Nnwom 42 – AKCB & LCB

Akuapem Twi Contemporary Bible

Nnwom 42:1-11

1 NHOMA A ƐTO SO ABIEN

Nnwom 42–72

Dwom 42

Koramma “maskil” dwom.

1Sɛnea ɔforote pere hwehwɛ nsuwansuwa no,

saa ara na me kra pere hwehwɛ wo, me Nyankopɔn.

2Onyankopɔn ho sukɔm de me kra, Onyankopɔn teasefo no.

Da bɛn na metumi akohyia Onyankopɔn?

3Me nisu ayɛ mʼaduan

awia ne anadwo,

na da mu nyinaa nnipa bisa me se:

“Wo Nyankopɔn wɔ he?”

4Saa nneɛma yi na mekae

bere a mereka me koma mu nsɛm;

sɛnea na midi asafokuw anim,

na yɛde anigye nteɛteɛmu ne aseda nnwom

nantew yuu bɔ mu kɔ Onyankopɔn fi

wɔ afahyɛ da no.

5Me kra, adɛn, na woabotow?

Adɛn na woayɛ basaa wɔ me mu saa?

Fa wo ho to Onyankopɔn so,

na mɛkɔ so ayi no ayɛ,

mʼAgyenkwa ne me Nyankopɔn.

6Me kra abotow wɔ me mu,

enti mɛkae wo

fi Yordan asase so,

Hermon mmepɔw so, fi Bepɔw Misar so.

7Ebun kɔ bun mu

wɔ wo nsu a ɛworo gu no nnyigyei mu;

wʼasorɔkye nyinaa

abu afa me so.

8Adekyee mu, Awurade kyerɛ nʼadɔe,

adesae mu, ne dwom ba me nkyɛn,

mpae a mebɔ srɛ me nkwa Nyankopɔn.

9Mibisa Onyankopɔn, me Botan no se,

“Adɛn nti na wo werɛ afi me?

Adɛn nti na ɛsɛ sɛ menantenantew twa adwo,

mʼatamfo nhyɛso nti?”

10Me nnompe te ɔdesani yawdi,

mʼahohiahiafo ateetee nti,

daa nyinaa wobisa me se,

“Wo Nyankopɔn wɔ he?”

11Me kra, adɛn, na woabotow?

Adɛn na woayɛ basaa wɔ me mu saa?

Fa wo ho to Onyankopɔn so,

na mɛkɔ so ayi no ayɛ,

mʼAgyenkwa ne me Nyankopɔn.

Luganda Contemporary Bible

Zabbuli 42:1-11

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Zabbuli 4242 Mu byawandiikibwa Ebyebbulaniya zabbuli eyo eri emu ne Zabbuli 43

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

142:1 Zab 119:131Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,

n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.

242:2 a Zab 63:1 b Yer 10:10 c Zab 43:4Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.

Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?

342:3 a Zab 80:5 b Zab 79:10Nkaabirira Mukama

emisana n’ekiro.

Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,

abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”

442:4 a Is 30:29 b Zab 100:4Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange

nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,

ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,

nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,

nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka

n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

542:5 a Zab 38:6; 77:3 b Kgb 3:24 c Zab 44:3Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?

Lwaki otabusetabuse mu nda yange?

Essuubi lyo liteeke mu Katonda,

kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;

ye mubeezi wange.

6Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,

yeeraliikiridde;

naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani

ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni42:6 Kalumooni ye yali ensalo ey’omu bukiikakkono ey’ensi ensuubize ne ku Lusozi Mizali.

742:7 Zab 88:7; Yon 2:3Obuziba bukoowoola obuziba,

olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro

amayengo n’amasingisira go

bimpiseeko.

842:8 a Zab 57:3 b Yob 35:10 c Zab 63:6; 149:5Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro

ne muyimbira oluyimba lwe;

y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

942:9 Zab 38:6Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,

“Lwaki onneerabidde?

Lwaki ŋŋenda nkungubaga

olw’okujoogebwa abalabe bange?”

10Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange

bancocca,

nga bwe bagamba buli kiseera nti,

“Katonda wo ali ludda wa?”

1142:11 Zab 43:5Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?

Lwaki otabusetabuse mu nda yange?

Weesigenga Katonda,

kubanga nnaamutenderezanga,

Omulokozi wange era ye Katonda wange.