Исход 39 – CARS & LCB

Священное Писание

Исход 39:1-43

Одеяния священнослужителей

(Исх. 28:1-43)

1Из голубой, пурпурной и алой пряжи сделали тканые одеяния для служения в святилище и священные одеяния для Харуна, как повелел Мусе Вечный.

2Ефод сделали из голубой, пурпурной и алой пряжи и из кручёного льна, с добавлением золотой нити. 3Расплющили золото в тонкие листы, разрезали на нити и искусно вплели в голубую, пурпурную и алую пряжу и кручёный лён. 4Для ефода сделали наплечники по двум углам, чтобы он застёгивался. 5Искусно сотканный пояс ефода был подобен ему – из одного с ним материала: из золотой нити, из голубой, пурпурной и алой пряжи и из кручёного льна, как повелел Мусе Вечный.

6Вставили ониксы в золотые филигранные оправы и вырезали на них, как на печати, имена сыновей Исраила, 7и прикрепили их к наплечникам ефода как памятные камни для сыновей Исраила, как повелел Мусе Вечный.

8Сделали нагрудник искусной работы, подобно ефоду: из золотой нити, из голубой, пурпурной и алой пряжи и из кручёного льна. 9Он был квадратным, двадцать два сантиметра39:9 Букв.: «одна пядь». в длину и ширину, из сложенной вдвое ткани. 10Вставили в него четыре ряда драгоценных камней. В первом ряду были рубин, топаз и берилл; 11во втором ряду – бирюза, сапфир и изумруд; 12в третьем ряду – гиацинт, агат и аметист; 13в четвёртом ряду – хризолит, оникс и яшма, которые были вставлены в золотые филигранные оправы. 14Камней было двенадцать – по одному на каждое из имён сыновей Исраила; на каждом камне, как на печати, было вырезано имя одного из двенадцати родов.

15Для нагрудника сделали цепочки из чистого золота, свитые подобно верёвке. 16Сделали две золотые филигранные оправы и два золотых кольца и прикрепили кольца к двум углам нагрудника. 17Две золотые цепочки прикрепили к кольцам на углах нагрудника, 18а другие концы цепочек – к двум оправам, присоединив их к наплечникам ефода спереди. 19И ещё сделали два золотых кольца и прикрепили их к двум другим углам нагрудника с внутренней стороны ефода. 20Затем сделали ещё два золотых кольца и прикрепили их снизу к наплечникам ефода спереди, рядом со швом прямо над поясом ефода. 21Кольца нагрудника связали с кольцами ефода голубым шнуром, соединяющим нагрудник с поясом так, чтобы нагрудник не спадал с ефода – всё так, как повелел Мусе Вечный.

22Верхняя риза под ефод была голубой, тканой, 23с вырезом в середине, подшитым тесьмой, как для воротника, чтобы он не рвался. 24Нашили гранатовые плоды из голубой, пурпурной и алой пряжи и кручёного льна по нижнему краю верхней ризы 25и колокольчики из чистого золота, прикрепив их по нижнему краю между плодами так, чтобы 26колокольчики и гранатовые плоды чередовались. Ризу нужно было надевать для службы, как повелел Мусе Вечный.

27Для Харуна и его сыновей сделали из тонкого льна рубашки тканые 28и тюрбан, а головные повязки и набедренники были из кручёного льна. 29Пояс также был сделан из кручёного льна и голубой, пурпурной и алой пряжи, он был украшен шитьём, как повелел Мусе Вечный.

30Из чистого золота сделали пластинку – священный венец – и вырезали на ней, как на печати: Святыня Вечного. 31Затем присоединили к нему голубой шнур, чтобы прикрепить его к тюрбану, как повелел Мусе Вечный.

Муса осматривает священный шатёр

(Исх. 35:10-19)

32Так была завершена работа над священным шатром – шатром встречи. Исраильтяне сделали всё точно так, как Вечный повелел Мусе. 33Они принесли священный шатёр Мусе: шатёр с его утварью – застёжками, брусьями, перекладинами, столбами и основаниями, 34покрытие из бараньих кож, крашенных красным, покрытие из кож дюгоней, закрывающую завесу, 35сундук соглашения с шестами и крышкой, 36стол со всей утварью, священный хлеб, 37светильник из чистого золота с чередой лампад и всей его утварью, масло для светильника, 38золотой жертвенник, масло для помазания, благовония, завесу для входа в шатёр, 39бронзовый жертвенник с бронзовой решёткой, шестами и утварью, умывальник с его основанием, 40завесы двора со столбами и основаниями, завесу для входа во двор, верёвки и колья для двора, всю утварь для священного шатра – шатра встречи, 41тканые одеяния для служения в святилище: священные одеяния для священнослужителя Харуна и его сыновей, когда они совершают служение.

42Исраильтяне выполнили всю работу в точности, как повелел Мусе Вечный. 43Муса осмотрел их работу и увидел, что они сделали её точно так, как повелел Вечный. И Муса благословил их.

Luganda Contemporary Bible

Okuva 39:1-43

Ebyambalo by’Obwakabona

139:1 a Kuv 35:23 b Kuv 35:19 c nny 41; Kuv 28:2Awo ne bakola, mu wuzi eza bbululu; ne kakobe ne myufu, ebyambalo ebirukiddwa obulungi eby’okuweererezangamu mu Kifo Ekitukuvu. Ne bakolera ne Alooni ebyambalo ebitukuvu, nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ekkanzu ey’obwakabona Ennyimpi Eyitibwa Efodi

2Awo ne bakola ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi mu wuzi eza zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu, ne linena omulebevu omulange. 3Ne baweesa zaabu ey’oluwewere, ne bagisala obulere ne babukozesa awamu n’ewuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu ne linena omulebevu omulungi omulange, nga bikoleddwa mu majjolobera agakoleddwa n’obukugu. 4Ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi ne bagikolera eby’okubibegabega bibiri nga bitungiddwa w’ekoma, n’egattibwa bulungi. 5Ne bakola omusipi gwayo n’amagezi mangi ng’agaakola ekkanzu ey’obwakabona, n’ebyakozesebwa nga bye bimu. Ewuzi nga za zaabu, ne bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu alangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa.

6Ne baddira amayinja ga onuku ne bagakwasiza mu mapeesa aga zaabu, ng’amayinja gawandiikiddwako, ng’empeta bw’ewandiikwako, amannya g’abaana ba Isirayiri. 739:7 Lv 24:7; Yos 4:7Ne bagakwasiza ku byokubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, okubeeranga amayinja g’ekijjukizo ky’abaana ba Isirayiri; nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ekyomukifuba

839:8 Lv 8:8Ne bakola ekyomukifuba, nga mulimu gwa kikugu ng’ogw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, mu wuzi za zaabu, ne bbululu, ne kakobe ne myufu ne linena omulebevu omulange. 9Kyali kyenkanankana, buli ludda sentimita amakumi abiri mu bbiri ne desimoolo ttaano nga kimaze okuwetebwamu wakati. 10Ne batungirako ennyiriri nnya ez’amayinja ag’omuwendo omungi. Mu lunyiriri olusooka bassaamu amayinja: sadiyo, ne topazi, ne kaabankulo; 11ne mu lunyiriri olwokubiri bassaamu amayinja: nnawandagala, ne safiro ne alimaasi; 12ne mu lunyiriri olwokusatu bassaamu amayinja: jasinta, ne ageti, ne amesusito; 13ne mu lunyiriri olwokuna bassaamu amayinja: berulo, ne onuku, ne yasipero; ne gategekebwa mu fuleemu eya zaabu. 1439:14 Kub 21:12Waaliwo amayinja ag’omuwendo kkumi n’abiri, nga ku buli limu kusaliddwako erimu ku mannya g’abaana ba Isirayiri. Gaasalibwa bulungi ng’obubonero obuwoolebwa nga ku buli limu kuliko erinnya lyako okumalirayo ddala amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri.

15Ku kyomukifuba baakolerako enjegere ennange ng’emiguwa, nga za zaabu omuka; 16ne bakola fuleemu bbiri eza zaabu n’empeta bbiri eza zaabu; ne bassa empeta ezo zombi ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba. 17Ne bayisa enjegere ebbiri mu mpeta ebbiri ezaali ku mikugiro gy’eky’omu kifuba. 18Ne baddira enjuuyi ebbiri ezaasigalawo ez’enjegere ne bazikwasiza ku fuleemu ebbiri, ne bazinywereza mu maaso g’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 19Era baakola empeta bbiri eza zaabu ne bazitunga ku mikugiro ebiri egy’ekyomu kifuba ku luuyi olw’omunda olwali luliraanye ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 20Ne bakolayo empeta endala bbiri eza zaabu ne baziteeka mu maaso mu bitundu byombi ebya wansi eby’eby’okubibegabega eby’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi lw’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi. 21Baasiba empeta ez’oku kyomukifuba wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eya efodi n’akaguwa aka bbululu, ne bakagatta n’omusipi ekyomukifuba kireme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eya efodi. Byakolebwa nga Mukama bwe yalagira Musa.

Ebyambalo eby’Obwakabona ebirala

22Baakola ekyambalo eky’omunda mu kkanzu ey’obwakabona eya efodi, nga kiruke era nga kya bbululu kyonna. 23Ne bassa ekituli wakati mu kyambalo omw’okuyisa omutwe. Ku kituli ekyo ne beetooloozaako omuge omuyonde ng’omuleera kireme okuyulika. 24Okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo wansi ne batungayo amajjolobera mu wuzi eza bbululu, ne kakobe, ne myufu, ne linena omulebevu omulange obulungi. 25Era ne bakola n’obude obwa zaabu omuka, ne bagenda nga babutobeka mu majjolobera; 26baatunga amajjolobera ne baddirizaako akade, ate ne batunga amajjolobera ne baddirizaako akade, okwetooloola ebirenge by’ekyambalo ekyo eky’okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa.

2739:27 Lv 6:10Era ne bakolera Alooni n’abaana be amakooti agaalukibwa mu wuzi eza linena omulebevu omulungi. 2839:28 Kuv 28:4Ne bakola n’ekitambaala eky’oku mutwe mu linena omulebevu omulungi, era n’enkuufiira ne bazikola mu linena omulebevu omulungi; ne bakola n’empale mu linena omulebevu omulungi omulange, 29n’omusipi mu linena omulebevu omulungi omulange ow’ewuzi eza bbululu, ne kakobe ne myufu nga zitungiddwa ng’omudalizo n’amagezi mangi; nga Mukama bwe yalagira Musa.

30Era ne bakola akapande ak’engule entukuvu mu zaabu omuka, ne bayolako ebigambo, nga bw’owandiika ku kabonero, nti:

Mutukuvu wa Mukama.

31Ne bakasibako akakoba akatunge obulungi aka bbululu, kakanywerezenga waggulu ku kitambaala ky’oku mutwe; nga Mukama bwe yalagira Musa.

Okumaliriza omulimu gw’Eweema ya Mukama

3239:32 nny 42-43; Kuv 25:9Bwe gutyo omulimu gwonna ogw’okukola Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ne guggwa; ng’abaana ba Isirayiri bakoze ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa. 33Awo Weema ya Mukama ne bagireetera Musa;

Eweema ya Mukama yonna ne byonna ebyali bigirimu: ebisiba byayo, n’embaawo, n’emikiikiro, n’empagi zaayo, n’ebituurwamu;

34ekibikkako eky’amaliba g’endiga amakunye amannyike mu langi emyufu, n’amaliba g’embuzi amakunye, n’eggigi ery’okutimba;

3539:35 Kuv 30:6essanduuko ey’Endagaano n’emisituliro gyayo n’ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira;

36emmeeza ne byonna ebigibeerako, n’emigaati gya Mukama egy’olubeerera;

3739:37 Kuv 25:31ekikondo ky’ettaala ekya zaabu omuka, n’ettaala zaako n’ebigenderako ebikozesebwa, n’amafuta gaazo;

3839:38 a Kuv 30:1-10 b Kuv 36:35ekyoto ekya zaabu, amafuta ag’okwawula n’obubaane obw’akawoowo, n’olutimbe olw’omulyango oguyingira mu Weema ya Mukama;

39ekyoto eky’ekikomo n’ekitindiro kyakyo eky’ekikomo, emisituliro gyakyo ne byonna ebikozesebwako;

ebbensani ne ky’etuulamu;

4039:40 Kuv 27:9-19entimbe ez’oku bisenge, eby’omu luggya n’empagi zaazo ne mwe zituula, n’olutimbe olw’omu mulyango ogulaga mu luggya,

emiguwa gyalwo n’enkondo zaalwo;

ne byonna ebikozesebwa olw’emirimu gy’omu Weema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu;

41ebyambalo ebiruke obulungi ebyambalwa mu kuweereza mu Kifo Ekitukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n’ebyambalo bya batabani be bye bakozesa mu bwakabona nga baweereza.

4239:42 Kuv 25:9Nga Mukama bwe yalagira Musa mu byonna, bwe batyo abaana ba Isirayiri omulimu gwonna bwe baagukola. 4339:43 Lv 9:22, 23; Kbl 6:23-27; 2Sa 6:18; 1Bk 8:14, 55; 2By 30:27Awo Musa n’akebera omulimu gwonna, era n’alaba nga bagumalirizza. Nga Mukama bwe yalagira, nabo bwe batyo bwe baagukola. Awo Musa n’abasabira omukisa.