4 Царств 13 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

4 Царств 13:1-25

Иоахаз – царь Исраила

1На двадцать третьем году правления иудейского царя Иоаша, сына Охозии, царём Исраила стал Иоахаз, сын Иеву, и правил в Самарии семнадцать лет. 2Он делал зло в глазах Вечного, следуя грехам Иеровоама, сына Невата, к которым тот склонил Исраил, и не отворачивался от них. 3Гнев Вечного вспыхнул на Исраил, и долгое время Он держал их во власти Хазаила, царя Сирии, и его сына Бен-Адада13:3 Это Бен-Адад III, правивший Сирией в начале VIII в. до н. э..

4Но Иоахаз взмолился Вечному, и Вечный услышал его, ведь Он видел, как жестоко царь Сирии притесняет Исраил. 5Вечный дал Исраилу избавителя, и Исраил вышел из-под власти Сирии. Исраильтяне стали жить в мире, как и прежде. 6И всё же они не отвернулись от грехов дома Иеровоама, к которым тот склонил Исраил, но оставались в них. Да и столб Ашеры13:6 Столб Ашеры – культовый символ вавилонско-ханаанской богини Ашеры. Ашера считалась матерью богов и людей, владычицей моря и всего сущего. продолжал стоять в Самарии.

7От войска Иоахаза не осталось ничего, кроме пятидесяти всадников, десяти колесниц и десяти тысяч пеших воинов, потому что царь Сирии истребил остальных, уподобив их пыли во время молотьбы.

8Прочие события царствования Иоахаза, всё, что он сделал, и его свершения записаны в «Книге летописей царей Исраила». 9Иоахаз упокоился со своими предками и был похоронен в Самарии. И царём вместо него стал его сын Иоаш.

Иоаш – царь Исраила

10На тридцать седьмом году правления Иоаша, царя Иудеи, царём Исраила стал Иоаш, сын Иоахаза, и правил в Самарии шестнадцать лет. 11Он делал зло в глазах Вечного и не отвернулся ни от одного из грехов Иеровоама, сына Невата, к которым тот склонил Исраил. Он оставался в них.

12Прочие события царствования Иоаша, всё, что он сделал, и его свершения, включая войну против Амасии, царя Иудеи, записаны в «Книге летописей царей Исраила».

13Иоаш упокоился со своими предками, и Иеровоам сменил его на престоле. Иоаш был похоронен в Самарии с царями Исраила.

Смерть Елисея

14Елисей был смертельно болен. Иоаш, царь Исраила, пришёл навестить его и плакал над ним.

– Отец мой! Отец мой! – восклицал он. – Колесница и конница Исраила!

15Елисей сказал:

– Достань лук и стрелы, – и он сделал это.

16– Возьми лук в руки, – сказал он царю Исраила.

Когда тот взял лук, Елисей положил руки на руки царя Исраила.

17– Открой восточное окно, – сказал он, и тот открыл его.

– Стреляй! – сказал Елисей, и тот выстрелил.

– Стрела победы Вечного, стрела победы над Сирией! – сказал Елисей. – Ты будешь бить сирийцев при городе Афеке, пока не разобьёшь их.

18Затем он сказал:

– Возьми стрелы, – и царь взял их.

Елисей сказал ему:

– Бей ими по земле.

Он ударил три раза и остановился.

19Пророк разгневался на него и сказал:

– Ты должен был бы ударить по земле пять или шесть раз, тогда ты побил бы Сирию полностью. А теперь ты разобьёшь её только три раза.

20Елисей умер и был похоронен.

Позже разбойники из Моава повадились вторгаться в страну каждую весну. 21Однажды во время похорон одного человека исраильтяне увидели банду разбойников и бросили покойника в гробницу Елисея. Когда мёртвое тело коснулось костей Елисея, тот человек ожил и встал на ноги.

Исполнение последнего пророчества Елисея

22Хазаил, царь Сирии, притеснял Исраил во все дни царствования Иоахаза. 23Но Вечный был милостив к ним, жалел их и заботился о них ради священного соглашения с Ибрахимом, Исхаком и Якубом. Он и теперь не хотел истребить их или прогнать от Себя.

24Хазаил, царь Сирии, умер, и его сын Бен-Адад стал царём вместо него. 25И Иоаш, сын Иоахаза, отнял у Бен-Адада, сына Хазаила, те города, которые тот отвоевал у его отца Иоахаза. Три раза Иоаш разбивал его и возвращал исраильские города.

Luganda Contemporary Bible

2 Bassekabaka 13:1-25

Yekoyakaazi Kabaka wa Isirayiri

1Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda, Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya era n’afugira emyaka kkumi na musanvu. 213:2 1Bk 12:26-33N’akola ebibi mu maaso ga Mukama ng’akola ebibi Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isirayiri, ate n’atabirekaayo. 313:3 a Ma 31:17; Bal 2:14 b 1Bk 8:12; 12:17; 19:17 c nny 24Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Isirayiri, n’abawaayo okubeera wansi ow’omukono gwa Kazayeeri kabaka w’e Busuuli ne Benikadadi mutabani we.

413:4 a Ma 4:29; Zab 78:34 b Kuv 3:7; Ma 26:7 c 2Bk 14:26Awo Yekoyakaazi ne yegayirira Mukama, Mukama n’amuwulira, era n’alaba okucocca, kabaka w’e Busuuli kwe yacoccanga Isirayiri. 513:5 nny 25; 2Bk 14:25, 27Mukama n’abaddiramu n’abawa omulokozi, ne bawona obufuzi bw’Abasuuli, n’oluvannyuma Abayisirayiri ne babeeranga mirembe mu nnyumba zaabwe nga bwe baali olubereberye. 613:6 a 1Bk 12:30 b 1Bk 16:33Naye ne batalekaayo kukola ebibi eby’ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula beeyongeranga bweyongezi okubikola. N’empagi ey’Asera n’esigalayo mu Samaliya.

713:7 a 2Bk 10:32-33 b 2Sa 22:43Mukama teyalekerawo ggye lya Yekoyakaazi kintu okuggyako abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano, n’amagaali kkumi, n’abaserikale ab’ebigere omutwalo gumu, kubanga kabaka w’e Busuuli yabizikiriza, n’abifuula ng’enfuufu ey’omu gguuliro.

8Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyakaazi, ne bye yakola byonna, n’ebyobuzira bwe byonna, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 9Yekoyakaazi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yowaasi mutabani we n’amusikira.

Yekoyaasi Kabaka wa Isirayiri

10Awo mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omusanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda, Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’afuuka kabaka wa Isirayiri mu Samaliya, era n’afugira emyaka kkumi na musanvu. 11N’akola ebibi mu maaso ga Mukama, n’atalekaayo ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, wabula ne yeeyongera bweyongezi okubikola. 1213:12 a 2Bk 14:15 b 1Bk 15:31Ebyafaayo ebirala ebyabaawo mu mirembe gya Yekoyaasi, bye yakola byonna, n’amaanyi ge, nga kwe kuli n’olutalo lwe yalwana ne Amaziya kabaka wa Yuda, tebyawandiikibwa mu kitabo eky’ebyomumirembe gya bassekabaka ba Isirayiri? 1313:13 2Bk 14:23; Kos 1:1Yekoyaasi n’afa, n’aziikibwa mu Samaliya, Yerobowaamu n’amusikira okuba kabaka.

Okufa kwa Erisa

1413:14 2Bk 2:12Awo mu biro ebyo Erisa n’alwala nnyo, endwadde eyamutta, Yowaasi n’aserengeta gy’ali okumulaba, n’akaabira amaziga, mu maaso ge ng’agamba nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” 1513:15 1Sa 20:20Erisa n’amuddamu nti, “Ffuna omutego n’obusaale,” era n’akola bw’atyo. 16N’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bikwate mu ngalo.” Bwe yamala okukola ekyo, Erisa n’ateeka emikono gye ku gya kabaka. 1713:17 a Yos 8:18 b 1Bk 20:26Erisa n’amugamba nti, “Ggulawo eddirisa ery’ebuvanjuba,” n’aliggulawo. N’amulagira okulasa. Erisa n’ayogera nti, “Akasaale ka Mukama ak’obuwanguzi, akasaale ak’obuwanguzi eri Obusuuli, era ojja kusaanyizaawo ddala Abasuuli mu Afeki.” 18N’amugamba nti, “Kwata obusaale,” n’abukwata. N’agamba kabaka wa Isirayiri okulasa ettaka. N’alirasa emirundi esatu, n’akoma awo. 1913:19 nny 25Omusajja wa Katonda n’amunyiigira, n’amugamba nti, “Wandirasizza emirundi etaano oba mukaaga, olwo n’olyoka owangulira ddala Abasuuli era n’obasaanyaawo. Naye kaakano olibawangula emirundi esatu gyokka.”

2013:20 2Bk 3:7; 24:2Erisa n’afa, n’aziikibwa.

Ebibinja by’Abamowaabu byateranga okulumba ensi ku ntandikwa ya buli mwaka. 2113:21 Mat 27:52Awo olwatuuka, Abayisirayiri abamu baali baziika omusajja, ne balengera ekibinja eky’abasajja nga kijja, ne basuula omulambo gwe mu ntaana ya Erisa ne badduka. Omulambo gwe bwe gw’akoma ku magumba ga Erisa omusajja n’alamuka, era n’ayimirira.

2213:22 1Bk 19:17; 2Bk 8:12Mu kiseera kye kimu Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’ajooga Isirayiri ebbanga lyonna Yekoyakaazi we yabeerera kabaka. 2313:23 a Lub 13:16-17; Kuv 2:24 b Ma 29:20 c Kuv 33:15; 2Bk 14:27; 17:18; 24:3, 20Naye Mukama n’abakwatirwa ekisa n’abasaasira, era n’assaayo omwoyo gye bali olw’endagaano gye yakola ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo nti talibazikiririza ddala. N’okutuusa ku lunaku olwa leero tayagalanga kubazikiriza okuva mu maaso ge.

2413:24 nny 3Kazayeeri kabaka w’e Busuuli n’afa, Benikadadi mutabani we n’amusikira. 2513:25 a nny 18, 19 b 2Bk 10:32Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n’awamba nate ebibuga Benikadadi mutabani wa Kazayeeri bye yali awambye ku kitaawe Yekoyakaazi mu ntalo. Yowaasi ye n’amuwangula emirundi esatu, era n’akomyawo ebibuga bya Isirayiri ebyali biwambiddwa.