Bibelen på hverdagsdansk

5 Mosebog 26

Høstofre og tiende

1Når I har taget det land i besiddelse, som Herren har lovet jer, og er begyndt at dyrke jorden, 2-3 skal I hver især bringe den første del af hvert års høst i en kurv til præsten, der gør tjeneste i Herrens helligdom, og sige til ham: ‚Denne gave er min påskønnelse af, at Herren har ført os til det land, han lovede vores forfædre.’ Præsten skal modtage din kurv og sætte den ned foran Herrens alter. Du skal give udtryk for din taknemmelighed til Herren ved at sige: ‚Jeg nedstammer fra en omvandrende aramæer, der med sin familie søgte tilflugt i Egypten. De var kun få dengang, men mens de boede som fremmede i landet, blev de til et stort og mægtigt folk. Egypterne gjorde os til slaver og mishandlede os, men vi råbte til dig, vores fædres Gud, og du hørte os og så vores lidelse og elendighed. Da greb du ind og sendte frygtelige plager over Egypten, og du førte os ud med magt og vælde og førte os til dette land, som „flyder med mælk og honning”. 10 Derfor kommer jeg nu til dig, Herre, med noget af den første høst fra den jord, du har givet mig.’ Efter denne bøn skal kurven stilles ned for Herrens ansigt, og du skal tilbede ham. 11 Du og din familie skal glæde jer sammen med levitterne og de fremmede, der bor i landet, mens I nyder frugten af den velsignelse, Herren har givet jer.

12 Hvert tredje år skal I tage en tiendedel af jeres afgrøder og give den til levitterne, de fremmede, enkerne og de forældreløse, så de kan spise sig mætte. 13 Når det er gjort, skal I bede følgende bøn til Herren, jeres Gud: ‚Nu har jeg givet den del, som er helliget dig, til de trængende, sådan som du har befalet. Jeg har ikke glemt eller overtrådt nogen af dine befalinger. 14 Jeg har ikke rørt ved tienden, mens jeg var i sorg eller var uren. Jeg har heller ikke ofret noget til de døde, men jeg har adlydt Herren, min Gud, og gjort, hvad han har befalet mig. 15 Se derfor i nåde til os fra din hellige bolig i Himlen. Velsign dit folk og det land, du har givet os, et land, der „flyder med mælk og honning”, sådan som du lovede vores forfædre.’

Påmindelse om pagten mellem Herren og hans folk

16 Herren, jeres Gud, pålægger jer i dag at adlyde hans love og bestemmelser af hele jeres hjerte og hele jeres sjæl. 17 I har i dag bekræftet jeres pagt med Herren. Det betyder, at han vil være jeres Gud, og at I vil holde jer til hans veje, lytte til hans røst og følge hans love og forskrifter. 18 Det betyder, at I vil være hans ejendomsfolk, som han har udvalgt, og at I derfor vil overholde alle hans befalinger. 19 Gør I det, vil han gøre jer til en mægtig nation, større end nogen anden nation, han har skabt, så I kan bringe ham ære og lovsang og være et helligt folk, indviet til Herren, sådan som han har sagt.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ekyamateeka Olwokubiri 26

Ebibala eby’Amakungula ag’Olubereberye

1Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi, oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye. Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.” Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya Mukama Katonda wo. Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe[a] yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo. Naye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu. Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna. Bw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo. Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10 Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge. 11 Kale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna.

12 Mu mwaka ogwokusatu bw’onoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu eky’ekkumi n’okissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogw’ekitundu eky’ekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo n’okiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta. 13 Awo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu eky’ekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira n’ekimu ku byo. 14 Ekitundu ekyo sikiriddeeko nga ndi mu biseera eby’okukungubaga, wadde okukikwatako nga siri mulongoofu, era sikitoddeeko ne mpaayo eri abafu. Ŋŋondedde Mukama Katonda wange, ne nkola nga bwe yandagira. 15 Otutunuulire ng’osinziira mu kifo kyo ekitukuvu gy’obeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri n’ensi gy’otuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga y’ensi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”

Mugonderenga Amateeka ga Mukama

16 Mukama Katonda wo akulagira leero okugonderanga amateeka ago gonna n’ebiragiro ebyo; noolwekyo obigonderanga byonna n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna. 17 Ku lunaku lwa leero oyatudde nga Mukama bw’ali Katonda wo, era nga naawe bw’onootambuliranga mu makubo ge, era ng’onookuumanga ebiragiro bye n’amateeka ge gonna, era ng’onoomugonderanga. 18 Ku lunaku lwa leero Mukama alangiridde nga bw’oli owuwe, eggwanga lye ku bubwe ery’omuwendo omungi nga bwe yasuubiza, era nga ojjanga kukwatanga ebiragiro bye byonna. 19 Alangiridde nga bw’anaakujjuzanga ettendo n’okwatiikirira n’ekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ng’olibeera eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yasuubiza.

Notas al pie

  1. 26:5 Jjajja ayogerebwako wano ye Yakobo.