4 Царств 5 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

4 Царств 5:1-27

Исцеление Наамана от проказы

1Нааман был военачальником царя Сирии. Он был великим и уважаемым человеком в глазах своего господина, потому что через него Вечный даровал Сирии победу. Он был доблестным воином, но болел проказой5:1 На языке оригинала здесь и далее в этой книге стоит слово, которое обозначает несколько разных кожных болезней, а не только проказу.. 2А отряды сирийцев во время одного из набегов взяли в Исроиле в плен маленькую девочку, и она служила жене Наамана. 3Она сказала госпоже:

– Если бы только моему господину повидать пророка, который в Сомарии! Он исцелил бы его от болезни.

4Нааман пошёл к господину и передал ему то, что сказала девочка из Исроила.

5– Конечно иди, – ответил царь Сирии. – Я напишу письмо царю Исроила.

И Нааман пошёл, взяв с собой триста шестьдесят килограммов серебра, семьдесят два килограмма5:5 Букв.: «десять талантов… шесть тысяч шекелей». золота и десять смен одежды. 6В письме, которое он принёс царю Исроила, говорилось: «Когда ты получишь это письмо, знай, что я послал к тебе моего слугу Наамана, чтобы ты вылечил его от проказы».

7Когда царь Исроила прочитал это письмо, он разорвал на себе одежду и сказал:

– Разве я Всевышний, чтобы умерщвлять и оживлять? Почему он посылает ко мне, чтобы я исцелил от проказы? Смотрите, он пытается затеять со мной ссору!

8Когда пророк Елисей услышал о том, что царь Исроила разорвал на себе одежду, он послал сказать ему:

– Почему ты разорвал на себе одежду? Пошли этого человека ко мне, и он узнает, что есть пророк в Исроиле.

9Нааман пришёл с конями и колесницами и остановился у двери дома Елисея. 10Елисей отправил посланца сказать ему:

– Пойди, омойся семь раз в Иордане, твоё тело исцелится, и ты станешь чист.

11Но Нааман разгневался и ушёл, говоря:

– Я думал, что он непременно выйдет ко мне, встанет, призовёт имя Вечного, своего Бога, поводит рукой над больным местом и исцелит меня от проказы. 12Разве Авана и Фарфар, реки Дамаска, не лучше всех вод Исроила? Разве я не мог омыться в них, чтобы очиститься?

Он повернулся и в гневе ушёл. 13Слуги Наамана подошли к нему и сказали:

– Отец, если бы пророк сказал тебе сделать нечто великое, разве бы ты этого не сделал? А он лишь сказал тебе: «Омойся и будешь чист».

14Тогда он пошёл и семь раз окунулся в Иордане, как сказал ему пророк, – и его тело исцелилось и стало чистым, как у младенца. 15Нааман со слугами вернулся к пророку. Он встал перед ним и сказал:

– Теперь я знаю, что во всём мире нет Бога, кроме как в Исроиле. А теперь, прошу, прими от твоего раба подарок.

16Пророк ответил:

– Верно, как и то, что жив Вечный, Которому я служу, – я ничего не приму.

И хотя Нааман уговаривал его, он отказался.

17– Если ты не желаешь, – сказал Нааман, – то прошу тебя, пусть твоему рабу дадут столько земли5:17 Большинство неисроильтян верило, что божеству можно поклоняться только на земле, принадлежащей этому божеству, или же соорудив ему жертвенник из этой земли., сколько сможет увезти пара мулов, потому что твой раб никогда больше не будет приносить всесожжения и жертвы никакому богу, кроме Вечного. 18Пусть только Вечный простит твоего раба за одно: когда мой господин входит в храм Риммона5:18 Риммон – сирийский бог-громовержец., чтобы поклониться там, и опирается на мою руку, я кланяюсь тоже. Когда я буду кланяться в храме Риммона, пусть Вечный простит за это твоего раба.

19– Иди с миром, – сказал Елисей.

Гехази наказан проказой

Когда Нааман уже отошёл на некоторое расстояние, 20Гехази, слуга пророка Елисея, сказал себе: «Мой господин отпустил этого сирийца Наамана слишком легко, не взяв у него никаких даров. Верно, как и то, что жив Вечный, – я побегу за ним и возьму у него что-нибудь». 21И Гехази помчался за Нааманом. Когда Нааман увидел, как он бежит к нему, он слез с колесницы, чтобы встретить его.

– Всё ли благополучно? – спросил он.

22– Всё благополучно, – ответил Гехази. – Просто мой господин послал меня сказать: «Два молодых ученика пророков пришли ко мне из нагорий Ефраима. Прошу тебя, дай им тридцать шесть килограммов5:22 Букв.: «один талант». серебра и две смены одежды».

23– Конечно! Бери семьдесят два килограмма5:23 Букв.: «два таланта»., – сказал Нааман.

Он уговорил Гехази взять семьдесят два килограмма серебра в двух мешках, вместе с двумя сменами одежды. Он отдал их двум слугам, и они понесли их перед Гехази. 24Когда Гехази пришёл на холм, он взял это у слуг и положил у себя дома. Он отпустил людей, и они ушли. 25После этого он вошёл и встал перед своим господином Елисеем.

– Где ты был, Гехази? – спросил Елисей.

– Твой раб никуда не ходил, – ответил Гехази.

26Но Елисей сказал ему:

– Разве не был с тобой мой дух, когда Нааман слез с колесницы, чтобы встретить тебя? Время ли брать деньги или принимать одежды, масличные рощи, виноградники, отары, стада, слуг или служанок? 27Так пусть проказа Наамана пристанет к тебе и твоим потомкам навеки.

И когда Гехази вышел от Елисея, он был бел от проказы, как снег.

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 5:1-27

Naamani Awonyezebwa Ebigenge

15:1 a Lub 10:22; 2Sa 10:19 b Kuv 4:6; Kbl 12:10; Luk 4:27Awo waaliwo omusajja erinnya lye nga ye Naamani eyali omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Busuuli5:1 Kabaka oyo ye yali Benikadadi II., nga musajja wa maanyi mu maaso ga mukama we, era ng’ayagalibwa nnyo, kubanga Mukama yali awadde Busuuli obuwanguzi ku lulwe. Yali muserikale muzira ddala; naye nga mugenge.

25:2 2Bk 6:23; 13:20; 24:2Awo mu biro ebyo Abasuuli ne balumba Isirayiri, ne bawamba omuwala omuto okuva mu Isirayiri, n’aweerezanga mukazi wa Naamani. 35:3 Lub 20:7Omuwala n’agamba mugole we nti, “Singa mukama wange Naamani agenda n’alaba nnabbi ali mu Samaliya, nnabbi oyo yandiyinzizza okumuwonya ebigenge bye.”

4Awo Naamani n’agenda n’ategeeza mukama we ebigambo by’omuwala eyava mu Isirayiri. 55:5 nny 22; Lub 24:53; Bal 14:12; 1Sa 9:7Kabaka wa Busuuli n’amuddamu nti, “Genda kaakano, era ogende n’ebbaluwa gye nnaawandiikira kabaka wa Isirayiri5:5 Kabaka wa Isirayiri ayogerwako wano ye Yolaamu..” Awo Naamani n’asitula, n’atwala kilo bisatu mu ana eza ffeeza, ne kilo nsanvu eza zaabu, n’ebika by’engoye eby’enjawulo kkumi. 6Era n’atwalira kabaka wa Isirayiri ebbaluwa, ng’egamba nti, “Nkuweerezza ebbaluwa eno n’omuweereza wange Naamani omuwonye ebigenge bye.” 75:7 a 2Bk 19:14 b Lub 30:2 c Ma 32:39; 1Sa 2:6 d 1Bk 20:7Kabaka wa Isirayiri olwasoma ebbaluwa, n’ayuza ebyambalo bye, n’ayogera nti, “Ndi Katonda, atta era awonya, omusajja ono alyoke ampeereze omusajja we mmuwonye ebigenge bye? Mulaba bw’ansosonkerezaako oluyombo?” 85:8 1Bk 22:7Erisa omusajja wa Katonda bwe yawulira nti kabaka wa Isirayiri ayuzizza ebyambalo bye, n’amutumira ng’agamba nti, “Lwaki oyuzizza ebyambalo byo? Nsindikira omusajja, alyoke ategeere nga mu Isirayiri mulimu nnabbi.”

9Awo Naamani n’asitula n’embalaasi ze n’amagaali ge n’ayimirira ku luggi lw’ennyumba ya Erisa. 105:10 a Yk 9:7 b Lub 33:3; Lv 14:7Erisa n’atuma omubaka okumugamba nti, “Genda, onaabe mu Yoludaani emirundi musanvu, onoowonyezebwa, omubiri gwo ne gudda buto.”

115:11 Kuv 7:19Naye Naamani n’anyiiga, n’agenda nga yeemulugunya nti, “Ndowoozezza nti anaavaayo n’ajja, n’ayimirira n’akoowoola erinnya lya Mukama Katonda we, n’awuba omukono gwe ku bitundu ebirina ebigenge, n’amponya. 125:12 a Is 8:6 b Nge 14:17, 29; 19:11; 29:11Abana ne Faafa, emigga gy’e Damasiko tegisinga amazzi gonna ag’omu Isirayiri? Lwaki sinaabira mu gyo ne mponyezebwa?” N’akyuka n’agenda ng’ajjudde obusungu bungi.

135:13 2Bk 6:21; 13:14Naye abaddu ba Naamani ne bamusemberera, ne bamugamba nti, “Kitaffe, singa nnabbi yakulagidde okukola ekyobuzira, tewandikikoze? Lwaki kikukaluubiridde bw’akugambye nti, ‘Nnaaba obe mulongoofu?’ ” 145:14 a Lub 33:3; Lv 14:7; Yos 6:15 b Kuv 4:7 c Yob 33:25; Luk 4:27N’aserengeta n’agenda ne yebbika mu Yoludaani emirundi musanvu, ng’omusajja wa Katonda bwe yamulagira, n’aba mulongoofu, omubiri gwe ne guba ng’ogw’omwana omuto.

Erisa Agaana Ekirabo ky’Aweereddwa

155:15 a Yos 2:11 b Yos 4:24; 1Sa 17:46; Dan 2:47 c 1Sa 9:7; 25:27Awo Naamani n’ekibinja kye ne baddayo eri omusajja wa Katonda. N’agenda n’ayimirira mu maaso ge, n’ayogera nti, “Kaakano ntegeeredde ddala nga teri Katonda mu nsi endala zonna wabula mu Isirayiri. Noolwekyo kkiriza ekirabo okuva eri omuddu wo.” 165:16 nny 20, 26; Lub 14:23; Dan 5:17Nnabbi n’amuddamu nti, “Mazima ddala, nga Mukama gwe mpeereza bw’ali omulamu, siitwale kintu na kimu.” Naamani n’agezaako okumuwaliriza, naye ye n’agaana. 175:17 Kuv 20:24Naamani n’amugamba nti, “Bwe kitaabe bwe kityo, nkwegayiridde omuddu wo aweebwe ettaka eriyinza okusitulibwa ennyumbu bbiri, kubanga omuddu wo taliddayo nate okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka eri katonda omulala yenna wabula eri Mukama. 185:18 2Bk 7:2Era ne mu nsonga eno Mukama asaasire omuddu wo; mukama wange bw’anayingira mu ssabo lya Limoni okusinza, ne yeesigama omukono gwange, ne nvuunamira eyo mu ssabo lya Limoni, Mukama asonyiwe omuddu we olw’ensonga eyo.” 195:19 1Sa 1:17; Bik 15:33Erisa n’amuddamu nti, “Genda mirembe.”

Omululu gwa Gekazi n’Ekibonerezo kye

Naye Naamani bwe yali yakagendako ebbanga ttono, 205:20 Kuv 20:7Gekazi omuweereza wa Erisa omusajja wa Katonda, n’alowooza mu mutima gwe nti, “Laba mukama wange bw’asaasidde Naamani ono Omusuuli, n’atakkiriza kirabo kimuweerebbwa. Mazima ddala, nga Mukama bw’ali omulamu nzija kumugoberera, mbeeko kye muggyako.”

21Amangwago, Gekazi n’agoberera Naamani. Naamani bwe yamulengera ng’ajja adduka, n’ava mu gaali lye okumusisinkana, n’amubuuza nti, “Byonna biri bulungi?” 225:22 nny 5; Lub 45:22N’amuddamu nti, “Byonna biri bulungi, naye mukama wange antumye okukutegeeza nti, ‘Wabaddewo bannabbi abavubuka babiri abazze gy’ali okuva mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, era akusabye obaweeko kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri.’ ”

23Naamani n’amugamba nti, “Tewali kikugaana kutwala kilo nkaaga munaana.” N’awaliriza Gekazi, n’amusibirako kilo bbiri eza ffeeza mu nsawo bbiri, n’ebika by’engoye bya mirundi ebiri, Naamani n’abitikka abaddu be babiri, abaabyetikka nga bakulembeddemu Gekazi. 24Gekazi bwe yatuuka ku lusozi, n’abibaggyako, n’abiteeka mu nnyumba ye, n’abasindika bagende. 25N’ayingira n’ayimirira mu maaso ga Erisa mukama we. Erisa n’amubuuza nti, “Ova wa Gekazi?” Gekazi n’addamu nti, “Omuddu wo taliiko gy’agenze.” 265:26 a nny 16 b Yer 45:5Naye Erisa n’amugamba nti, “Ssaagenze naawe mu mwoyo, omusajja bwe yavudde mu ggaali lye okukusisinkana? Kino ky’ekiseera eky’okutwala ensimbi, oba engoye, oba ennimiro ez’emizeeyituuni, oba ez’emizabbibu, oba endiga, oba ente, oba abaddu, oba abaweereza abawala? 275:27 a Kbl 12:10; 2Bk 15:5 b Bak 3:5 c Kuv 4:65:27 2Bk 24:12; Yer 52:31-34Noolwekyo ebigenge bya Naamani binaakuberangako gwe ne bazzukulu bo emirembe gyonna.” Awo Gekazi n’ava mu maaso ga Erisa nga mugenge, atukula ng’omuzira.