以赛亚书 58 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 58:1-14

真正的虔诚

1“你要高声呼喊,不要停止;

要放声高呼,像响亮的号角。

要向我的子民宣告他们的过犯,

雅各家宣告他们的罪恶。

2他们天天寻求我,

好像渴慕认识我的律法,

俨然像没有丢弃他们上帝法令的正义之邦。

他们向我求公义的判决,

似乎渴慕到我面前。

3他们说,‘我们禁食,你为什么不看呢?

我们刻苦己身,你为什么不理睬呢?’

我说,‘看啊,禁食之日你们仍然随心所欲,

压榨你们的工人。

4你们一面禁食,一面争闹打斗,

彼此恶拳相向。

不要指望这样的禁食会使你们的祷告在天上蒙垂听。

5难道这是我要的禁食吗?

难道刻苦己身、

像芦苇一样垂着头、

躺在麻布和炉灰上就是禁食吗?

这就是你们所谓的禁食,

所谓的蒙耶和华悦纳的日子吗?

6“‘我要的禁食是,

除去罪恶的锁链,

解开轭上的绳索,

折断一切的轭,

使受欺压的人得到自由,

7把你们的食物分给饥饿的人,

接待无家可归的穷人,

送衣服给赤身露体的人,

不躲避求助的亲人。

8如果你们这样做,你们的光必如晨光照耀,

你们的创伤必迅速痊愈,

你们的公义必在前方为你们开路,

耶和华的荣耀必在后面保护你们。

9你们求告,我必应允;

你们呼求,我必回应。

如果你们不再欺压、指责、毁谤,

10如果你们给饥饿的人食物,

扶助困苦的人,

你们的光必照亮黑暗,

你们的黑夜必变成正午。

11耶和华必不断地引导你们,

使你们在干旱之地也能得到供应,筋骨强健。

你们必像灌溉充足的园子,

又像涌流不息的泉源。

12你们当中必有人重修古老的荒场,

重建远古的根基。

你们必被称为修补断垣、

重建街道的人。

13“‘如果你们遵守安息日,

在我的圣日不做私事,

以安息日为乐,

尊崇我的圣日,

不随意而行,

不妄自说话,

14就必以耶和华为乐,

耶和华必使你们在地上受尊崇,

并享用你们先祖雅各的产业。’”

这是耶和华亲口说的。

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 58:1-14

Okusiiba okw’Amazima

158:1 a Is 40:6 b Is 48:8Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka,

tokisirikira.

Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,58:1 Ekkondeere lyafuuyibwanga okukuŋŋaanya abaserikale beetegeke okulaga mu lutalo

obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.

258:2 a Is 48:1; Tit 1:16; Yak 4:8 b Is 29:13Kubanga bannoonya buli lunaku

era beegomba okumanya amakubo gange,

nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu

so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe.

Bambuuza ensala ennuŋŋamu,

ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.

358:3 a Lv 16:29 b Mal 3:14 c Is 22:13; Zek 7:5-6Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako?

Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?”

Musooke mulabe,

ennaku ze musiiba

muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe,

musigala munyigiriza abakozi bammwe.

458:4 a 1Bk 21:9-13; Is 59:6 b Is 59:2Njagala mulabe.

Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo,

n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde.

Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.

558:5 a Zek 7:5 b 1Bk 21:27 c Yob 2:8Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana?

Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako?

Kukutamya bukutamya mutwe,

kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu?

Okwo kwe muyita okusiiba,

olunaku olusiimibwa Mukama?

658:6 a Nek 5:10-11 b Yer 34:9Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;

okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,

n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,

n’okuta abo abanyigirizibwa,

n’okumenya buli kikoligo?

758:7 a Ez 18:16; Luk 3:11 b Is 16:4; Beb 13:2 c Yob 31:19-20; Mat 25:36 d Lub 29:14; Luk 10:31-32Si kugabira bayala ku mmere yo,

n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;

bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza

n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?

858:8 a Yob 11:17 b Is 30:26 c Kuv 14:19Awo omusana gwo gulyoke guveeyo

gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;

obutuukirivu bwo bukukulembere,

era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.

958:9 a Zab 50:15 b Nge 6:13 c Zab 12:2; Is 59:13Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu;

olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano.

“Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza

n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;

1058:10 a Ma 15:7-8 b Is 42:16 c Yob 11:17bw’olyewaayo okuyamba abayala

n’odduukirira abali mu buzibu,

olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza,

ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.

1158:11 a Zab 107:9 b Lu 4:15 c Yk 4:14Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna,

n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga,

amagumba go aligongeramu amaanyi;

era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi,

era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.

1258:12 a Is 49:8 b Is 44:28N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika

era baddemu okuzimba emisingi egy’edda.

Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka,

omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.

1358:13 a Is 56:2 b Zab 84:2, 10“Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti,

obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu,

bw’onooluyitanga olw’essanyu

era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa,

singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe

oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,

1458:14 a Yob 22:26 b Ma 32:13 c Is 1:20awo olifuna essanyu eriva eri Mukama

era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu

era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo”

Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.