3 Царств 3 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

3 Царств 3:1-28

Просьба Сулеймана о мудрости

(2 Лет. 1:3-12)

1Сулейман породнился с фараоном, царём Египта, женившись на его дочери. Он поселил её в Городе Давуда, пока не закончил строить свой дворец, храм Вечного и стену вокруг Иерусалима.

2А народ, по-прежнему, приносил жертвы в святилищах на возвышенностях, потому что храм для поклонения Вечному всё ещё не был построен. 3Сулейман любил Вечного, следуя наказам своего отца Давуда, но и он приносил жертвы и возжигал благовония, находящиеся в сосудах, в святилищах на возвышенностях.

4Царь отправился в Гаваон, чтобы принести жертвы, потому что там было самое главное из святилищ, и вознёс на том жертвеннике тысячу всесожжений. 5В Гаваоне Вечный явился Сулейману во сне ночью. Аллах сказал:

– Проси у Меня, чего хочешь.

6Сулейман ответил:

– Ты явил Твоему рабу, моему отцу Давуду, великую милость, так как он был верен Тебе, праведен и прям сердцем. Ты сохранил эту великую милость и даровал ему сына, чтобы тот сегодня сел на его престол. 7И теперь, Вечный, мой Бог, Ты сделал Твоего раба царём вместо моего отца Давуда. Но я совсем молод и не знаю, как исполнять свой долг. 8Твой раб – среди Твоего народа, который Ты избрал, великого народа, слишком многочисленного, чтобы его пересчитать или исчислить. 9Дай Твоему рабу разумное сердце, чтобы править Твоим народом и различать между добром и злом. Ведь кто способен править Твоим многочисленным народом?

10Владыка был доволен, что Сулейман просил об этом. 11Аллах сказал ему:

– Так как ты просил об этом и не просил себе ни долгой жизни, ни богатства, ни смерти своим врагам, но лишь мудрости, чтобы разумно судить, 12Я исполню то, о чём ты просил. Я даю тебе мудрое и разумное сердце, и как до тебя не было подобного тебе, так и после тебя никто с тобой не сравнится. 13Более того, Я даю тебе и то, о чём ты не просил, – и богатство, и славу, так что при твоей жизни среди царей тебе не будет равного. 14И если ты будешь ходить Моими путями и слушаться Моих установлений и повелений, как делал твой отец Давуд, Я дам тебе долгую жизнь.

15Тут Сулейман проснулся и понял, что это был сон. Он пришёл в Иерусалим, встал перед сундуком соглашения с Владыкой и принёс всесожжения и жертвы примирения. После этого он устроил для всего двора пир.

Мудрое разрешение спора

16Однажды к царю пришли две женщины-блудницы и встали перед ним. 17Одна из них сказала:

– О мой господин! Мы с этой женщиной живём в одном доме, и когда она была в доме, я родила. 18А на третий день после этого родила и она. Мы были вместе, никого с нами в доме не было, только мы вдвоём. 19Ночью сын этой женщины умер, потому что она случайно задавила его во сне. 20Среди ночи она поднялась и взяла моего сына, пока твоя рабыня спала. Она положила его к своей груди, а своего мёртвого сына положила к моей груди. 21Утром я встала, чтобы покормить своего сына, а он мёртвый, но когда я рассмотрела его на свету, мне стало ясно, что это не мой сын, которого я родила.

22Другая женщина сказала:

– Нет! Тот, что живой, – это мой сын, твой – тот, что мёртвый!

Но первая настаивала:

– Нет! Тот, что мёртвый, – твой, а живой – мой!

И так они препирались перед царём.

23Царь сказал:

– Одна говорит: «Мой сын жив, а твой мёртв», а другая говорит: «Нет! Твой сын мёртв, а мой жив».

24Затем царь сказал:

– Принесите мне меч.

И царю принесли меч. 25Тогда он повелел:

– Разрубите живого ребёнка надвое и дайте одну половину этой женщине, а другую – той.

26У той женщины, чей сын был жив, вздрогнуло сердце от жалости к своему сыну, и она сказала царю:

– О мой господин! Отдайте ей ребёнка живым! Не убивайте его!

Но другая сказала:

– Ни я, ни ты его не получим. Разрубите его!

27Тогда царь постановил:

– Отдайте живого ребёнка первой женщине. Не убивайте его, она его мать.

28Когда весь Исраил услышал о приговоре, который вынес царь, они стали уважать его, потому что увидели, что в нём мудрость от Аллаха, чтобы творить суд.

Luganda Contemporary Bible

1 Bassekabaka 3:1-28

Sulemaani Asaba Amagezi

13:1 a 1Bk 7:8 b 1Bk 9:24 c 2Sa 5:7 d 1Bk 7:1; 9:15, 19Awo Sulemaani n’akola endagaano ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri era n’awasa muwala we. N’amuleeta mu kibuga kya Dawudi okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye n’ennyumba ya Mukama, era ne bbugwe okwetooloola Yerusaalemi. 23:2 Lv 17:3-5; Ma 12:2, 4-5; 1Bk 22:43Kyokka ennyumba ya Mukama yali tenazimbibwa, abantu nga baweerayo ssaddaaka mu bifo eby’enjawulo. 33:3 a Ma 6:5; Zab 31:23; 1Ko 8:3 b 1Bk 2:3; 9:4; 11:4, 6, 38Sulemaani n’ayagala Mukama, ng’atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe, newaakubadde nga yaweerangayo ssaddaaka era ng’ayotereza n’obubaane ku bifo ebigulumivu.

43:4 1By 16:39Awo kabaka n’agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka, kubanga ekyo kye kyali ekifo ekikulu mu byonna, era Sulemaani n’aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi. 53:5 a 1Bk 9:2 b Kbl 12:6; Mat 1:20Mukama n’alabikira Sulemaani ekiro mu kirooto e Gibyoni, Katonda n’amugamba nti, “Saba ky’oyagala kyonna kye mba nkuwa.”

63:6 a 1Bk 2:4; 9:4 b 1Bk 1:48Sulemaani n’addamu nti, “Olaze ekisa kingi eri omuddu wo, Dawudi kitange, kubanga yali mwesigwa gy’oli, era mutuukirivu ate nga mwesimbu gy’oli. Era oyongedde okulaga ekisa kino ekingi gy’ali n’omuwa omwana okutuula ku ntebe ye ey’obwakabaka leero. 73:7 Kbl 27:17; 1By 29:1Kaakano, Ayi Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo okuba kabaka mu kifo kya Dawudi kitange. Naye ndi mwana muto era simanyi ngeri ya kuddukanyaamu mirimu gyange. 83:8 a Ma 7:6 b Lub 15:5Omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga ekkulu, eritabalika. 93:9 a 2Sa 14:17; Yak 1:5 b Nge 2:3-9; Beb 5:14 c Zab 72:1-2Kale omuddu wo muwe amagezi okufuganga abantu bo, njawulenga ekirungi n’ekibi: kubanga ani ayinza okufuga eggwanga lyo lino ekkulu?”

10Mukama n’asanyuka kubanga Sulemaani yasaba ekyo. 113:11 Yak 4:3Katonda n’amugamba nti, “Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala wadde bugagga, oba okufa kw’abalabe bo, naye weesabidde amagezi okwawulanga emisango, 123:12 a 1Yk 5:14-15 b 1Bk 4:29, 30, 31; 5:12; 10:23; Mub 1:16n’akola ky’osabye. Nzija kukuwa omutima omugezi era omutegeevu, so tewalibeerawo eyali akwenkanye oba alikwenkana. 133:13 a Mat 6:33; Bef 3:20 b 1Bk 4:21-24; Nge 3:1-2, 16 c 1Bk 10:23Era ndikuwa, ne by’otosabye: obugagga n’ekitiibwa waleme kubeerawo kabaka akwenkana mu kiseera kyo. 143:14 a nny 6; Nge 3:1-2, 16 b Zab 61:6; 91:16Era bw’onootambuliranga mu makubo gange, n’okukwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yakola, ndyongera ku nnaku zo.” 153:15 a Lub 41:7 b 1Bk 8:65 c Mak 6:21 d Es 1:3, 9; Dan 5:1Awo Sulemaani n’azuukuka n’amanya nga kibadde kirooto.

N’akomawo e Yerusaalemi, n’ayimirira mu maaso g’essanduuko ey’endagaano ya Mukama n’awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’ebiweebwayo olw’emirembe, era n’agabula abaweereza be ekijjulo.

Sulemaani Asala Omusango Omuzibu

16Awo abakazi bamalaaya babiri ne bajja eri kabaka, ne bayimirira mu maaso ge. 17Omu ku bo n’amugamba nti, “Mukama wange, omukazi ono nange tubeera mu nnyumba emu, era nazaala omwana nga naye waali. 18Bwe waayitawo ennaku ssatu, naye n’azaala omwana we. Twali ffekka, so tewaali muntu n’omu eyali naffe mu nnyumba.

19“Awo mu kiro omukazi ono, ne yeebakira omwana we n’amutta. 20N’agolokoka ekiro mu ttumbi n’aggya omwana wange mu mbiriizi zange, nze omuweereza wo nga neebase, n’amuteeka mu kifuba kye, ate n’addira owuwe afudde n’amussa mu kifuba kyange. 21Awo bwe nagolokoka enkya okuyoonsa omwana wange, nga mufu. Naye bwe n’amwekaliriza amaaso, ne ndaba nga si ye mwana gwe nazaala.”

22Omukazi oli omulala n’agamba nti, “Nedda! Omulamu ye mwana wange, omufu ye wuwo.”

Naye ow’olubereberye n’aggumiza nti, “Nedda! Omufu ye wuwo, omulamu ye wange.” Ne bawakanira mu maaso ga kabaka.

23Kabaka n’agamba nti, “Omu agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu,’ n’omulala agamba nti, ‘Omwana wange ye mulamu, owuwo ye mufu.’ ”

24Awo kabaka n’agamba nti, “Mundeetere ekitala.” Ne baleetera kabaka ekitala. 25N’alyoka alagira nti, “Musaleemu omwana omulamu, muwe omu ekitundu n’omulala ekitundu ekirala.”

263:26 Lub 43:30; Is 49:15; Yer 31:20; Kos 11:8Nnyina w’omwana omulamu n’ajjula ennaku olw’omwana we, n’agamba kabaka nti, “Nkwegayiridde mukama wange, omwana omulamu mumuwe! Tomutta!” Naye omukazi oli n’agamba nti, “Tajja kuba wange oba wuwo. Mumusalemu!”

27Awo kabaka n’asalawo ng’agamba nti, “Omwana omulamu mumuwe omukazi ow’olubereberye, so temumutta, kubanga oyo ye nnyina.”

283:28 nny 9, 11-12; Bak 2:3Isirayiri yonna bwe yawulira okusalawo kwa kabaka, ne beewuunya kabaka, kubanga baalaba ng’alina amagezi okuva eri Katonda okulamula ensonga.