Daily Manna for Saturday, June 12, 2021

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

Zabbuli 6:1-10

Zabbuli 6

6:1 Zab 38:1Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu;

so tombonereza mu kiruyi kyo.

6:2 a Kos 6:1 b Zab 22:14; 31:10Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi munafu.

Omponye, Ayi Mukama, kubanga amagumba gange gali mu bulumi.

6:3 a Yk 12:27 b Zab 90:13Emmeeme yange ejjudde ennaku.

Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?

6:4 Zab 17:13Onkyukire, Ayi Mukama, olokole omwoyo gwange;

omponye okufa olw’okwagala kwo okungi.

6:5 Zab 30:9; 88:10-12; Mub 9:10; Is 38:18Kubanga tewali ayinza kukujjukira ng’amaze okufa.

Ani alikutendereza ng’asinziira emagombe?

6:6 a Zab 69:3 b Zab 42:3Mpweddemu amaanyi olw’okusinda.

Buli kiro obuliri bwange bujjula amaziga gange

n’omutto ne gutoba.

6:7 Zab 31:9Amaaso gange ganafuye olw’okunyolwa,

tegakyalaba bulungi olw’abalabe bange.

6:8 a Zab 119:115 b Mat 7:23; Luk 13:27Muve we ndi mmwe mwenna abakola ebibi;

kubanga Mukama awulidde okukaaba kwange.

6:9 Zab 116:1Mukama awulidde okwegayirira kwange,

n’okusaba kwange akukkirizza.

6:10 Zab 71:24; 73:19Abalabe bange bonna baliswazibwa era balitya nnyo;

bazzibwe emabega nga bajjudde obuswavu mangu ago.