Аюб 28 – CARST & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия для Таджикистана

Аюб 28:1-28

Песнь о мудрости

1– Есть рудник для серебра,

и для золота есть горн плавильный.

2Из земли добывают железо,

и плавят медь из руды.

3Рудокоп освещает тьму,

ищет он в отдалённых пределах

руду в непроглядной мгле.

4Далеко от жилья он роет колодец,

в местах, позабытых человеком;

вдали от всех висит он, покачиваясь.

5Земля, которая произращает хлеб,

изнутри изрыта, будто огнём.

6Сапфиров россыпь в её камнях,

и в ней – золотой песок.

7Пути к ним не знает хищная птица,

соколиный глаз их не видел.

8Дикие звери их не топтали,

и лев по ним не ходил.

9Человек на гранит поднимает руку

и с корнем вырывает горы.

10Он прорубает проходы в скалах,

и глаза его видят все их сокровища.

11Он ищет28:11 Или: «останавливает». истоки рек

и сокровенное выносит на свет.

12Но где можно найти мудрость?

Где обитает разум?

13Не знает смертный её дома28:13 Или: «ей цены».;

на земле живых её не найти.

14Пучина скажет: «Во мне её нет»,

и молвит море: «Не у меня она».

15Её не купить за червонное золото,

не отвесить цену её серебром.

16Не купить её ни за золото из Офира,

ни за драгоценный оникс или сапфир.

17Не сравнить её с золотом и кристаллом,

на утварь из чистого золота не обменять.

18А о кораллах и яшме нечего и говорить;

стоит мудрость дороже рубинов.

19Не сравнить с ней топазы из Эфиопии,

не купить её за отменное золото.

20Откуда приходит мудрость?

Где обитает разум?

21Скрыта она от глаз всех живущих

и от птиц небесных утаена.

22Мир мёртвых и царство смерти говорят:

«Мы слышали только слух о ней».

23Только Всевышнему ведом к ней путь,

Он знает её жилище,

24ведь Он озирает края земли

и видит всё, что под небесами.

25Когда Он давал ветру силу

и водам ставил пределы,

26когда Он дождю предписал устав

и путь проложил для молний,

27Он увидел мудрость и восхвалил её,

утвердил её, испытал

28и сказал человеку:

«Воистину, страх перед Владыкой – вот мудрость,

сторониться зла – это разум».

Luganda Contemporary Bible

Yobu 28:1-28

1“Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,

n’ekifo gye balongooseza effeeza.

228:2 Ma 8:9Ekyuma kisimibwa mu ttaka,

n’ekikomo ne bakisaanuusa okukiggya mu mayinja.

328:3 Mub 1:13Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,

asime ekyuma mu kizikiza ekiri wansi ennyo.

4Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,

mu bifo eteyita bantu,

ewala okuva abantu gye bayita.

528:5 Zab 104:14Ensi evaamu emmere,

naye wansi waayo yafuusibwa nga muliro.

6Safira eva mu mayinja gaayo,

era enfuufu yaayo erimu zaabu.

7Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,

wadde n’amaaso ga kamunye tegarirabanga.

8Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,

tewali mpologoma yali eyiseeyo.

9Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,

n’avuunika ensozi okuviira ddala we zisibuka.

10Asima ensalosalo ku njazi;

n’amaaso ge galaba eby’omuwendo byonna.

11Anoonya wansi mu migga,

n’aggyayo ebintu ebyakwekebwa.

1228:12 Mub 7:24“Naye amagezi gasangibwa wa?

Okutegeera kuva wa?

1328:13 Nge 3:15; Mat 13:44-46Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;

tegasangibwa mu nsi y’abalamu.

14Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’

ennyanja eyogera nti, ‘Tegali mu nze.’

1528:15 Nge 3:13-14; 8:10-11; 16:16Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,

wadde omuwendo gwago okupimibwa mu ffeeza.

16Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,

mu mayinja ag’omuwendo aga onuku oba safiro.

1728:17 Nge 16:16Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:

so tegayinza kugeraageranyizibwa n’amayinja ag’omuwendo.

1828:18 Nge 3:15Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;

omuwendo ogugula amagezi gusinga amayinja amatwakaavu.

1928:19 Nge 8:19Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,

tegayinza wadde okugulibwa mu zaabu etetabikiddwamu kantu konna.

2028:20 nny 23, 28“Kale amagezi gava ludda wa?

N’okutegeera kubeera ludda wa?

21Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,

era gakwekeddwa ebinyonyi by’omu bbanga.

2228:22 Yob 26:6Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,

‘Nawulirako buwulizi ku lugambo lwakwo mu matu gange.’

2328:23 Nge 8:22-31Katonda ategeera ekkubo erigatuukako

era ye yekka y’amanyi gye gabeera,

2428:24 a Zab 33:13-14 b Nge 15:3kubanga alaba enkomerero y’ensi

era alaba ebintu byonna wansi w’eggulu.

2528:25 Yob 12:15; Zab 135:7Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,

n’apima n’amazzi,

2628:26 Yob 37:3, 8, 11; 38:25, 27bwe yateekera enkuba etteeka

era n’ekkubo eggulu we linaayitanga nga limyansa,

27olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;

n’agateekawo, n’agagezesa.

2828:28 Ma 4:6; Zab 111:10; Nge 1:7; 9:10N’agamba omuntu nti,

‘Laba, okutya Mukama, ge magezi,

n’okuleka ekibi, kwe kutegeera.’ ”