以赛亚书 38 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 38:1-22

希西迦患病

1那些日子,希西迦病危,亚摩斯的儿子以赛亚先知前来对他说:“耶和华说,‘你要交待后事,因为你要死了,你的病不能康复。’” 2希西迦把脸转向墙,向耶和华祷告,说: 3“耶和华啊,求你顾念我怎样全心、忠诚地事奉你,做你视为善的事。”希西迦痛哭起来。 4耶和华对以赛亚说: 5“你去告诉希西迦,‘你祖先大卫的上帝耶和华说,我听见了你的祷告,也看见了你的眼泪,我要使你的寿命增加十五年。 6我要从亚述王手中拯救你和这城,我要保护这城。’” 2138:21-22 这两节在原文抄本是放在本章末尾,不过这可能是在誊抄过程中放错位置。其实这两节经文放在6节和7节之间最为自然,就如在列王纪下一样,参见列王纪下20:7-8以赛亚说:“拿一块无花果饼贴在王的疮上,他就会痊愈。” 22希西迦问:“有什么兆头能证明我可以再上耶和华的殿吗?”

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 38:1-22

Okusaba Kwa Keezeekiya ng’Alwadde

138:1 a Is 37:2 b 2Sa 17:23Mu nnaku ezo Keezeekiya n’alwala nnyo, katono afe. Nnabbi Isaaya mutabani wa Amozi n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Teekateeka ennyumba yo, kubanga togenda kulama, ogenda kufa.”

2Awo Keezeekiya n’akyuka n’atunuulira ekisenge n’asaba ne yeegayirira Mukama 338:3 a Nek 13:14; Zab 26:3 b 1By 29:19 c Ma 6:18 d Zab 6:8ng’agamba nti, “Jjukira kaakano, Ayi Mukama, nkwegayiridde, engeri gye natambuliranga mu maaso go n’amazima n’omutima ogutuukiridde, ne nkola ebisaanidde mu maaso go.” Era Keezeekiya n’akaaba nnyo amaziga.

4Awo Ekigambo kya Katonda ne kijja eri Isaaya, 538:5 2Bk 18:2nga Mukama agamba nti, “Genda ogambe Keezeekiya nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti, Mpulidde okusaba kwo, ndabye amaziga go: laba nzija kwongera ku nnaku zo emyaka kkumi n’ettaano. 638:6 Is 31:5; 37:35Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.

738:7 Is 7:11, 14“ ‘Era kano ke kabonero k’onoofuna okuva eri Mukama nti Mukama alikola ekigambo ky’ayogedde. 838:8 Yos 10:13Laba nzija kuzza emabega ekisiikirize ebigere kkumi enjuba bw’eneeba egwa, ky’eneekola ku madaala kabaka Akazi ge yazimba.’ ” Bw’etyo enjuba n’edda emabega ebigere kkumi.

9Awo Keezeekiya Kabaka wa Yuda bwe yassuuka, n’awandiika ebigambo bino;

1038:10 a Zab 102:24 b Zab 107:18; 2Ko 1:9 c Yob 17:11nayogera nti, “Mu maanyi g’obulamu bwange

mwe nnali ŋŋenda okufiira nnyingire mu miryango gy’emagombe,

nga simazeeyo myaka gyange egisigaddeyo.”

1138:11 Zab 27:13; 116:9Ne ndyoka njogera nti,

“Sigenda kuddayo kulaba Mukama,

mu nsi y’abalamu.

Sikyaddamu kulaba bantu mu nsi abantu mwe babeera.

1238:12 a 2Ko 5:1, 4; 2Pe 1:13-14 b Yob 4:21 c Beb 1:12 d Yob 7:6 e Zab 73:14Obulamu bwange buzingiddwako

ng’eweema y’omusumba w’endiga bw’enzigibwako.

Ng’olugoye lwe babadde balanga ate ne balusala ku muti kwe babadde balulukira,

bwe ntyo bwe nawuliranga emisana n’ekiro nga obulamu bwange

obumalirawo ddala.

1338:13 a Zab 51:8 b Yob 10:16; Dan 6:24Ekiro kyonna nakaabanga olw’obulumi

nga ndi ng’empologoma gw’emmenyaamenya amagumba,

ekiro n’emisana nga ndowooza nga Mukama yali amalawo obulamu bwange.

1438:14 a Is 59:11 b Yob 17:3Nakaabanga ng’akasanke oba akataayi,

n’empuubaala ng’enjiibwa,

amaaso gange ne ganfuyirira olw’okutunula mu bbanga eri eggulu.

Ne nkaaba nti, Ayi Mukama, nga nnyigirizibwa, nziruukirira.”

1538:15 a Zab 39:9 b 1Bk 21:27 c Yob 7:11Naye ate nga naagamba ki?

Yali ayogedde nange nga ye yennyini ye yali akikoze.

N’atambulanga n’obwegendereza mu bulumi buno

obw’obulamu bwange.

1638:16 Zab 119:25Ayi Mukama, olw’ebyo, abantu babeera abalamu,

era mu ebyo omwoyo gwange mwe gubeerera omulamu.

Omponye,

mbeere mulamu.

1738:17 a Zab 30:3 b Yer 31:34 c Is 43:25; Mi 7:19Ddala laba okulumwa ennyo bwe ntyo kyali ku lwa bulungi bwange,

naye ggwe owonyezza obulamu bwange okugwa mu bunnya obw’okuzikirira.

Kubanga otadde ebibi byange byonna

emabega wo.

1838:18 a Mub 9:10 b Zab 6:5; 88:10-11; 115:17 c Zab 30:9Kubanga tewali n’omu mu nsi y’abafu ayinza kukutendereza,

abafu tebayinza kukusuuta;

tebaba na ssuubi

mu bwesigwa bwo.

1938:19 a Ma 6:7; Zab 118:17; 119:175 b Ma 11:19Akyali omulamu,

y’akutendereza nga nze bwe nkola leero;

bakitaabwe b’abaana babategeeza

nga bw’oli omwesigwa ennyo.

2038:20 a Zab 68:25 b Zab 33:2 c Zab 116:2 d Zab 116:17-19Mukama alindokola,

kyetunaavanga tuyimba

ne tukuba n’ebivuga eby’enkoba ennaku zonna ez’obulamu bwaffe,

mu nnyumba ya Mukama.

21Isaaya yali agambye nti, “Baddire ekitole ky’ettiini bakisiige ku jjute, liwone.”

22Kubanga Keezeekiya yali abuuzizza nti, “Kabonero ki akalaga nga ndiwona ne ntuuka okulagako mu nnyumba ya Mukama?”