 c Zab 149:8Emiryango gyo ginaabanga miggule bulijjo,

emisana n’ekiro tegiggalwenga,

abantu balyoke bakuleeterenga obugagga obw’amawanga gaabwe

nga bakulembeddwamu bakabaka baabwe.

1260:12 Is 14:2Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.

Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.

1360:13 a Is 35:2 b Is 41:19 c 1By 28:2; Zab 132:7“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,

emiti egy’ettendo egy’enfugo,

omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,

ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.

1460:14 a Is 14:2 b Is 49:23; Kub 3:9 c Beb 12:22Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;

era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.

Balikuyita kibuga kya Katonda,

Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.

1560:15 a Is 1:7-9; 6:12 b Is 33:8 c Is 4:2 d Is 65:18“Wadde nga wali olekeddwa awo ng’okyayibbwa,

nga tewali n’omu akuyitamu,

ndikufuula ow’ettendo,

essanyu ery’emirembe gyonna.

1660:16 a Is 49:23; 66:11, 12 b Is 59:20Olinywa amata ag’amawanga.

Ku mabeere ga bakungu kw’onooyonkanga,

era olimanyira ddala nti,

Nze, nze Mukama,

nze Mulokozi wo era Omununuzi wo,

ow’Amaanyi owa Yakobo.

17Mu kifo ky’ekikomo ndireeta zaabu,

mu kifo ky’ekyuma ndireeta effeeza,

mu kifo ky’omuti ndireeta kikomo,

ne mu kifo ky’amayinja ndeete ekyuma.

Emirembe gye girifuuka omufuzi wo

n’obutuukirivu ne buba omukulembeze wo.

1860:18 Is 26:1Okutabukatabuka tekuddeyo kuwulirwa mu nsi yo,

wadde okwonoona n’okuzikiriza munda mu nsalo zo.

Ebisenge byo olibiyita Bulokozi,

Era n’enzigi zo, Kutendereza.

1960:19 a Kub 22:5 b Zek 2:5; Kub 21:23Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,

oba omwezi okukumulisizanga ekiro.

Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe,

era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.

2060:20 a Is 30:26 b Is 35:10Enjuba yo terigwa nate,

n’omwezi gwo tegulibula;

Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe

era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.

2160:21 a Kub 21:27 b Zab 37:11, 22; Is 57:13; 61:7 c Mat 15:13 d Is 19:25; 29:23; Bef 2:10 e Is 52:1Abantu bo babeere batuukirivu,

ensi ebeere yaabwe emirembe n’emirembe.

Ekisimbe kye nnesimbira;

omulimu gw’emikono gyange,

olw’okulaga ekitiibwa kyange.

22Asembayo okuba owa wansi alyala n’aba lukumi,

n’asembayo obutono afuuke eggwanga ery’amaanyi.

Nze Mukama,

ndikyanguya mu biseera byakyo.”