1 Тиметею 4 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

1 Тиметею 4:1-16

Наставления Тиметею

1Дух Всевышнего ясно говорит о том, что в последние времена некоторые оставят веру, будут следовать духам лжи и учениям демонов. 2Такие учения придут через лицемерие бессовестных лжецов4:2 Букв.: «лжецов с совестью, клеймённой калёным железом»., 3которые запрещают людям жениться, запрещают употреблять те или иные виды пищи, созданной Всевышним для того, чтобы верующие и знающие истину ели с благодарностью. 4Всё сотворённое Всевышним хорошо, и всё, что принимается с благодарностью, не должно отвергаться, 5потому что оно освящается словом Всевышнего и молитвой.

6Если ты, Тиметей, будешь говорить об этом братьям, то будешь хорошим служителем Исо Масеха, питаемым словами веры и здравого учения, которому ты последовал. 7Не трать время на безбожные россказни, пристойные разве что старухам, а развивай в себе благочестие. 8Есть определённая польза в физических упражнениях, но благочестие полезно во всём, ведь оно обещает жизнь и в настоящем, и в будущем.

9Это слово правильно и достоверно. 10Ради этого мы и трудимся, и ведём борьбу, потому что надеемся на живого Бога, Спасителя всех людей, а особенно тех, кто верен Ему.

11Этого требуй от людей и этому учи их. 12Не позволяй никому смотреть на тебя с пренебрежением из-за твоей молодости. Будь для последователей Исо Масеха примером в словах, в жизни, любви, вере и чистоте. 13Пока я не приду, занимайся чтением Писания вслух перед общиной, проповедью, учительством. 14Не пренебрегай даром, который был дан тебе через пророчество с возложением рук старейшин. 15Будь усерден во всём этом, посвяти себя этому, чтобы все видели твой успех. 16Следи за собой и за тем, чему ты учишь. Будь верен этому учению, и если ты так будешь поступать, то спасёшь и себя, и тех, кто слушает тебя.

Luganda Contemporary Bible

1 Timoseewo 4:1-16

Abayigiriza ab’Obulimba

14:1 a Yk 16:13 b 2Ti 3:1 c 2Bs 2:3Mwoyo Mutukuvu ayogera lwatu nti mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bagoberera emyoyo egiwubisa, n’enjigiriza ya baddayimooni, 24:2 Bef 4:19nga bawubisibwa obukuusa bw’abantu abalimba, ab’emitima egiri ng’egyasiriizibwa ekyuma ekyengeredde. 34:3 a Beb 13:4 b Bak 2:16 c Lub 1:29 d Bar 14:6Abo be baziyiza abantu okufumbiriganwa, era abagaana okulya ebyokulya ebimu Katonda bye yawa abakkiriza era abamanyi amazima, okubiryanga nga bamwebaza. 44:4 Bar 14:14-18Kubanga buli kitonde kya Katonda kyonna kirungi, era tekizira, kasita kiriirwa mu kwebaza, 5kubanga kitukuzibwa na kigambo kya Katonda, n’okukisabira.

Omuweereza Omulungi owa Kristo Yesu

64:6 1Ti 1:10Bw’onootuusa ebigambo ebyo ku booluganda, onooba muweereza mulungi owa Kristo Yesu, ng’oliisibwa n’ebigambo eby’okukkiriza, n’enjigiriza ennungi gye wagoberera. 74:7 2Ti 2:16Naye enfumo ezitaliimu, ezitasaana kunyumizibwa, zeewalenga. Weemanyiizenga okutya Katonda. 84:8 a 1Ti 6:6 b Zab 37:9, 11; Mak 10:29, 30Kubanga okumanyiiza omubiri kigasa katono, naye okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kuleeta essuubi ery’omu bulamu buno era n’ery’obwo obugenda okujja. 94:9 1Ti 1:15Ekigambo ekyo kyesigwa era kisaana okukkiririza ddala. 10Era kyetuva tutegana ne tufuba, kubanga essuubi lyaffe liri mu Katonda omulamu, Omulokozi w’abantu bonna, na ddala abakkiriza.

114:11 1Ti 5:7; 6:2Lagiranga ebyo, era obiyigirizenga. 124:12 a Tit 2:7; 1Pe 5:3 b 1Ti 1:14Waleme kubaawo muntu n’omu akunyooma olw’obuvubuka bwo, naye mu kwogera ne mu bikolwa, ne mu kwagala, ne mu kukkiriza, ne mu bulongoofu beeranga kyakulabirako eri abakkiriza. 13Nyiikiranga okusomera abantu Ebyawandiikibwa mu lwatu n’okubuuliriranga, n’okuyigiriza okutuusa lwe ndijja. 144:14 a 1Ti 1:18 b Bik 6:6; 2Ti 1:6Togayaaliriranga ekirabo ekiri mu ggwe, kye waweebwa mu bunnabbi abakadde bwe baakussaako emikono gyabwe.

15Ebyo biteeke mu nkola, era bissengako omwoyo, bonna balyoke balabe bwe weeyongera okukola obulungi. 16Weekuumenga mu mpisa zo, ne mu by’oyigiriza era obinywerereko. Bw’onookola bw’otyo olyerokola ggwe wennyini, era n’abo abakuwulira.