Иешуа 8 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Иешуа 8:1-35

Взятие и разрушение Гая

1Вечный сказал Иешуа:

– Не бойся и не теряй присутствия духа. Возьми с собой всё своё войско, иди и напади на Гай. Ведь я отдал в твои руки царя Гая, его народ, его город и его землю. 2Сделай с Гаем и его царём то же, что ты сделал с Иерихоном и его царём, разве что добычу и скот вы можете взять себе. Сделай засаду позади города.

3Иешуа со всем войском пошёл на Гай. Он отобрал тридцать тысяч лучших воинов и отослал их ночью, 4приказав:

– Слушайте внимательно! Вы должны устроить засаду позади города. Не отходите от него слишком далеко. Все будьте наготове. 5Я и все, кто со мной, подойдём к городу, и когда они выйдут против нас, как и раньше, мы побежим от них. 6Они будут преследовать нас, и так мы отвлечём их от города. Они скажут: «Они бегут от нас, как и раньше». Поэтому, когда мы побежим от них, 7выйдите из засады и завладейте городом. Вечный, ваш Бог, отдаст его в ваши руки. 8Когда вы захватите город, подожгите его. Исполните всё, что повелел Вечный. Это мой приказ вам!

9Иешуа отослал их, и они, отправившись на место засады, засели между Вефилем и Гаем, к западу от Гая, а Иешуа провёл ту ночь с народом.

10Наутро Иешуа встал рано, осмотрел народ и вместе со старейшинами Исроила пошёл впереди народа к Гаю. 11Все воины, которые были с ним, приблизились к городу и остановились. Они разбили лагерь к северу от Гая, а от города их отделяла долина. 12(Иешуа взял около пяти тысяч человек и посадил их в засаду между Вефилем и Гаем, к западу от города. 13Его войско расположилось так, что основной стан был к северу от города, а засада – к западу.)

Той ночью Иешуа вошёл в долину. 14Когда царь Гая увидел это, он и все люди города поспешили рано утром выйти на назначенное место перед Иорданской долиной, чтобы сразиться с Исроилом. Но он не знал, что против него позади города была поставлена засада. 15Иешуа и весь Исроил, притворившись будто они разбиты людьми Гая, побежали к пустыне. 16А те позвали весь народ, который был в городе, в погоню и, преследуя Иешуа, отдалились от города. 17Ни в Гае, ни в Вефиле не осталось ни одного воина, который не погнался бы вслед за Исроилом. Они пустились в погоню за Исроилом, не заперев городских ворот.

18Тогда Вечный сказал Иешуа:

– Протяни к Гаю копьё, что у тебя в руке, Я отдам город в твои руки.

И Иешуа протянул своё копьё к Гаю. 19Как только он сделал это, люди в засаде немедленно поднялись со своего места и ринулись вперёд. Они вошли в город, взяли его и тотчас же подожгли. 20Воины Гая оглянулись и увидели, как дым от города поднимается к небу, но не могли никуда бежать, потому что исроильтяне, которые бежали к пустыне, обратились на своих преследователей. 21Ведь когда Иешуа и весь Исроил увидели, что засада захватила город и из него поднимается дым, они повернули назад и атаковали людей Гая. 22Люди из засады также вышли против них из города, так что они оказались зажатыми с обеих сторон исроильтянами. Исроил разил их, не оставляя ни одного из них в живых, ни уцелевших, ни убежавших. 23Но царя Гая они взяли живым и привели его к Иешуа.

24Когда Исроил закончил убивать всех жителей Гая в полях и в пустыне, куда они их загнали, и когда каждый из них был предан мечу, все исроильтяне вернулись в Гай и перебили тех, кто оставался в нём. 25В тот день пало двенадцать тысяч мужчин и женщин – всё население Гая. 26Иешуа не опускал руку с копьём, пока полностью не истребил всех жителей Гая. 27Исроильтяне взяли себе лишь скот и добычу из этого города, как Вечный повелел Иешуа.

28Иешуа сжёг Гай и навеки сделал его грудой развалин, опустошённым местом и до сегодняшнего дня. 29Он повесил царя Гая на дереве и оставил его висеть там до вечера. На закате Иешуа приказал, и тело царя сняли с дерева и бросили у входа перед городскими воротами. Люди набросали над ним большую груду камней, которая возвышается там и до сих пор.

Обновление священного соглашения на горе Гевал

30Иешуа построил на горе Гевал жертвенник Вечному, Богу Исроила, 31как велел исроильтянам Мусо, раб Вечного. Он построил его в соответствии с написанным в книге Закона, переданного через Мусо, – жертвенник из нетёсаных камней, которые не обрабатывали никаким железным орудием. На нём исроильтяне принесли Вечному жертвы всесожжения и жертвы примирения. 32Там, в присутствии исроильтян, Иешуа переписал на камни Закон Мусо. 33Весь Исроил – и чужеземцы, и уроженцы страны, со своими старейшинами, вождями и судьями, – стоял по обе стороны от сундука соглашения с Вечным напротив священнослужителей-левитов, нёсших его. Одна половина народа стояла напротив горы Геризим, а другая половина – напротив горы Гевал, как велел прежде Мусо, раб Вечного, когда давал наставления как благословлять народ Исроила.

34Потом Иешуа прочитал все слова Закона – благословения и проклятия – точно так, как записаны они в книге Закона. 35Из всего, что велел Мусо, не было ни одного слова, которое Иешуа не прочитал бы всему собранию Исроила, включая женщин, детей и чужеземцев, которые жили среди них.

Luganda Contemporary Bible

Yoswa 8:1-35

Enteekateeka y’okufufuggaza ekibuga Ayi

18:1 a Ma 31:6 b Ma 1:21; 7:18; Yos 1:9 c Yos 10:7 d Yos 6:2Mukama n’agamba Yoswa nti, “Totya era tokeŋŋentererwa, ddira abasajja bonna abalwanyi mulumbe ekibuga Ayi kubanga mbawadde obuwanguzi ku kyo. Kabaka, n’abantu be, ne byonna ebiri mu kibuga Ayi mbibawadde. 28:2 nny 27; Ma 20:14Ayi ne kabaka waakyo mu bayise nga bwe mwakola Yeriko, omunyago gwonna okuva mu Ayi ngubawadde. Mwekukume muteegere emabega w’ekibuga.”

3Yoswa n’asituka n’eggye lyonna okulumba Ayi, n’alondamu abasajja abalwanyi abazira nnamige emitwalo esatu n’abasindika kiro okulumba Ayi. 4N’abakuutira nti, “Mugende mwekukume kumpi n’ekibuga era muteegere abantu baamu emabega waakyo. Temugenda wala nakyo mwenna mube beetegefu. 5Nze n’abalwanyi abalala tujja kwolekera ekibuga, bwe banaatufubutula ng’olulala, tujja kuddukira ddala 6tubatwalirize ewala okuva ku kibuga, tubalowoozese nti, tubadduse. Ffe tujja kuddukira ddala tubabuleko. 78:7 Bal 7:7; 1Sa 23:4Olwo mulyoke mufubutuke gye mwekwese, muwambe ekibuga kubanga Mukama ajja kukibawa mukiwangule. 88:8 a Bal 20:29-38 b nny 19Kasita mukiyingira nga mukikumako omuliro. Mukole nga Mukama bw’alagidde. Ebyo bye mbakuutidde.” 98:9 2By 13:13Yoswa n’abasindika ne bagenda beekweka wakati wa Beseri ne Ayi ebugwanjuba w’ekibuga Ayi. Ekiro ekyo Yoswa yakimala n’Abayisirayiri abalala.

Ekibuga Ayi kiwambibwa

108:10 a Lub 22:3 b Yos 7:6Yoswa yakeera nnyo mu makya ne yeekebejja abalwanyi be, oluvannyuma ye n’abakulembeze b’Abayisirayiri ne boolekera Ayi. 11Abasajja bonna abalwanyi ne basemberera ekibuga era ne bakuŋŋaanira mu maaso g’ekibuga Ayi mu bukiikakkono bwakyo, ng’ekiwonvu kye kibaawula. 12Yoswa n’addira abalwanyi ng’enkumi ttaano ne bateegera wakati wa Beseri ne Ayi ebuvanjuba w’ekibuga. 13Ekibinja ky’abalwanyi ekisinga obunene ne kikuŋŋaanira mu bukiikakkono w’ekibuga ate ekibinja ekizibizi ne kikuŋŋaanira ebugwanjuba w’ekibuga. Naye ye Yoswa ekiro ekyo yasula mu kiwonvu.

148:14 a Ma 1:1 b Bal 20:34Mu makya kabaka wa Ayi n’abantu be olwalengera Abayisirayiri ne bafubutuka okugenda okubalwanyisa awo okwolekera Alaba, naye tebaamanya nti waaliwo Abayisirayiri abalala abaali babeekwekeredde emabega w’ekibuga. 158:15 a Bal 20:36 b Yos 15:61; 16:1; 18:12Yoswa n’ekibinja ky’Abayisirayiri be yali nabo ne beefuula ng’abawanguddwa ne badduka nga boolekedde eddungu. 168:16 Bal 20:31Abantu bonna abaali mu kibuga ne bakoowoolwa okugoba Abayisirayiri, ne babagobera ddala era ne babawereekereza wala nnyo n’ekibuga. 17Tewali musajja n’omu yasigala mu Ayi oba Beseri, ekibuga kyonna baaleka kiggule nga bagenze okugoba Abayisirayiri.

188:18 a Yob 41:26; Zab 35:3 b Kuv 4:2; 14:16; 17:9-12 c nny 26Mukama n’agamba Yoswa nti, “Galula omuwunda gwo ng’ogwolekeza Ayi, kubanga ojja kukiwangula.” Bw’atyo Yoswa n’agalula omuwunda gwe eri Ayi. 198:19 a Bal 20:33 b nny 8Amangwago ng’agaludde omuwunda abaali beekwese ne bafubutukayo ne besogga ekibuga era amangwago ne bakikoleeza omuliro. 208:20 Bal 20:40Abasajja b’omu Ayi bagenda okukebuka ng’ekibuga kyabwe kinyooka omukka nga tebakyasobola kudda mabega wadde okugenda mu maaso. 21Yoswa n’abasajja be bwe baalaba nga bannaabwe beesozze ekibuga era ne bakyokya, kwe kukyukira abaali babagoba ne babatta ebitagambika. 228:22 Ma 7:2; Yos 10:1Abayisirayiri abaayokya ekibuga nabo ne bavaayo ne bafuumbikiriza abasajja b’omu Ayi ne babatta obutalekaawo n’omu. 238:23 1Sa 15:8Naye ye kabaka w’e Ayi baamuwamba ne bamuleetera Yoswa.

Okutirimbulwa kwa bannakibuga b’omu Ayi

24Abayisirayiri bwe baamala okutta abantu b’omu Ayi abaali babagoberedde mu ddungu, ne balyoka bakomawo mu kibuga kya Ayi ne batta abantu bonna abaakirimu. 258:25 Ma 20:16-18Abasajja n’abakazi abattibwa ku olwo bonna baali omutwalo gumu mu enkumi bbiri. 268:26 a Kbl 21:2 b Kuv 17:12Yoswa bwe yagalula omuwunda gwe okugwolekeza ekibuga Ayi teyagussa wansi okutuusa ng’abaamu bonna bamaze okuzikirizibwa. 278:27 nny 2Ente n’ebintu ebirala bye baasanga mu kibuga, Abayisirayiri ne babitwala okuba omunyago gwabwe nga Mukama bwe yakuutira Yoswa.

288:28 a Kbl 31:10 b Yos 7:2; Yer 49:3 c Ma 13:16; Yos 10:1 d Lub 35:20Yoswa n’ayokya Ayi era ne kifuuka kifunvu ne leero. 298:29 a Ma 21:23; Yk 19:31 b 2Sa 18:17Ate n’atta kabaka wa Ayi n’amuwanika ku muti okutuusa akawungeezi lwe baawanulayo omulambo gwe ne bagusuula awo ku wankaaki w’ekibuga ne bagutuumako entuumu y’amayinja era ekyaliyo ne kaakano.

Ekyoto kizimbwa ku lusozi Ebali

308:30 a Ma 11:29 b Kuv 20:24Oluvannyuma Yoswa n’azimbira Mukama Katonda wa Isirayiri, ekyoto ku lusozi Ebali. 318:31 a Kuv 20:25 b Ma 27:6-7Nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yakuutira Abayisirayiri era nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo ky’amateeka ga Musa, “Ekyoto eky’amayinja agataabajjibwa muntu ng’akozesa ekyuma.” Bwe kyaggwa ne batandika okukiweerako Mukama ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe. 328:32 Ma 27:8Era n’awandiikira eyo ku mayinja mu maaso g’Abayisirayiri bonna, amateeka Musa ge yasooka okuwandiikira abaana ba Isirayiri. 338:33 a Ma 31:12 b Lv 16:29 c Ma 11:29; 27:11-14Abayisirayiri bonna n’abakulembeze baabwe, abalamuzi, n’abakungu ne bannaggwanga bonna ab’omu Isirayiri ne bayimirira eruuyi n’eruuyi w’Essanduuko okwolekera bakabona Abaleevi abaasitulanga Essanduuko y’Endagaano ya Mukama. Ne beegabanyaamu, ekitundu ekimu ne bayimirira mu maaso g’olusozi Gerizimu, ate abalala ne bayimirira mu maaso g’olusozi Ebali, nga Musa omuddu wa Mukama bwe yabalagira mu kusooka nti, “Kibagwanidde okusabira Abayisirayiri omukisa.”

348:34 Ma 28:61; 31:11; Yos 1:8Oluvannyuma Yoswa n’abasomera ebigambo byonna eby’omu mateeka, emikisa n’ebikolimo nga byonna bwe byawandiikibwa mu Kitabo ky’Amateeka. 358:35 Kuv 12:38; Ma 31:12Tewali kigambo na kimu Musa kye yalagira, Yoswa ky’ataasomera Bayisirayiri bonna, abaali bakuŋŋaanye abasajja n’abakazi n’abaana abato ssaako ne bannaggwanga be baabeeranga nabo.