以西结书 44 – CCB & LCB

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

以西结书 44:1-31

君王,利未人和祭司

1那人又把我带到圣殿外院的东门,门关闭着。 2耶和华对我说:“这门必须关闭,不可打开。没有人能从这门进入,因为以色列的上帝耶和华已从这门进入,所以这门必须关闭。 3只有君王可以坐在里面,在耶和华面前进食。他要从门廊进入,也要从原路出去。”

4他带我从北门来到殿前,我看见耶和华的荣光充满了祂的殿,我就俯伏在地。 5耶和华对我说:“人子啊,你要认真看,仔细听我讲有关圣殿的一切规矩和法则,记住所有的出入口。 6然后告诉那些叛逆的以色列人,‘主耶和华这样说,以色列人啊,你们行可憎的事,该够了吧! 7你们献上食物、脂肪和血的同时,竟将那些身心未受割礼的外族人领进我的圣所,亵渎我的殿,破坏我的约,使你们罪上加罪。 8你们自己不管理我的圣物,却把我的圣所给外人治理。

9“‘因此,主耶和华说,以色列人中身心未受割礼的外族人不可进入我的圣所。

10“‘以色列人走入歧途时,有些利未人也远离我、追随偶像,他们必须承担自己犯罪的后果。 11然而,他们仍要在我的圣殿供职,看管殿门,为百姓屠宰燔祭牲和其他祭牲,服侍他们。 12因为利未人带动以色列人拜偶像,使以色列人陷入罪中,所以我起誓,他们必承担自己犯罪的后果。这是主耶和华说的。 13他们不得走近我,不可做我的祭司,也不得走近我的圣物或至圣之物,他们必因自己的可憎行径蒙羞。 14然而,我要委派他们管理圣殿,办理殿中所有的事务。

15“‘以色列人走入歧途时,利未撒督的子孙仍然在我的圣所尽忠职守,因此他们可以接近我、事奉我,侍立在我面前,献上脂肪和祭牲的血。这是主耶和华说的。 16只有他们可以进入我的圣所,在我的桌前事奉我,遵行我的吩咐。 17他们从内院的门进入殿内供职的时候,要穿细麻布衣服,不可穿羊毛衣服。 18他们要戴细麻布头巾,穿细麻布裤子,不可穿使人容易出汗的衣服。 19他们出去外院见百姓的时候,必须脱下供职时穿的衣服,放在圣屋,穿上普通的衣服后再出去,免得通过圣衣把圣洁带到百姓身上。 20他们不可剃光头,也不可留长头发,只可修剪头发。 21祭司进入内院之前,不可喝酒。 22他们不可娶寡妇或被休的妇女为妻,只能娶以色列的处女或祭司的遗孀。 23他们要教导我的子民辨别圣与俗,洁净与不洁净。 24他们要审理诉讼之事,按我的律例断是非。他们必须按我定的律例和法度遵守一切节期,守安息日为圣日。 25他们不可走近死尸,免得玷污自己,除非死者是自己的父母、子女、弟兄或未出嫁的姊妹。 26祭司得到洁净后,要再等七天。 27他进入内院的圣所事奉时,要为自己献上赎罪祭,这是主耶和华说的。

28“‘祭司不可在以色列拥有自己的产业,因为我就是他们的产业。 29他们的食物是以色列人献上的素祭、赎罪祭和赎过祭。凡献给耶和华的都归他们, 30各种初熟的出产和各种供物都应归给祭司。你们将初熟的麦子磨成面给祭司,福气就必临到你们的家。 31无论是自然死亡的,还是被其他野兽咬死的禽兽,祭司都不可吃。

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 44:1-31

Omulangira, Abaleevi Ne Bakabona

144:1 Ez 43:1Awo omusajja n’ankomyawo ku mulyango ogw’ebweru ogw’Awatukuvu ogutunuulira obuvanjuba; gwali muggale. 244:2 Ez 43:4-5Mukama n’aŋŋamba nti, “Omulyango guno gwa kusigalanga nga muggale. Teguteekwa kugulwanga newaakubadde omuntu yenna okuguyitangamu. Gwa kusigalanga nga muggale kubanga Mukama, Katonda wa Isirayiri yaguyitamu. 344:3 a Kuv 24:9-11 b Ez 46:2, 8Omulangira yennyini, ye yekka anaatulanga mu mulyango n’aliira mu maaso ga Mukama, era nnaayingiranga ng’ayita mu kkubo ery’ekisasi eky’omulyango, ne mu kkubo eryo mw’anaafulumiranga.”

444:4 a Is 6:4; Kub 15:8 b Ez 1:28; 3:23Awo omusajja n’ankulembera ne tuyita mu kkubo ery’omulyango ogw’Obukiikakkono n’antwala mu maaso ga yeekaalu. Ne ntunula ne ndaba ekitiibwa kya Mukama nga kijjudde yeekaalu ya Mukama, ne nvuunama.

544:5 Ez 40:4; 43:10-11Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, tunula weetegereze, owulirize bulungi era osseeyo omwoyo eri buli kye n’akugamba ku biragiro ebikwata ku nzirukanya ya yeekaalu ya Mukama. Tunula weetegereze bulungi awayingirirwa mu yeekaalu n’awafulumirwa wonna aw’Awatukuvu. 644:6 Ez 3:9Tegeeza ennyumba ya Isirayiri enjeemu nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; ebikolwa byammwe eby’emizizo bikome, mmwe ennyumba ya Isirayiri.’ 744:7 a Lv 26:41 b Lub 17:14; Kuv 12:48; Lv 22:25Ate n’okwogera ku ebyo ebikolwa byammwe eby’emizizo byonna, mukkiriza bannaggwanga, abatali bakomole mu mutima newaakubadde omubiri okuyingira Awatukuvu wange, ne boonoona eyeekaalu yange nga mmwe bwe mumpeerayo emmere, amasavu n’omusaayi ne mumenya endagaano yange. 844:8 Lv 22:2; Kbl 18:7Mu kifo eky’okukola ebibagwanira ng’ebintu byange ebitukuvu bwe biri, abalala bannaggwanga be mwakwasa okuvunaanyizibwa empya zange. 944:9 Yo 3:17; Zek 14:21Kale Mukama Katonda kyava ayogera nti, Tewaliba munnaggwanga n’omu atali mukomole mu mutima newaakubadde omubiri aliyingira mu Watukuvu wange, newaakubadde bannaggwanga ababeera mu Bayisirayiri wakati.

1044:10 a 2Bk 23:8 b Kbl 18:23“ ‘Naye Abaleevi abanvaako, Isirayiri bwe yakyama, ne bagoberera bakatonda abalala, balibonerezebwa. 1144:11 a 2By 29:34 b Kbl 3:5-37; 16:9; 1By 26:12-19Baliba baweereza mu watukuvu wange, nga balabirira emiryango gya yeekaalu, era ng’omwo mwe baweerereza; banattiranga abantu ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka, era banabaweerezanga. 1244:12 a Zab 106:26 b 2Bk 16:10-16Naye kubanga baabaweerereza mu maaso ga bakatonda abalala, ne baleetera ennyumba ya Isirayiri okugwa mu kibi, kyendiva mbalayirira okubabonereza olw’ekibi kyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda. 1344:13 a Ez 16:61 b Kbl 18:3Tebalinsemberera kumpeereza nga bakabona newaakubadde okusemberera ekintu kyonna ku bintu byange ebitukuvu, oba ebiweebwayo byange ebitukuvu ennyo; kubanga baakola ebiswaza n’eby’ekivve. 1444:14 Kbl 18:4; 1By 23:28-32Naye ndibalonda okuvunaanyizibwa emirimu gya yeekaalu, n’eby’okukola byonna ebiteekwa okukolebwa mu yo.

1544:15 Yer 33:18; Ez 40:46; Zek 3:7“ ‘Naye bakabona Abaleevi ne bazzukulu ba Zadooki, abavunaanyizibwa emirimu mu watukuvu wange n’obwesigwa, ng’abaana ba Isirayiri banjeemedde, balisembera okumpi nange ne bampeereza, era be baliyimirira mu maaso gange okuwangayo gye ndi amasavu n’omusaayi, bw’ayogera Mukama Katonda. 1644:16 a Ez 41:22 b Kbl 18:5Abo bokka be banaayingiranga mu watukuvu wange, era be banaasemberanga okumpi n’emmeeza yange okumpeerezanga, n’okukuumanga ebyo bye mbalagira.

1744:17 Kuv 39:27-28; Kub 19:8“ ‘Bwe banaayingiranga mu miryango egy’oluggya olw’omunda banaayambalanga ebyambalo ebya linena; tebateekwa kwambalanga byambalo bya byoya by’endiga, nga baweerereza mu miryango egy’oluggya olw’omunda ne munda wa yeekaalu. 1844:18 a Kuv 28:39; Is 3:20 b Kuv 28:42 c Lv 16:4Baneesibanga ebitambala ku mutwe nga bya linena, n’engoye ez’omunda nga za linena. Tebateekwa kwambalanga kintu n’ekimu ekibatuuyanya. 1944:19 a Lv 6:27; Ez 46:20 b Lv 6:10-11; Ez 42:14Bwe banaabanga bafuluma nga balaga mu luggya olw’ebweru eri abantu, banaayambulangamu ebyambalo byabwe bye baweererezaamu, ne babitereka mu bisenge ebyatukuzibwa, ne bambala engoye endala balemenga okutukuza abantu n’ebyambalo byabwe.

2044:20 Lv 21:5; Kbl 6:5“ ‘Tebateekwa kumwa mitwe gyabwe newaakubadde okuleka enviiri zaabwe okukula ennyo, naye banaazisalangako ne zisigala nga nto. 2144:21 Lv 10:9Tewabanga kabona n’omu anywa nvinnyo ng’ayingidde mu luggya olw’omunda. 2244:22 Lv 21:7Tebateekeddwa kuwasa bannamwandu newaakubadde eyanoba, naye banaawasanga abawala embeerera nga ba lulyo lwa Isirayiri oba nga bannamwandu ba bakabona. 2344:23 a Ez 22:26 b Mal 2:7Banaayigirizanga abantu bange enjawulo wakati w’ekitukuvu n’ekitali kitukuvu, era nga babalaga enjawulo wakati w’ekirongoofu n’ekitali kirongoofu.

2444:24 a Ma 17:8-9; 1By 23:4 b 2By 19:8“ ‘Bwe wanaabangawo enkaayana, bakabona be banaabanga abalamuzi, okusalawo ng’ebiragiro byange bwe biri. Banaakumanga amateeka gange n’ebiragiro byange ku mbaga zange zonna ezaalagirwa, era banaakumanga Ssabbiiti zange nga ntukuvu.

2544:25 Lv 21:1-4“ ‘Kabona taasembererenga mulambo aleme okweyonoonyesa, naye kitaawe bw’anaabanga y’afudde, oba nnyina, oba mutabani we oba muwala we, oba muganda we, oba mwannyina atafumbirwangako, kale aneeyonoonesanga. 2644:26 Kbl 19:14Oluvannyuma olw’okwetukuza, anaalindanga ennaku musanvu ziyite. 27Awo ku lunaku lw’anaalaganga mu luggya olw’omunda olwa watukuvu okuweereza mu watukuvu, aneweerangayo ekiweebwayo olw’ekibi, bw’ayogera Mukama Katonda.

2844:28 Kbl 18:20; Ma 10:9; 18:1-2; Yos 13:33“ ‘Nze nnaabanga omugabo gwa bakabona. Temuubawenga mugabo na gumu mu Isirayiri; nze mugabo gwabwe. 2944:29 a Lv 27:21 b Kbl 18:9, 14Banaalyanga ebiweebwayo eby’obutta, n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, ne buli kintu mu Isirayiri ekiwonge eri Mukama kinaabanga kyabwe. 3044:30 a Kbl 18:12-13 b Kbl 15:18-21 c Mal 3:10 d Nek 10:35-37Ebisinga obulungi ku bibala byonna ebisooka ebya buli kika n’ebirabo byonna eby’omuwendo binaabanga bya bakabona. Munaabawanga obutta bwammwe obwasooka okugoyebwa, omukisa gubeerenga ku nnyumba zammwe. 3144:31 Kuv 22:31; Lv 22:8Bakabona tebaalyenga kintu na kimu, oba nnyonyi oba nsolo, ebisangiddwa nga bifu olumbe lwabyo nga byataagulwa nsolo.