Езекиил 43 – CARS & LCB

Священное Писание

Езекиил 43:1-27

Слава Вечного возвращается в храм

1Затем он привёл меня к восточным воротам, 2и я увидел славу Бога Исраила, которая приближалась с востока. Его голос был подобен шуму могучих вод, и земля озарилась Его славой. 3Это видение было как то, которое я видел, когда Он приходил погубить город, и как видение у реки Кевар. Я пал лицом на землю. 4Слава Вечного вошла в храм через восточные ворота. 5Дух поднял меня и перенёс во внутренний двор, а слава Вечного наполнила храм.

6Тот человек стоял рядом со мной, и я услышал, как мне Кто-то говорит из храма:

7– Смертный, здесь Мой престол, здесь место Моим стопам. Здесь Я буду жить с исраильтянами вовеки. Народ Исраила впредь не осквернит Моего святого имени – ни они сами, ни их цари – распутством и гробницами их царей близ Моего храма. 8Поставив свой порог у Моего и свои дверные косяки рядом с Моими, когда между нами была лишь стена, они оскверняли Моё святое имя мерзкими поступками, и в гневе Я погубил их. 9Пусть теперь они избавят Меня от своего распутства и гробниц их царей, и Я буду жить с ними вовеки.

10Смертный, опиши исраильтянам храм, и пусть они измерят его. Пусть устыдятся своих грехов. 11Если они устыдятся сделанного, разъясни им план храма – его расположение, выходы и входы – весь план и все его правила и законы. Запиши это перед ними, чтобы они следовали плану и исполняли его правила.

12Вот закон о храме: вся местность вокруг на вершине горы будет великой святыней. Таков закон о храме.

Жертвенник и его освящение

13– Вот размеры для жертвенника43:13 Букв.: «жертвенника в долгих локтях (простой локоть с ладонью в каждом)».: ров вокруг него – полметра в глубину и полметра в ширину, с ободом в двадцать два сантиметра43:13 Букв.: «один… один локоть… одну пядь». по краю. Вот высота жертвенника: 14от рва на земле до нижнего выступа – один метр в высоту, а ширина этого выступа – полметра; от меньшего выступа до большего – два метра в высоту, а ширина большего выступа – полметра43:14 Букв.: «два… один… четыре… один локоть».. 15На нём располагается очаг жертвенника высотой в два метра; из него поднимаются четыре рога. 16Очаг жертвенника квадратный – шесть метров в длину и шесть метров43:15-16 Букв.: «четыре… двенадцать… двенадцать локтей». в ширину. 17Верхний выступ тоже квадратный – семь метров в длину и семь метров в ширину, с ободом в двадцать пять сантиметров. Ров вокруг жертвенника – полметра43:17 Букв.: «четырнадцать… четырнадцать… половина… один локоть». шириной. Ступени ведут к жертвеннику с восточной стороны.

18Он сказал мне:

– Смертный, так говорит Владыка Вечный: «Вот правила для приношения всесожжений и окропления кровью жертвенника, когда он будет построен: 19отдай молодого быка, приносимого в жертву за грех, священнослужителям-левитам из потомков Цадока, которые будут служить предо Мной, – возвещает Владыка Вечный. – 20Возьми его кровь и помажь ею четыре рога жертвенника, четыре угла верхнего выступа и по всему ободу, чтобы очистить и освятить жертвенник. 21Возьми быка для жертвы за грех и сожги его в установленном месте на территории храма за пределами святилища.

22На второй день принеси в жертву за грех козла без недостатков, и пусть жертвенник будет очищен, как его очищали кровью быка. 23Очистив жертвенник, приведи молодого быка и барана из отары, животных без недостатков. 24Поставь их перед Вечным, и пусть священнослужители осыплют их солью43:24 Соль символизирует нерасторжимость соглашения между Вечным и Исраилом (см. Лев. 2:13). и принесут в жертву всесожжения Вечному.

25Семь дней приноси в жертву за грех в день по козлу и по молодому быку с бараном из отары. Пусть они будут без недостатков. 26Жертвенник будут очищать и освящать семь дней; после этого им можно будет пользоваться. 27По истечении семи дней пусть священнослужители начнут приносить на жертвеннике жертвы всесожжения и примирения. Тогда Я буду к вам милостив», – возвещает Владыка Вечный.

Luganda Contemporary Bible

Ezeekyeri 43:1-27

Ekitiibwa kya Mukama kikomawo mu Yeekaalu

143:1 Ez 10:19; 42:15; 44:1; 46:1Awo omusajja n’antwala ku mulyango ogwolekera Obuvanjuba, 243:2 a Kub 1:15 b Is 6:3; Ez 11:23; Kub 18:1ne ndaba ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri nga kiva Ebuvanjuba, n’eddoboozi lye lyali ng’okuwuuma okw’amazzi amangi, n’ensi n’emasamasa olw’ekitiibwa kye. 3Okwolesebwa kwe nalaba kwali nga kuli kwe nalaba bwe najja okuzikiriza ekibuga, era ng’okwolesebwa kwe nalaba ku lubalama lw’omugga Kebali; ne nvuunama. 443:4 a Ez 1:28 b Ez 10:19Awo ekitiibwa kya Mukama ne kiyingira mu yeekaalu nga kiyita mu luggi olwolekera Obuvanjuba, 543:5 a Ez 11:24 b Ez 3:12; 8:3Omwoyo n’ansitula, n’andeeta mu luggya olw’omunda, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijjula yeekaalu.

6Awo omusajja ng’ayimiridde okunninaana, ne mpulira omuntu ayogera nange ng’asinziira munda mu yeekaalu; 743:7 Lv 26:30n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, kino kye kifo eky’entebe ey’obwakabaka bwange, era ekifo eky’ebigere byange mwe nnaabeeranga wakati mu bantu ba Isirayiri emirembe gyonna. Ennyumba ya Isirayiri tebaliddayo kuvvoola linnya lyange ettukuvu, bo newaakubadde bakabaka baabwe, nga basinza emirambo gya bakabaka baabwe mu bifo byabwe ebigulumivu. 8Bwe baliraanya omulyango gwabwe okumpi n’ogwange, era n’emifuubeeto gyabwe okumpi n’egyange, ekisenge ekyereere nga kye kyawula nze nabo, bavvoola erinnya lyange ettukuvu n’emizizo gyabwe. Kyennava mbazikiriza n’obusungu bwange. 943:9 Ez 37:26-28Kaakano baggyewo eby’obugwagwa byabwe, n’okusinza emirambo gya bakabaka baabwe, era babiteeke wala nange, nange naabeeranga wakati mu bo emirembe gyonna.

1043:10 Ez 16:61“Omwana w’omuntu, abantu ba Isirayiri bannyonnyole endabika ya yeekaalu, bakwatibwe ensonyi olw’ebibi byabwe. 1143:11 Ez 44:5Bwe balikwatirwa ensonyi olw’ebyo byonna bye baakola olibategeeza eyeekaalu bw’efaanana, okutegekebwa kwayo, awafulumirwa n’awayingirirwa, n’ekifaananyi kyayo yonna, era n’ebiragiro byamu n’amateeka gaamu. Obiwandiikire mu maaso gaabwe babeere beesigwa okukuuma ebiragiro byamu.

1243:12 Ez 40:2“Etteeka lya yeekaalu lye lino: Ekifo kyonna ekyetoolodde ku ntikko ey’olusozi kinaabeeranga kitukuvu nnyo. Era eryo lye tteeka erya yeekaalu.

Ekyoto

1343:13 2By 4:1“Bino bye bipimo by’ekyoto: Entobo yaakyo eriba okukka sentimita amakumi ataano mu munaana n’obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, n’omugo gwakyo ku kamwa kaakyo okwetooloola guliba gwa sentimita amakumi abiri mu bbiri. Obugulumivu bw’ekyoto buliba: 14okuva ku ntobo wansi okutuuka ku mugo ogwa wansi, waliba obugulumivu mita emu ne desimoolo kkumi na mukaaga, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana, ate okuva ku mugo omutono okutuuka ku mugo omunene, obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, obugazi sentimita amakumi ataano mu munaana. 1543:15 Kuv 27:2Entobo ey’ekyoto eriba obugulumivu mita bbiri ne desimoolo asatu mu bbiri, n’okuva ku ntobo ey’ekyoto okwambuka waliba amayembe ana. 16Entobo ey’ekyoto eriba ya nsonda nnya, nga zenkanankana, obuwanvu mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga, n’obugazi mita mukaaga ne desimoolo kyenda mu mukaaga. 1743:17 Kuv 20:26Omugo ogwa waggulu guliba gwa nsonda nnya ezenkanankana obuwanvu mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri n’obugazi mita munaana ne desimoolo kkumi na bbiri, n’omugo ogugwetooloola guliba obugazi sentimita amakumi abiri mu mwenda, n’entobo yaagwo eriba sentimita ataano mu munaana okugwetooloola. Amadaala ag’ekyoto galitunuulira Ebuvanjuba.”

1843:18 a Kuv 40:29 b Lv 1:5, 11; Beb 9:21-22N’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti; Bino bye biriba ebiragiro bye munaagobereranga nga muwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’okumansira omusaayi ku Kyoto, nga kiwedde okuzimbibwa. 1943:19 a Lv 4:3; Ez 45:18-19 b Ez 44:15 c Kbl 16:40; Ez 40:46Muliwaayo ente ennume ento ng’ekiweebwayo olw’ekibi eri bakabona Abaleevi ab’ennyumba ya Zadooki, abampeereza bw’ayogera Mukama Katonda. 2043:20 a nny 17 b Lv 16:19Oliddira omusaayi ogumu okuva mu nte eyo n’oguteeka ku mayembe ana ag’ekyoto, ne ku nsonda ennya ez’omugo ogwa waggulu ne ku mugo ogwa kamwa kaakyo okwetooloola, ne mutukuza ekyoto era ne mu kitangirira. 2143:21 Kuv 29:14; Beb 13:11Muliddira ente ennume ey’ekiweebwayo olw’ekibi, ne mugyokera mu kifo ekyalondebwa ekya yeekaalu ebweru w’Awatukuvu.

22“Ku lunaku olwokubiri muliwaayo embuzi ennume eteriiko kamogo okuba ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekyoto kiritukuzibwa mu ngeri y’emu nga bwe kyatukuzibwa n’ente ennume. 2343:23 Kuv 29:1Bwe mulimala okukitukuza, muliwaayo akalume k’ente akato, n’endiga ennume okuva mu kisibo nga teriiko kamogo. 2443:24 Lv 2:13; Mak 9:49-50Mulizireeta mu maaso ga Mukama, bakabona ne bamansira omunnyo ku nnyama yaazo, ne baziwaayo ng’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama.

2543:25 a Lv 8:33 b Kuv 29:37“Mulimala ennaku musanvu nga muwayo embuzi ennume emu buli lunaku ng’ekiweebwayo olw’ekibi. Era muliwaayo n’ente ennume n’endiga ennume, byombi nga tebiriiko kamogo. 26Balimala ennaku musanvu nga batangirira ekyoto era nga bakitukuza; bwe batyo ne bakiwaayo eri Katonda. 2743:27 a Lv 9:1 b Lv 17:5Oluvannyuma lw’ennaku ezo, okutandika n’olunaku olw’omunaana, bakabona baliwaayo ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo byammwe olw’emirembe ku kyoto. Kale ndibasembeza, bw’ayogera Mukama Katonda.”