Забур 140 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Забур 140:1-10

Песнь 140

Песнь Довуда.

1Вечный, я взываю к Тебе: поспеши ко мне!

Услышь моё моление, когда я взываю к Тебе.

2Прими молитву мою,

как возжигание благовоний перед Тобой,

и возношение моих рук –

как вечернее жертвоприношение.

3Поставь, Вечный, стражу у моего рта,

стереги двери моих уст.

4Не дай моему сердцу склониться к злу,

не дай участвовать в беззаконии нечестивых,

и не дай вкусить от их сластей.

5Пусть накажет меня праведник – это милость;

пусть обличает меня – это лучшее помазание,

которое не отринет моя голова.

Но моя молитва против злодеев:

6да будут вожди их сброшены с утёсов.

Тогда люди узнают,

что мои слова были правдивы.

7Как земля, которую рассекают и дробят,

так рассыпаны наши кости у пасти мира мёртвых.

8Но глаза мои устремлены на Тебя, Владыка Вечный;

на Тебя надеюсь, не дай мне умереть!

9Сохрани меня от сетей, которые раскинули для меня,

и от западни злодеев.

10Пусть нечестивые падут в свои же сети,

а я их избегу.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 140:1-13

Zabbuli 140

Ya mukulu w’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.

1140:1 a Zab 17:13 b Zab 18:48Omponye abakola ebibi, Ayi Mukama,

omponye abantu abakambwe;

2140:2 Zab 36:4; 56:6abateesa mu mitima gyabwe okukola ebibi;

abanoonya entalo buli kiseera.

3140:3 a Zab 57:4 b Zab 58:4; Yak 3:8Ebigambo byabwe byogi ng’ennimi z’emisota;

ebiva mu kamwa kaabwe busagwa ng’obw’essalambwa.

4140:4 a Zab 141:9 b Zab 71:4Onkuume abakola ebibi baleme okunkwatako, Ayi Mukama;

omponye abantu abakambwe

abateesa okunkyamya.

5140:5 Zab 31:4; 35:7Abantu ab’amalala banteze omutego;

banjuluzza ekitimba kyabwe;

ne batega emitego mu kkubo lyange.

6140:6 a Zab 16:2 b Zab 116:1; 143:1Nagamba Mukama nti, “Ggwe oli Katonda wange.”

Wulira okwegayirira kwange, onsaasire, Ayi Mukama!

7140:7 Zab 28:8Ayi Mukama, Mukama wange, ggw’omponya n’amaanyi go,

ggwe engabo yange mu lutalo.

8140:8 Zab 10:2-3Ayi Mukama, abakola ebibi tobawa bye beetaaga,

era tokkiriza ntekateeka zaabwe kutuukirira;

baleme kuba na malala wadde okwenyumiriza.

9140:9 Zab 7:16Abanneetoolodde baleke enkwe zaabwe

zibeekyusizeeko baboneebone.

10140:10 Zab 11:6; 21:9Amanda agaaka omuliro gabagwire;

basuulibwe mu muliro,

bakasukibwe mu bunnya obutakoma mwe bataliva emirembe gyonna.

11140:11 Zab 34:21Tokkiriza balimba kweyongera bungi;

abakambwe bayigganyizibwe bazikirire.

12140:12 a Zab 9:4 b Zab 35:10Mmanyi nga Mukama ayamba abo ababonaabona, y’ayamba abanaku okuyisibwa mu bwenkanya.

13140:13 a Zab 97:12 b Zab 11:7Abatuukirivu banaakutenderezanga,

era w’oli we banaabeeranga.