Daily Manna for Wednesday, June 9, 2021

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

Engero 1:7-19

1:7 Yob 28:28; Zab 111:10; Nge 9:10; 15:33; Mub 12:13Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,

naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.

1:8 a Nge 4:1 b Nge 6:20Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,

era tolekanga kukuutira kwa maama wo;

1:9 Nge 4:1-9bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,

n’emikuufu mu bulago bwo.

1:10 a Lub 39:7 b Ma 13:8 c Nge 16:29; Bef 5:11Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,

tokkirizanga.

1:11 Zab 10:8Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,

tunyage, tubbe n’okutta;

tokkirizanga;

1:12 Zab 28:1ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,

era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu;

nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,

ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;

ng’ababi batuyita tubeegatteko,

tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”

1:15 a Zab 119:101 b Zab 1:1; Nge 4:14Mwana wange totambuliranga wamu nabo,

era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:

1:16 Nge 6:18; Is 59:7Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,

era kibanguyira okuyiwa omusaayi.

Nga kuba kumala biseera okutega omutego,

ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,

naye abantu ng’abo baba beetega bokka,

baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.

1:19 Nge 15:27Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.

Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.