以赛亚书 3 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以赛亚书 3:1-26

对耶路撒冷和犹大的审判

1主——万军之耶和华要从耶路撒冷犹大拿去众人倚靠的一切:粮食、水、

2英雄、战士、审判官、先知、

占卜者、长老、

3五十夫长、显贵、谋士、巧匠和巫师。

4主必使少儿做他们的首领,

让孩童治理他们。

5百姓将彼此欺凌,

邻居互相争斗,

少年目无尊长,

卑贱者欺尊犯上。

6那时,人会拉住一位同族的弟兄说:

“你至少还有件像样的衣服,

你就做我们的首领吧,

这废墟之地就交给你了!”

7但那人必高声说:

“我救不了你们。

我家中无衣无食,

不要让我做首领。”

8耶路撒冷必崩溃,

犹大必败落,

因为他们的言行冒犯耶和华,

蔑视荣耀的主。

9他们的表情显出他们心术不正,

他们跟所多玛人一样对自己的罪恶津津乐道,

毫不隐瞒。

他们必大祸临头,自招毁灭。

10要告诉义人:他们有福了,

必得善报。

11恶人有祸了!他们必大祸临头,

受到报应。

12耶和华说:“我的子民啊!

孩童欺压你们,

妇女管辖你们。

你们的首领领你们入迷途,

带你们走歧路。”

13耶和华准备就绪,

要审判祂的子民。

14祂必审问祂子民中的长老和首领,对他们说:

“你们毁坏了我的葡萄园——我的子民,

家里堆满了从穷人那里掠夺的东西。

15你们为何压榨我的子民,

虐待贫穷人?”

这是主——万军之耶和华说的。

16耶和华又说:

锡安的女子狂傲,

昂首走路,卖弄媚眼,

俏步徐行,脚镯叮当。

17所以,我要使她们头上长疮,

露出头皮。”

18到那日,主必拿去她们美丽的脚镯、发饰、项链、 19耳环、手镯、面纱、 20头饰、脚链、彩带、香盒、护身符、 21戒指、鼻环、 22礼服、外袍、披肩、钱包、 23镜子、内衣、头巾和围巾。

24她们的香气将变成臭味,

腰带将变成绳子,

美发将变成秃头,

华服将变成麻衣,

美丽的容颜将布满羞辱的烙印。

25城中的男子将丧身刀下,

勇士将战死沙场。

26锡安的城门必悲伤、哀哭,

锡安必空空地坐在地上。

Luganda Contemporary Bible

Isaaya 3:1-26

Yerusaalemi ne Yuda Bisalirwa Omusango

13:1 a Lv 26:26 b Is 5:13; Ez 4:16Laba kaakano, Mukama,

Mukama Katonda ow’Eggye,

aggya ku Yerusaalemi ne ku Yuda

ekibeesiguza ne kwe banyweredde,

ekibeesiguza kyonna k’ebeere mmere, ka gabe mazzi.

23:2 a Ez 17:13 b 2Bk 24:14; Is 9:14-15Omusajja ow’amaanyi, n’omusajja omulwanyi omuzira,

omulamuzi, ne nnabbi,

n’omulaguzi, n’omukadde.

3Omuduumizi akulira ekibinja ky’amakumi ataano,

n’omuwi w’amagezi, omulogo, omufuusa omugezigezi.

4“Era ndifuula abalenzi obulenzi okuba abafuzi baabwe,

n’abaana obwana balibafuga.”

53:5 Is 9:19; Yer 9:8; Mi 7:2, 6Era abantu balijooga bannaabwe,

buli muntu anyigirize munne, ne muliraanwa anyigirize muliraanwa we.

Abato baliyisa mu bakulu amaaso

n’oyo omuntu ataliiko bw’ali ajooge omuntu ow’ekitiibwa.

6Ekiseera kirituuka

omusajja agambe muganda we nti,

“Ggwe alina ku ngoye ba omukulembeze waffe,

n’ebizibu bino ggwe oba obyetikka!”

73:7 Ez 34:4; Kos 5:13Naye ku olwo lwennyini aliddamu nti,

“Si nze n’aba ow’okubawonya,

mu nnyumba yange temuli mmere, wadde ebyambalo.

Temumpa kukulembera bantu!”

83:8 a Is 1:7 b Is 9:15, 17 c Zab 73:9, 11Kubanga Yerusaalemi kizikiridde

ne Yuda agudde!

Kubanga ebigambo byabwe byonna n’ebikolwa biwakanya Mukama Katonda,

bityoboola ekitiibwa kye.

93:9 a Lub 13:13 b Nge 8:36; Bar 6:23Engeri gye batunulamu eragira ddala nga bwe balina omusango,

era boolesa ekibi kyabwe nga Sodomu3:9 Sodomu ky’ekibuga ekiriraanye ekifo Lutti gye yassa eweema ye, bwe yali ayawukanye ne Ibulaamu, oluvannyuma eyayitibwa Ibulayimu. Mukama yasaanyaawo Sodomu ne Gomora n’omuliro ogwa salufa ogwava mu ggulu kubanga abatuuze baayo baayonoona nnyo eri Mukama (Lub 13:12)

awatali kukweka n’akatono.

Zibasanze!

Kubanga bo bennyini be beereeteedde okuzikirira.

103:10 a Ma 28:1-14 b Zab 128:2Gamba abatuukirivu nti bo tebaabeeko mutawaana,

kubanga baakuwoomerwa ebibala by’ebikolwa byabwe.

113:11 Ma 28:15-68Zisanze abakozi b’ebivve! Banaatuuka mu kuzikirira!

Balisasulibwa emikono gyabwe kye gikoze.

123:12 a nny 4 b Is 9:16Abantu bange banyigirizibwa abaana abato,

abakazi kaakano be babafuga.

Woowe! Abantu bange bakyamizibwa abakulembeze baabwe

era babatabulatabula okubaggya mu kkubo ettuufu.

133:13 Mi 6:2Mukama Katonda ali mu kifo kye mu mbuga,

ayimiridde okusalira abantu be omusango.

143:14 a Yob 22:4 b Yob 24:9; Yak 2:6Mukama Katonda asala omusango

gw’abakadde n’abakulembeze b’abantu be.

“Mmwe mwayonoona ennimiro yange ey’emizabbibu.

Ebyanyagibwa ku baavu biri mu nnyumba zammwe.

153:15 Zab 94:5Lwaki mulinnyirira abantu bange,

lwaki mutulugunya abaavu?” bw’ayogera Mukama Katonda Ayinzabyonna.

163:16 Lu 3:11Mukama Katonda agamba nti,

“Abakazi b’omu Sayuuni3:16 Sayuuni lusozi olusangibwa mu Yerusaalemi beemanyi,

era batambula balalambazza ensingo

nga batunuza bukaba.

Batambula basiira

nga bavuza obukomo bw’oku magulu gaabwe.

17Mukama kyaliva aleeta amabwa ku mitwe gy’abakazi ba Sayuuni,

ne gifuuka gya biwalaata.”

183:18 Bal 8:21Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 203:20 Kuv 39:28ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.

243:24 a Es 2:12 b Nge 31:24 c Is 22:12 d Kgb 2:10; Ez 27:30-31 e 1Pe 3:3Mu kifo ky’akaloosa walibaawo kuwunya kivundu,

awandibadde enkoba ennungi wabeewo biguwa,

n’awaali enviiri ennongoose obulungi wabeewo kiwalaata,

mu kifo ky’engoye babeere mu nziina,

n’awaali obulungi waddewo obulambe.

253:25 Is 1:20Abasajja bo balittibwa kitala,

abalwanyi bo abazira bagwire mu lutalo.

263:26 a Yer 14:2 b Kgb 2:10N’enzigi za Sayuuni zirikaaba ne zikungubaga

era ekibuga kyennyini kiriba ng’omukazi alekeddwa obwereere ng’atudde mu ttaka.