Daily Manna for Monday, June 7, 2021

Daily Manna is a daily Bible devotional service provided by Biblica. The Scripture is provided in many forms and is new every day. It is a great way to receive the encouragement and hope found in the Word of God.

Verse of the Day

Zabbuli 51:1-7

Zabbuli 51

51:1 a Bik 3:19 b Is 43:25; Bak 2:14Onsaasire, Ayi Mukama,

ggwe alina okwagala okutaggwaawo.

Olw’okusaasira kwo okungi

nziggyaako ebyonoono byange byonna.

51:2 a 1Yk 1:9 b Beb 9:14Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,

ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.

51:3 Is 59:12Ebyonoono byange mbikkiriza,

era ebibi byange mbimanyi bulijjo.

51:4 a Lub 20:6; Luk 15:21 b Bar 3:4*Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,

ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;

noolwekyo by’oyogera bituufu,

era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.

51:5 Yob 14:4Ddala, nazaalibwa mu kibi;

kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.

51:6 a Nge 2:6 b Zab 15:2Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.

Ompe amagezi munda ddala mu nze.

51:7 a Lv 14:4; Beb 9:19 b Is 1:18Onnaaze n’ezobu ntukule

onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.