Числа 21 – CARSA & LCB

Священное Писание (Восточный перевод), версия с «Аллахом»

Числа 21:1-35

Уничтожение Арада

1Когда ханаанский царь Арада, расположенного в Негеве, услышал, что Исраил идёт по атаримской дороге, он напал на исраильтян и взял некоторых из них в плен. 2Тогда Исраил дал Вечному обет:

– Если Ты отдашь этот народ в наши руки, мы полностью уничтожим его города.

3Вечный услышал мольбу исраильтян и отдал им во власть хананеев. Они полностью уничтожили их с городами. Так это место было названо Хорма («уничтожение»).

Медный змей

4От горы Ор они тронулись в путь по дороге к Тростниковому морю, чтобы обойти Эдом. Но в пути народ пал духом; 5они роптали на Аллаха и на Мусу:

– Зачем вы вывели нас из Египта? Чтобы мы умерли в пустыне? Хлеба нет! Воды нет! А эта убогая пища нам противна!

6Тогда Вечный наслал на них ядовитых змей; они жалили исраильтян, и многие умерли. 7Народ пришёл к Мусе и сказал:

– Мы согрешили, когда роптали на Вечного и на тебя. Помолись, чтобы Вечный избавил нас от змей.

Муса помолился за народ, 8и Вечный сказал Мусе:

– Сделай змея и укрепи его на шесте: всякий ужаленный посмотрит на него и останется жить. 9Муса сделал медного змея и укрепил его на шесте. И когда змея жалила человека, он, взглянув на медного змея, оставался жив.

Дорога в Моав

10Исраильтяне двинулись дальше и остановились в Овоте. 11Они тронулись в путь из Овота и остановились в Ийе-Аварим, в пустыне, что на восточной границе Моава. 12Оттуда они двинулись дальше и остановились в долине Заред. 13Оттуда они двинулись дальше и остановились на другой стороне реки Арнон, в пустыне, которая простирается от рубежей аморреев (Арнон – это граница Моава, между Моавом и аморреями). 14Вот почему в «Книге войн Вечного»21:14 Эта древняя книга, не вошедшая в состав Священного Писания, не сохранилась до наших времён. упоминается:

15«…Вахеб в Суфе и притоки Арнона,

и склоны ущелий,

что тянутся к местности Ар

и лежат вдоль границ Моава».

16Оттуда они продолжили путь к Беэру («колодец»), колодцу, где Вечный сказал Мусе:

– Собери народ, и Я дам им воду.

17Тогда Исраил пел эту песню:

«Наполняйся, колодец!

Пойте о нём,

18о колодце, что выкопали вожди,

вырыла знать народа

скипетрами и жезлами».

Они пошли из пустыни в Маттану, 19из Маттаны в Нахалиил, из Нахалиила в Бамот, 20а из Бамота в долину Моава, где высится над пустыней21:20 Букв.: «над Иешимоном». вершина Фасги.

Победа над царём Сигоном

(Втор. 2:24-37)

21Исраил послал вестников, чтобы сказать Сигону, царю аморреев:

22– Позволь нам пройти через твою страну. Мы не свернём ни на поле, ни в виноградник, не будем пить воду из колодцев. Мы будем идти по Царской дороге, пока не пройдём через твою землю.

23Но Сигон не позволил Исраилу пройти через свою землю. Он собрал войско и выступил в пустыню навстречу Исраилу. Подойдя к Иахацу, он сразился с Исраилом. 24Но Исраил предал его мечу и завладел его землёй от реки Арнон до реки Иаббок, до аммонитян, потому что граница аммонитян была укреплена. 25Исраил захватил все города аморреев и занял их, включая Хешбон с окрестными поселениями. 26Хешбон был столицей Сигона, царя аморреев, который воевал с прежним царём Моава и отнял у него всю его землю до самого Арнона.

27Вот почему сказители поют:

«Идите в Хешбон и отстройте его,

пусть встанет из праха город Сигона!

28Полыхает огонь из Хешбона,

пышет пламя из города Сигона.

Оно пожрало Ар-Моав,

хозяев высот Арнона.

29Горе тебе, Моав!

Сгинул ты, народ Хемоша!21:29 Хемош – божество из пантеона моавитян, в жертвы которому приносились люди.

Сыновей своих беженцами он сделал,

дочерей своих – пленницами

Сигона, царя аморреев.

30Сгинуло твоё потомство от Хешбона до Дивона21:30 Или: «Мы разили их стрелами, погиб Хешбон до Дивона»..

Мы разоряли до Нофаха и Медевы».

31Так Исраил поселился на земле аморреев.

32Муса послал разведчиков в город Иазер, и исраильтяне захватили селения вокруг него, выгнав из них аморреев.

Победа над царём Огом

(Втор. 3:1-11)

33Потом они повернули и поднялись по дороге к Башану. Ог, царь Башана, выступил им навстречу со всем своим войском, чтобы сразиться с ними у города Эдреи.

34Вечный сказал Мусе:

– Не бойся его, потому что Я отдал его в твои руки со всем его войском и землёй. Сделай с ним то же, что и с Сигоном, царём аморреев, который правил в Хешбоне.

35Они убили его вместе с его сыновьями и всем войском, не оставив в живых никого, и завладели его землёй.

Luganda Contemporary Bible

Okubala 21:1-35

Yaladi Kizikirizibwa

121:1 a Kbl 33:40; Yos 12:14 b Bal 1:9, 16Kabaka Omukanani ow’e Yaladi eyatuulanga mu bukiikaddyo, n’awulira nga Isirayiri ajjira mu kkubo lya Asalimu, n’alumba Isirayiri n’amulwanyisa n’awambamu abamu ku bo. 2Awo Isirayiri ne yeeyama eri Mukama Katonda obweyamo buno nti, “Bw’onoogabula abantu bano mu mukono gwaffe, ne tubawangula, ebibuga byabwe tulibizikiririza ddala.” 3Mukama Katonda n’awulira okwegayirira kw’Abayisirayiri, Abakanani n’abawaayo eri Abayisirayiri, ne bazikiriza ebibuga byabwe; ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Koluma.

Omusota Ogw’Ekikomo

421:4 a Kbl 20:22 b Ma 2:8; Bal 11:18Ne basitula okuva ku lusozi Koola, ne bakwata ekkubo eriraga ku Nnyanja Emyufu, balyoke beetooloole ensi ya Edomu. Abantu nga bali ku lugendo olwo ne batandika okuggwaamu obugumiikiriza. 521:5 a Zab 78:19 b Kbl 14:2, 3 c Kbl 11:6Ne beemulugunyiza Musa ne Katonda nga boogera nti, “Lwaki mwatuggya mu Misiri okufiira wano mu malungu? Kubanga temuli mmere; so temuli mazzi; n’obumere buno bwe tufuna tubwetamiddwa.”

621:6 a Ma 8:15; Yer 8:17 b 1Ko 10:9Awo Mukama n’asindikira abantu emisota emikambwe egy’obusagwa, ne gibojja abantu, era abaana ba Isirayiri bangi ne bafa. 721:7 a Zab 78:34; Kos 5:15 b Kuv 8:8; Bik 8:24 c Kbl 11:2Abantu ne bajja awali Musa, ne bamugamba nti, “Twayonoona bwe twakwemulugunyiza ne twemulugunyiza ne Mukama Katonda, ne tuboogerako bubi. Tusaba weegayirire Mukama atuggyeko emisota gino.” Musa n’asabira abantu.

821:8 Yk 3:14Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Kolayo omusota ogufaanana nga giri emikambwe egy’obusagwa oguwanike ku mulongooti; buli anaabojjebwanga omusota, n’agutunulako, anaawonanga.” 921:9 a 2Bk 18:4 b Yk 3:14-15Awo Musa n’aweesa omusota ogw’ekikomo, n’aguwanika ku mulongooti. Kale buli eyabojjebwanga omusota n’atunula ku musota ogw’ekikomo, ng’awona, ng’aba mulamu.

Olugendo Olwabatuusa mu Mowaabu

1021:10 Kbl 33:43Awo abaana ba Isirayiri ne basitula ne batambula okutuuka mu Yebosi, ne basiisira omwo. 1121:11 Kbl 33:44Ne basitula okuva mu Yebosi ne batambula, ne basiisira mu Lye-Abalimu, mu ddungu eryolekedde Mowaabu, ku luuyi olw’ebuvanjuba. 1221:12 Ma 2:13, 14Bwe baava awo, ne batambula okulaga mu kiwonvu kya Zeredi, ne basiisira omwo. 1321:13 Kbl 22:36; Bal 11:13, 18Ne bava awo, ne batambula ne basiisira emitala w’omugga Alunoni, oguli mu ddungu erituuka ne ku nsalo ya Abamoli. Omugga Alunoni ye nsalo ya Mowaabu, eyawula Mowaabu n’Abamoli. 14Kyekyava kiwandiikibwa mu Kitabo ky’Entalo za Mukama Katonda, nti,

“Vakebu ne Sufa,

n’ebiwonvu bya Alunoni, 1521:15 nny 28; Ma 2:9, 18n’obuserengeto bw’ebiwonvu

ebituuka ku kibuga kya Ali,

ne byesigama ku nsalo ya Mowaabu.”

1621:16 Bal 9:21Bwe baava eyo ne batambula okutuuka e Beeri, olwo lwe luzzi Mukama we yagambira Musa nti, “Abantu bonna bakuŋŋaanye, mbawe amazzi.”

1721:17 Kuv 15:1Isirayiri n’alyoka ayimba oluyimba luno, nti,

“Weetale, ggwe Oluzzi!

Muluyimbirire!

18Muyimbe ku luzzi abalangira lwe baasima,

abakungu n’abantu lwe baayiikuula,

abakungu, emiggo gyabwe.”

19Ne bava mu ddungu ne batambula okutuuka e Matana. Bwe baava e Matana ne balaga e Nakalieri, ne bava e Nakalieri ne balaga e Bamosi. 20Bwe baava e Bamosi ne balaga mu kiwonvu ekiri mu matwale ga Mowaabu wansi w’olusozi Pisuga, kw’osinziira okulengera eddungu.

Sikoni Awangulwa

2121:21 Ma 1:4; 2:26-27; Bal 11:19-21Awo Isirayiri n’atuma ababaka eri Sikoni kabaka w’Abamoli ng’amugamba nti,

2221:22 Kbl 20:17“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tetuliyita mu birime wadde mu nnimiro z’emizabbibu, era tetugenda kunywa na ku mazzi agali mu nzizi. Tugenda kutambulira mu Luguudo lwa Kabaka olunene mwokka okutuusa lwe tuliva mu nsi yo.”

2321:23 a Kbl 20:21 b Ma 2:32; Bal 11:20Naye Sikoni n’atakkiriza Isirayiri kuyita mu nsi ye. N’akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n’agenda atabaale Isirayiri mu ddungu. Bwe yatuuka e Yakazi n’alwana ne Isirayiri. 2421:24 a Ma 2:33; Zab 135:10-11; Am 2:9 b Ma 2:37Isirayiri n’amufumita n’obwogi bw’ekitala, n’atwala ensi ye okuva ku mugga Alunoni okutuuka ku mugga Yaboki, n’atuukira ddala ku Bamoni, n’akoma awo, kubanga Abamoni baali ba maanyi nnyo ku nsalo yaabwe. 2521:25 Kbl 13:29; Bal 10:11; Am 2:10Isirayiri n’awamba ebibuga byonna eby’Abamoli n’abeera omwo, ne Kesuboni n’akiwambiramu n’obubuga bwonna obwali bukyetoolodde. 2621:26 Ma 29:7; Zab 135:11Kesuboni kye kyali ekibuga ekikulu ekya Sikoni Kabaka w’Abamoli kye yali awambye ng’amaze okulwana n’eyali kabaka wa Mowaabu n’amuggyako ensi ye yonna okutuuka ku Alunoni.

27Abayiiya ennyimba kyebaava bayimba nti,

“Mujje e Kesuboni kizimbibwe;

ekibuga kya Sikoni kizzibwewo.

2821:28 a Yer 48:45 b nny 15 c Kbl 22:41; Is 15:2“Omuliro gwafuluma mu Kesuboni,

ennimi z’omuliro ne ziva mu kibuga kya Sikoni.

Gwayokya Ali ekya Mowaabu,

n’abatuula mu nsozi za Alunoni.

2921:29 a Is 25:10; Yer 48:46 b Bal 11:24; 1Bk 11:7, 33; 2Bk 23:13; Yer 48:7, 46 c Is 15:5 d Is 16:2Zikusanze, gwe Mowaabu!

Muzikirizibbwa, mmwe abantu ba Kemosi!

Batabani be abawaddeyo eri kabaka Sikoni ow’Abamoli

ne bafuuka ng’abanoonyi b’obubudamu

ne bawala be, ng’abawambe.

3021:30 Kbl 32:3; Is 15:2; Yer 48:18, 22“Naye tubawangudde

Kesuboni azikiridde okutuukira ddala ku Diboni.

Tubafufuggazza okutuuka ku Nofa,

kwe kutuukira ddala ku Medeba.”

Ogi Awangulwa

31Bw’atyo Isirayiri n’atuula mu nsi y’Abamoli.

3221:32 Kbl 32:1, 3, 35; Yer 48:32Musa bwe yamala okutuma abakessi e Yazeri, abaana ba Isirayiri ne bawamba ebibuga ebyali bikyebunguludde, ne bagobamu Abamoli abaabibeerangamu. 3321:33 a Ma 3:3 b Ma 3:4 c Ma 1:4; 3:1, 10; Yos 13:12, 31Ne bakyuka ne bambukira mu kkubo eriraga e Basani. Ogi kabaka w’e Basani n’eggye lye lyonna ne yeesowolayo okubatabaala mu lutalo olwali mu Ederei.

3421:34 Ma 3:2Mukama n’agamba Musa nti, “Tomutya; kubanga mugabudde mu mukono gwo, n’eggye lye lyonna awamu n’ensi ye; omukole nga bwe wakola Sikoni kabaka w’Abamoli eyafugiranga mu Kesuboni.”

35Bwe batyo ne bamutta, ne batabani be, n’eggye lye lyonna, ne batawonyaawo muntu n’omu21:35 Oluvannyuma lw’obuwanguzi obwo, Isirayiri yafuga ebuvanjuba bwa Yoludaani bwonna okuviira ddala mu Mowaabu okutuuka ku nsozi za Basani mu nsi y’e Kerumooni. Abayisirayiri baateranga okuyimba ennyimba n’okujaguza olw’okuwangula Sikoni ne Ogi (Zab 135:10-11; 136:19-20).. Ensi ye ne bagirya.